Okweyambisa Google Groups, Kanyike

You might also like

Download as doc, pdf, or txt
Download as doc, pdf, or txt
You are on page 1of 22

OKWEYAMBISA GOOGLE GROUPS NGA NKOZESA AKAKODYO

K’OKWEFUMIITIRIZA OKUYAMBA ABAYIZI OKUTEGEERA ENJAWULO


WAKATI W’OMULUKO N’OBUSANGE MU MIZANNYO.

BYA KANYIKE ATWIF


14/U/7100/PS
OBUFUNZE
Abayizi ensangi zino bettanira nnyo okukozesa tekinologiya mu kuyiga wamu n’okufuna
obubaka obwenjawulo obweyambisibwa mwebyo byebasoma. Ogumu ku mikutu
gyebasinga okwettanira gwe gwa Google Groups. Mu tekinologiya ono omusomesa
asobola okuweereza ebisomesebwa, abayizi nabo basobola okusoma obubaka ate ne
bawa endowooza zaabwe wamu n’okubuuza ebibuuzo, basobola okukubaganya
ebirowoozo ne bayizi bannaabwe, okuwa okwemulugunya kwabwe ssaako, okuddamu
ebibuuzo ssinga omusomesa aba alina omulimu gwaba awadde.

Mu kiwandiiko kino, tugenda kulaba engeri gyetuyinza okukozesaamu omukutu gwa


Google n’akakodyo k’okwefumiitiriza okujjawo ennaku efumbekedde mu bayizi
ey’obutasobola kwawula wakati w’Omuluko (Plot) n’Obusange (Setting) nga bawandiika
ku mizannyo so n’okubikozesa mu mbeera endala naddala mu kuddamu ebibuuzo
n’okuyungulula embeera eza bulijjo.

Ebiruubirirwa by’ekiwandiiko kino


Ebiruubirirwa ebikulu ebiri mu kiwandiiko kino kwekwongera okukulaakulanya okuyiga
kw’abayizi nga tukozesa tekinologiya, kino kijjawo olw’ensonga nti kaakano okuyiga ate
kulinnye eddaala ne kuva ku mirembe bajjajjaffe kwebaasomera okw’okutuula mu
bibiina omusomesa abazuulire buli kimu wabula kati n’omuyizi ateekeddwa okulaba nga
y’enyigira mu kusoma n’okwezuulira.

Twagala abayizi bayige era bakenkuke mu kusoma kwabwe nga bakozesa akakodyo
k’okwefumiitiriza olwo kibanguyize okusoma n’embeera zaabwe ez’omumaaso.

Era tuluubirira okulaba nti abayizi bazuula era nebayiga okukozesa ebitendo by’omuluko
mu mizannyo n’emumbeera endala zonna nga tebabitabise na busange nga bwebakikola
kaakano.
Ng’omusomesa ate njagala kino kinnyambe okutegera abayizi bange kinnakimu, ddala
lwaki bazibuwalirwa okutegeera enjawulo wakati w’omuluko n’obusange era tusalire
wamu amagezi aganaatusobozesa okuvvuunuka ekizizibu kino.

EBIGAMBO EBIKULU MU KIWANDIIKO (Google Groups, Omuluko, Obusange,


Okwefumiitiriza, Okutegeera)
ENNYANJULA
i) Okwefumiitiriza ng’akakodyo akakozesebwa mu kusomesa.
Okwefumiitiriza kwe kulowooza ennyo awamu n’okufaayo ku ekyo
ekirowoozebwako okusobola okukola ekisinga obutuufu. Mu kusoma abayizi baba
basaana okwefumiitiriza ennyo kw’ebyo ebibasomesebwa olw’ensonga nti kibeera
kizibu omusomesa okuvaayo n’abateera kimu ku kimu ku mmeeza. Okusinziira ku
mukutu gwa https://blogs.shu.ac.uk (reflection:An Aproach to Teaching and
Learning)
Reflection is an approach that encourages deep thinking by an individual about their
existing knowledge and capabilities, how it has been supported or challenged by new
learning and experience, and the identification of strengths to promote and
weaknesses/limitations to address.

