Download as pdf or txt
Download as pdf or txt
You are on page 1of 1

Omwana ngawoomerwa ekikajjo. Ebikajjo kimu ku kyokulya abaana kyebettanira olwobuwoomi bwabyo.

Bibeera mu langi eya kiragala, kakobe nebimu bibaamu ebikuubo ebisikiriza omwana okubirya. Dr. Patrick Ssenjobe, owa Afri - Natural Clinic e Gayaza agamba nti ssukaali wekikajjo yeeyongera obuka nemigaso okuva ku nnyingo esooka okutuuka kwesembayo. Omwana bwamera erinnyo erisooka, muwe ebikajjo kuba kiyamba okugalongoosa nokukuuma akamwa nga kayonjo. Omubisi gwabyo gulimu ssukaali aleeta amaanyi mu mubiri gwomwana ekimuyamba okuzanya obulungi. Gutebenkeza enkola yensigo nebitundu ebikola okutereka nokufulumya omusulo. Omwana bwalya oba okunywa omubisi gwebikajjo gugumya ebinywa mu mubiri gwe ekiyamba omubiri okukola obulungi. Ebikajjo era biyamba okukola amazzi agatebenkeza enkola yobwongo, enkuba yomutima, ensigo, entemya yamaaso nebitundu byomubiri ebirala Ebikuta bitukuza amannyo naddala singa omwana akyesuusiza. Enteekateeka Bisuse obisalesale omuwe alye naddala nga tasobola kwesusiza oba okubisala nogattamu ebibala ebirala nomuwa okulya oba okubikamula nanywa. Weetegereze Omwana muwe ekikajjo kya goowa kuba aba agonda, kireme kumusuna bibuno na kumuwangula mannyo. Towa mwana kikajjo kikaatuuse oba nga kiruddewo ate tokiteeka mu musana kuba kiggwaamu ebiriisa byonna namazzi.

You might also like