Kino kivvuunulwa nti: Okufumiitiriza y’engeri ekubiriza okulowooza okwewala eri


omuntu ku magezi g’alina n’obusobozi, nga bwebiwagiddwa oba
bwebiwakanyiziddwa okuyiga okupya n’obumanyirivu, n’okulaba ebirungi
okusobola okubikulaakulanya ate n’obunafu okusobola okubulaga.

Ate bo aba the University of Sheffield ku mukutu gwa http://www.sheffield.ac.uk


bagamba nti;
Reflective learning is a way of allowing students to step back from their learning
experience to help them develop critical thinking skills and improve on future
performance by analyzing their experience. This type of learning, which help move
the student from deep learning, can include ranges of activities, including self review,
peer review and Personal Development Planning
Bano mu kuvvuunula bagamba nti:
Okusoma okw’okufumiitiriza y’engeri y’okukkiriza abayizi okuddako emabega mu
kuyiga kwabwe okuzze kubaawo okubayamba okufuna obukugu bw’okulowooza
ennyo okusobala okwongera ku kuyiga kwabwe okw’omumaaso nga basinziira ku
kunnyonnyoka obumanyirivu bwebafunye. Okusoma okw’engeri eno okuyamba
abayizi okutuuka ku kulowooza ennyo, kusobola okubaamu emirimu egy’enjawulo
okuli okwetunulamu, okutunula mu b’emikwano, ate n’okusengeka engeri
y’okwekulaakulanyaamu.

Mezirow (1991) Reflection is becoming aware of and assessing taken of granted


assumptions in order to construct a more valid belief.

Mezirow ye agamba nti okwefumiitiriza kwe kufuna okumanyisibwa n’okulowooza


ennyo kw’ebyo ebibadde biyisibwamu amaaso okusobola okufuna enzikiriza esinga
obutuufu ku byo.

Burnett and Lingham (2007), reflection is the kind of thinking that consists of turning
a subject over in the mind and giving it serious and consecutive consideration.

Bano bo bannyonnyola nti okwefumiitiriza y’engeri y’okulowooza erimu


okuzannyisa ekyo ekiri mu bwongo n’okukiwa endowooza ey’amaanyiera
eyomuddiringanwa.

Hatton and Smith (1995) it is the active and deliberative cognitive process involving
sequences of inter connected ideas which take into account underlying belief and
knowledge.
Bagamba nti y’enkozesa y’obwongo enkyamufu era eya kagenderere
erimuokusengeka ebirowoozo ebirina obukwatane nga muno mwotwalidde okumanya
n’enzikiriza eri ewala.
Emitendera gy’okwefumiitiriza
Okusinziira ku Hatton ne Smith (1995), okwefumiitiriza kutambulira mu mitendera
egy’enjawulo okusobola okufuna ebyo ebikwetaagibwamu. Bano batuwa emitendera ena
egiyitibwamu mu ngeri y’okufumiitiriza.

a) Okuwandiika okuttottozi (Descriptive writing). Wano omuyizi awandiika


ng’attottola ebyo ebyasomeseddwa era n’atuwa kimu ku kimu nga bwebyabadde
mu kibiina.
b) Okwefumiitiriza okuttottozi (Discriptive reflection). Kuno kwe kwefumiitiriza
ng’omuyizi asinziira ku ndaba ye ey’ebintu.
c) Okwefumiitiriza okw’omumuntu (Dialogical reflection). Wano omuyizi
akubaganya ebirowoozo munda mu ye, ng’asinziira ku ebyo byalina mu mutwe
n’engeri gyabirabamu yekka na yeka.
d) Okwefumiitiriza okw’obukolokosi (Critical Reflection). Mu kwefumiitiriza kuno,
omuyizi aba atandise okutegeera ennyo era ng’ebintu ebimu byalaba yeebuuza
lwaki bibeera bwebityo, ebimu abiwakanya, akola okugeraageranya okuyitirivu
ku byafaayo, embeerabantu n’engeri y’ebyobufuzi mu kitundu omuzannyo
gyegulagibwa okutnderwa.

ii) Okweyambisa tekinologiya wa Google Groups mu kusomesa.


Okwawukanako n’ebbanga eriyise, ennaku zino kumpi buli muntu, abato n’abakulu kati
balina amasimu. Weewawo nti abasinga amasimu bagakozesa kwogerezeganya na
mikwano wamu n’enganda, so nno, n’okuweereza obubaka obw’omugaso kimu ku
migaso gy’essimu. Google ng’omukutu ogwa tekinologiya ogw’ebyempuliziganya
ekyase nnyo era kumpi abantu nga kw’ogasse n’abayizi ebitundu 85% bakozesa omukutu
guno,

Pace (2008) agamba nti okusinziira ku mikutu egy’enjawulo egiriwo, kiyinza okuba
ekizibu eri abasomesa okumanya guliwa ogusinga, wabula ayongerako nti Google
yesinga nga bwetulaba wammanga;
“Among the links and downloads out there, it can be hard for teachers to know
which one works best. Google has made it by creating Google for Educators, which
compiles some of the search engines most useful features in one place. Whether you are
teaching Spanish or social studies, mathematics or music, there is a free Google feature
that will make your lessons more dynamic and your projects more organized. The lively
informative website offers step-by-step visuals and even videos to help you get the set up.

Mu kuvvuunula, Pace agamba nti; mu mikutu gyonna egiriwo, kyandiba ekizibu eri
omusomesa okulondawo guliwa ogusinga okukola obulungi. Google kino ekikozeeko
ng’etondawo Gogle for Educators, ng’eno eteeka wamu obubaka obusinga okwetaagibwa
mu bulamu obwabulijjo. Oba osomesa Lusipaana, omuntu n’ebimwetoolodde, kubala oba
by’akuyimba, eriyo omukutu gwa Google ogw’obwereere ogujja okufuula
okusomesakwo okw’enjawulo nga n’ebiragibwa byo bisengeke bulungi. Omukutu guno
gukuwa ddaala ku ddaala ery’ebirabwako n’ebyo ebiri ku butambi okukuyamba okufuna
kyeweetaaga.
Omukutu gwa google guno gulina ebitendo eby’enjawulo ebisobola okuyamba omuyizi
omusomesa n’omuyizi okunoonyereza ngabino wammanga;
a) Google Search
b) Google CS First
c) Google Keep
d) Google Drive
e) Google Sites
f) Google Maps
g) Google Classroom
h) You tube
i) N’emirala,
Emikutu gino gyonna girambuluddwa bulungi ku http://www.edutopia.org

Abantu bangi ddala abavuddeyo okutendereza omukutu gwa google olw’obukugu bwayo
mu kukola emirimu:

Hill (2012) ng’ono musomesa wa Lulimi Luspanish agamba;


Nneebaza omukutu guno, si lwa buyiiya bwagwo bwokka, naye n’okusobozesa
abasomesa okukolagana ne bannaabwe. Mwebale!

Andrade (EdTech Specialist);


Tulina abayizi 26,000 wamu n’abasomesa abakozesa Google Apps era kigenda
bukwakku. Nkola ne ddisitulikiti endala naye tukyagala okufa.

Lwaki nnasalawo okukozesa Google groups


a) Stacy Zeiger okuva ku mukutu gwa www.commonsense.org agamba nti Google
groups nnungi nnyo mu kusomesa olw’ensonga nti ekwata abayizi omubabiro
olwo ebisasomesebwa nebabikwata bulungi olw’ensonga nti biba tebibabowa.
Nabwekityo nange nakizuula nti oluvannyuma lw’okusomesa abayizi mu kibiina
baali basaana bafuneyo akaseera ate basomereko ku mutimbagano.

b) Olw’okuba nti abayizi ssinga baweebwa emirimu egy’okuwandiika abamu


bamanyi okwebuzaabuza ate abalala ebitabonebabisuula, kale nalaba nga
okweambisa Google groups kijja kutusobozesa okukuuma ebiwandiiko byaffe
ebbanga lyonna nga singa tuba twagadde okujuliza oba okuddamu okubyekebejja,
okubifuna tekitutwalira budde buwanvu.

c) Okusobola okukuuma abayizi nga bali mu kusoma munda n’ebweru w’ekibiina.


Olw’okuba nti abayizi bangi bwebava mu kibiina eby’okusoma byonna
babiviirako ddala, nasalawo okubagatta ku mukutu gwa Google groups
okubeewaza okubeerera awo nga bali ebweru w’ekibiina ate ngan’ebisomeseddwa
babyerabira.

d) Okutondawo enkolagana mu bayizi. Abayizi bafuna obuzibu bungi singa baba


tebayambiddwa kutondawo nkolagana. Mu mbeera eno Google groups
nagiteekawo esobole okuyamba buli muyizi okukenga munne ky’asobola
obulungi olwo basobole okwebuziganyaako ate n’okuyambagana.

e) http://www.linkedin.com etuwa emigaso gy’okukozesa Google groups nga


bagamba nti nnungi nnyo mu kuwaanyisiganya obubaka, okutondawo
enkolagana, okukuuma ebiwandiiko, okuyiga n’okuyigiriza so nga ate erina
obukuumi obw’omuwendo.

f) Omukutu ogwo http://www.linkedin.com era gukwongera emigaso emirala kkumi


miramba gy’oyinza okufuna singa oba wettaniddeokukozesa google apps.

Okutegeera
Okutegeera gwe gumu ku mitendera etaano Bloom gy’agamba ntigye giyitibwamu
okusobola okuyiga. Ono awa emitendera etaano gyetuyinza okuyisaamu abayizi okuyiga
byetwagala bayige. Omutendera gw’okutegeera gwakubiri nga bwekiragibwa
wammanga.
Okutondawo

Okuwewa

Okuyungulula

Okuteeka mu nkola

Okutegeera

Okujjukira

Bloom ayongera n’atuwa emitendera egiyitibwamu omuntu okutegeera


 Okunnyonnyoka
 Okuwa eby’okulabirako
 Okubinjaaza
 Okussa mu bufunze
 Okujuliza
 Okuwa olupimo
 Okunnyonnyola
Omuluko n’Obusange
Omuluko y’engeri ebikolwa ebikulu gyebigenda by’eddiringanamu mu muzannyo ate
Obusange kekaseera wamu n’ekifo ebitonderwamu omuzannyo. Wano weewali ekinyusi
ky’ekizibu, olumu omuyizi bw’abuuzibwa ekibuuzo nga “Nyonnyola ng’owa
eby’okulabirako engeri Wycliff Kiyinji gyeyakenkuka ebikwata ku MULUKO nga
weesigama ku muzannyo gwe Gw’osussa Emmwanyi”. Abayizi abasinga bagenda
kuwandiika nti;

 Wycliff Kiyinji omuzannyo agwesigamizza ku bintu ebiriwo ensangi zino


 Omuwandiisi awandiika ku bitundu ebiri mu Buganda gamba nga Kiteregga
n’ebiringa ebyo.

Ebyo nno si by’ebyokuddamu ebituufu nga bwetunaalaba mu maaso.

OKUNNYONNYOLA MU BUJJUVU
a) OMULUKO (PLOT)
Ann Casano mu kiwandiiko kye eri Study.com, agamba nti plot is a literary term
that refers to how narrative points are arranged to make a story understandable to the
reader or obsever. Mu kuvvuunula nti y’engeri ebinyumizibwa gyebisengekebwamu
okusobola okwanguyiza olugero eri omusomi oba omulabi, Awo nno ktegeeza nti
omuluko guba n’engeri enzimbe obulungi gyegulina okugoberera. Okwawukanako
n’emingero oba obutabo wetulabira nti omuluko gukolebwa ebitendo bisatu, emizannyo
gyo gikolebwa ebitendo bitaano.
Aristotle (c. 335BCE) atukubira ttoochi mu byazuulwa munna litulica Gustav Freytag,
ng’ono awa ebitendo bitaano ebikola omuluko gw’omuzannyo mu kyeyatuuma omuswa
gwa Freytag (Freytag Pyramid.)
Freytag atulaga ebitendo bino wammanga;
 Ennyanjula (Exposition)
 Ensiitaaniro (Rising action)
 Entikko (Climax)
 Enkyukira (Falling Action)
 Enfundikira (Denouement)

Omuswa gwa Fereytag nga bwegufaanana

ENNYANJULA (EXPOSITION)
Mu nnyanjula mwetulabira ebyo ebitujja ekifu ku maaso era mutera okubeeramu
omuzannyi omukulu (omugabe). Ennyanjula etera okutulaga Obusange, ebyafaayo,
ebibaawo, nga tetunnatandika bitundu bya muluko biddako. Kino kitera okukolbwa mu
ngeri ez’enjawulo gamba nga, okwejjukanya (flashback), okukubaganya ebirowoozo
wakati w’abazanyi, okutulaga embeera abazannyi zeboolesa n’ebirala bingi.

ENSIITAANIRO (RISING ACTION)


Weewaawo ng’ebiwandiiko bingi bijja kututegeeza nti Entikko y’esinga obukulu mu
muzannyo, naye ekituufu ensiitaaniro nkulu nnyo kubanga eno y’etuvuga okuva ku
nnyanjula okutuuka ku ntikko. Wakati mu nsiitaaniro ebiragibwa biba binji era ku bino
omuzannyo kwe gwesigama okutujjirayo obubaka obwekusifu. Mu mizannyo egisinga,
ekitundu kino kye kitera okuba ekisinga obunene olw’ensonga nti kiba kyetisse obubaka
bungi ddala. Wano nnop era abeekenneenyi ba litulica webatera okulabira obukugu
n’obunafu bw,omuwandiisi. Okunokolayo ku by’okulabirako b’ensiitaaniro okuva mu
muzannyo “Gw’osussa Emmwanyi”
 Rita atulaga nti tayaniriza Ssekalegga mu maka gaabwe
 Ssekalegga takkiriziga ne ba Musoke ku nsonga y’omwenkanonkano
 Ssekalegga akkiririza mu kuwasa abakazi abasukka omu, okwawukana ne ba
Musoke ssaako ne Musangi
 Embeera z’ekizungu ba Musoke zebeeyisaamu Ssekalegga atulaga nti ye tasobola
kuzigoberera.
 N’ebiringa ebyo.

ENTIKKO (CLIMAX)
Gustav Freytag (1863) agamba nti mu kyasa ky’ekkumi n’omwenda bwebaali
basuuliridde ebitendo ebitaano nga bukuliriza ebisatu, baakizuula nti mu mizannyo
entikko yateranga kubeera awo kumpi omuzannyo weguggweera. Ayongera n’atutegeeza
nti mu kikula ky’omuzannyo, entikko y’ensalirwa era bwe bwetooloole, ekikolwa ekikulu
wekirabikira. Kisobola okuba oba obutaba ekyo ekisinga okwetaagibwa mu muzannyo,
wabula era tusaana tumanye, nti entikko ky’ekitundu ky’omuzannyo akakuubagano
wekakyukira okudda ku nkyukira.

Aristotle atugamba nti ku ntikko wetulabira enkyukakyuka y’enkulaakulanya


y’Omugabe. Bw’ekiba nti omugabe bibadde bimutambulira bulungi, entikko
y’entandikwa y’okumutambulira obubi, bwekiba nti bibadde bimutambulira bubi.
Katuwe eky’okulabirako ekyangu;
Katugambe omuzannyo gukwata ku mukwano, omugabe amaze ebbanga
ng’agezaako okusendasenda mwana muwala, naye omuwala olw’ensonga
enz’enjawulo aky’eremye, oluvannyuma lw’abyonna, omuwala akkiriza
era oba oli awo bagattibwa n’okugattibwa. Kati ekyo ekiruubirirwa
ky’omugabe oba omuwandiisi ekikulu, kyetuyita entikko, wabula
omuzannyo gwo gusigala gugenda mu maaso.

Awo nno nga twesigama ku muzannyo gwaffe ogwa Gw’osussa emmwanyi, tutunuulire
akatundu Ntonio wajjira ng’adduka olwo n’abateegeeza nti omusajja oli Rajab
gwebeewolako ebintu ayagala ssente ze, mu kaseera kano tulaba nga Ssekalegga asalawo
okubayamba okubasasulira ebbanja lyabwe era mu mbeera eno essanyu libula okutta
Andrew era ayita Rita n’atuuka n’okumunyigira akade

ENKYUKIRA (FALLING ACTION)


Oluvannyuma ng’omuzira atuuse ku kiruubirwa kye (entikko), waliwo ebyo ebiddirira
nga bino by’ebitutwala kumpi okutuusa ku nkomerero. By’ebyo ebibaawo nga ekizibu
ekikulu kimaze okutereezebwa, wano tulaba ebintu nga ddala bikyuse, abadde ayisibwa
obubi kati ate ayisibwa bulungi, ogwo bulijjo gwebakuliriza ate kati bamusenza luti,
n’ebiringa ebyo, okusinzira ku nnyumya y’omuwandiisi.
Mu gw’osussa emmwanyi, bwetuddayo katono emabega, tujjukira nti olumu Rita anyiga
akde okutulaga nti kaali kaguliddwa kuyita Ntonio, ekintu ekimuvvoola wabula
bwetutuuka eno mu nkyukira, ddala tulaba ng’ebintu bikyukidde ddala, anti ate akade
kakozesebwa okuyita Rita, nga bwekiragiddwa wammanga.

ENSITAANIRO ENKYUKIRA
RITA: Hello (asituka mangu n’anyiga akade ANDREW: Hee-Rita-Rita- (anyiga akade nga
ng’omwami akyayimiridde;bwaseka anti afa bw’akowoola- Rita oluba okuyingira ne Ntonio
essanyu olw’okutuusa akade)………(anyiga n’ayingira ng’awejjawejja)
ate) NTONIO: Wangi?
NTONIO: (nga bw’ajja-agwa ali mu kisenge.). RITA: Kino ekisajja kibadde kitya…
Sir (aggulawo) ANDREW: Mwattu mbadde mpita mukyala.

ENFUNDIKIRA (DENOUEMENT)
Eno y’enkomekkero ya buli kimu, oluvannyuma lw’okuteereza wamu n’okutuukiriza
ebiruubirirwa by’omuzannyo.

b) OBUSANGE (SETTING)
Obusange ke kaseera n’ekifo omutonderwa olugero oba omuzannyo. Akaseera n’ekifo
bigaziko okusinga oli bwayinza okukiraba olw’ensonga nti bitwalaliramu embeera
y’obudde, ebitwetooloodde, akaseera k’ebyafaayo ebiragibwa, embeera z’abantu
n’ebirala ebigwa mu ttuluba eryo.

Ssi bingi ebiyinza okwogerwa ku busange plw’ensonga nti bwo bwennyonnyolako mu


bumpimpi

Russell, D. L. (2009) annyonnyola ku Busange mu lufuutifuuti wammanga.

Setting refers to the time, geographical locations and the general circumstances that
prevail the narrative. The setting helps to establish the mood of the story.
There are two types of setting,
 Integral setting, the setting is fully described in both time and place, usually found
in historical fiction.
 Backdrop setting: the setting is vague and general, which helps to convey a
universal, timeless tale. This type of setting is often found in folktales and simply
sets the stage and the mood, forexample; ‘one upon a time, there was a great land
that had an Emperor”

Kale nno nabwekityo obusange bukulu nnyo erizi abayi okubutegeera wamu
n’okubukozesa nga bwetuneeyongera okulaba mu maaso.

OKUNNYONNYOLA ENGERI GYENNEYAMBISAAMU GOOGLE


OKUSOBOLA OKUYAMBA ABAYIZI BANGE MU KWEFUMIITIRIZA KU
MULUKO WAMU N’OBUSANGE OLWO BASOBOLE BULUNGI OKUFUNA
ENJAWULO YAABYO.
Oluvannyuma lw’okukizuula nti okukozesa tekinologiya kijja kusobozesa abayizi bange
okwefumiitiriza obulungi ku bisomesebwa ate n’okulaba embeera y’ekyasa kya 21 nga
Janelle Cox bwalambika ku www.teachhub.com nti;
“As we sail through the 21st century, technology in the classroom is becoming
more predominant. Tablets are replacing our text books and we can research just
about anything we want on our smartphones. Social media has become
commonplace and the way we use technology has completely transformed the
way we live.”

Mu kuvvuunula, Janelle agamba nti:


Nga bwetutambula mu kyasa kya 21, tekinologiya mu kibiina akyase. “tablets”
zisikidde obutabo bwaffe obuwandiikibwamu era tusobola okunoonyereza ku
kyonna kyetwagala nga tukozesa amasimu (smartphones) gaffe. Emikutu
emiyungabantu gifuuse mmere ya leero n’engeri gyetukozesaamu tekinologiya
ddala ekyusizza obulamu bwaffe.
Oluvannyuma w’okuzuula ekyo, nnasalawo nennoonya omukutu ogunaasobola
okwanguyira abayizi bange ssaako n’ange omusomesa waabwe. Kale wano nnagwa ku
mukutu gwa Google nga gulina omukutu mu gwo, ogwa Google Groups. Neesanga nga
guno gujja kutwanguyira olw’ensonga nti kyali kitwetaagisa kuggulawo bugguzi email
ku mukutu gwa “gmail”. Eky’essanyu, abayizi bange abasing baali balina email zino era
n’abo abataalina n’embayambako okuziggulawo. Mu ngeri yeemu twesanga nga
amasimu ga”smartphone agasinga galina application eno eya Gmail nga bwekiragibwa
mu kifaananyi wammanga.
Bwento nagenda mu maaso n’entondawo ekibiina ekingatta wamu n’abayizi bange
nga tukozesa emails era nga kinno nakituuma EKIBIINA KY’OLULIMI
OLUGANDA (Mr. Kanyike Atwif nga bwetulaba wammanga
Awo nno nagatta abayizi bange ku kibiina kino era n’enkifunira n’omukutu nga oyo
atakyryunzeeko buterereevu asobola okutukyalira ku mutimbagano nga
bwekiragibwa wammanga.

Wammanga y’omu ku bayizi nga yeetaba mu kuwanyisiganya ebirowoozo ng’ayita


mu kuttottola ebyo ebyasomeddwako mu kibiina ku mukutu gwaffe
ogw’okumutimbagano.
Nabwekityo omuntu yenna asobola okutukyalirako ku mutimbagano ng’ayita ku
link eno:
http:groups.google.com/d/msgid/ekibiina-kyolulimi-olugandamrkanyike-
atwif/CAASrXKcUvK7hZ366yqqnif2%2BOm0ymjCAahfHt%3DwsiQW-rVCQ
%40mail.gmail.com
Nga abayizi bamaze bulungi okwegatta ku kibiina kino, okobaganya ebirowoozo
mu ngeri y’okwefumiitiriza kwatabdika nga bwetulaba omuyizi omu bw’ayungulula
ebyo ebyasomeddwa kumakya.
OBUZIBU ABAYIZI BWEBASANGA MU KUTEGEERA OMULUKO WAMU
N’OBUSANGE, SSAAKO N’OKUBYAWULA.
Abayizi basanga obuzibu obw’amaanyi okusengeka obulungi emitendera etaano egikola
omuluko gw’omuzannyo era batera nnyo oubitabika, bangi ku bo ssinga baba basobodde
okukuwa ennyanjula baba baagaala bazzeko kukuwa kinyusi nga bweguli mu ngero, oba
obutabo.

Kitawe n’ebwaba asobodde okutegeera okumenya ebitendo ebyo ebitaano, kimubeerera


kizibu okusobola okuwa ebitundu eby’enkukunala ebigoberera ebitendo ebyo okuva mu
muzannyo oguba gumuweereddwa.

Bwekituuka ku ntikko, abasinga balowooza nti awo awasinga okubasanyusa mu


muzannyoo gyebayita entikko era awo bakunnyonnyolera ddala nga n’ebyokulabirako
bakuwa, kumbe wattu bali ku majaani bakolonga.

Ensiitaaniro bandibadde bagitegeera wabula ate abasinga bagitabula n’enkyukira, era


osanga oli akuwandiikidde bulungi naye nga abitabise.

Kati ate newajja wabaawo abalala nga bo ekizibu kyabwe kinene ddala, nga bano bo
tebasobola kwawula wakati wa Muluko na Busange. Bano singa kakutanda n’obawa
ekibuuzo nga kikwatagana ku busange, kyangu nnyo okubasanga bakuteereddewo
ebitendo byonna eby’okuluko.

EMIRIMU EGIYINZA OKUYAMBA ABAYIZI OKUTEGEERA WAMU


N’OKWAWULA OMUKULUKO KU BUSANGE.

a) Ng’owa eby’okulabirako eby’enkukukunala, laga engeri omuwandiisi


w’omuzannyo gw’osussa emmwanyi gyalaka obukugu by’omuluko mu
nsengeeka y’omuzannyo ogwo.
b) Ddala omutwe gw’omuzannyo gw’osussa emmwanyi gugendera ku
binyumizibwa mu muzannyo gwegumu ogwo. Nga weesigama ku mutwe ogwo,
laga enger omuwandiisi gyatuuka ku ntikko y’omuzannyo n’ebibaawo
oluvannyuma l’wentikko ng’obisengese bulungi.
c) N’okunnyonnyola okumatiza, laga enjawulo eri wakati w’obusange n’omuluko
mu muzannyo gwa Wycliff Kiyinji, ‘Gw’osussa Emmwanyi”
d) Mu ngeri ematiza, nnyonnyola ku bino wammanga
 Ennyanjula
 Ensiitaniro
 Entikko
 Enkyukira
 Enfundikira

e) Laga engeri Wycliff Kiyinji gyakozesezza obusange okubaako obubaka


bwatutuusaako obuli mu muzannyo gw’osussa emmwanyi.

f) Nga weesiga ku kabonero akakuweereddwa wammanga, nyonnyola


n’ebyokulabirako engeri omuwandiisi wa gw’osussa emmwanyi gyakakozesaamu
okusengekeka omuzannyo gwe.
EBIJULIZIBWA.

Ann Casano
Aravind Vijaya Kumar Ketineni, Research on routing protocols, A Literature Survey
Hatton and Smith (1995) Reflective Writing Course
http://www.edutopia.org
http://www.linkedin.com
http://www.sheffield.ac.uk
https://blogs.shu.ac.uk (reflection:An Aproach to Teaching and Learning)
Russell, D. L. (2009), Literature for Children: A short Introduction
www.commonsense.org
www.teachhub.com
www.teachhub.com

You might also like