Download as pdf or txt
Download as pdf or txt
You are on page 1of 27

TUSOME SAPULE ESSAALA Y’EVANGILI

1
« Maama, ono mwana wo, muyigiriza, ono
nnyoko” (Yoanne 19:26-27)

Let us recite the Rosary, a Gospel Prayer,


Published in Luganda as

SAPULE: ESSAALA Y’EVANGILI

Published by
Biblical Apostolate- Archdiocese of Kampala
P.O. Box 14125, Mengo
And
The Bible Society of Uganda
P. O. Box 3621
KAMPALA, Uganda

© Biblical Apostolate- Archdiocese of Kampala, 2008


Scripture quotations are taken from
BAYIBULI, Ekigambo kya Katonda Omuli
N’Ebitabo Ebiyitibwa
Dewuterokanoniko/Apokulifa

© The Bible Society of Uganda, 2003

2
ISBN 9970 715 14 5
Nihil Obstat: Msgr. C.M. Kimbowa
01-03-2008
Imprimatur: +Christopher Kakooza
03-03-2008

Ebirimu

Ennyanjula…………………………….3
Eby’amagero Eby’essanyu.....................6
Eby’amagero Eby’ekitangaala………..11
Eby’amagero Eby’okubonaabona…….14
Eby’amagero Eby’okugulumizibwa….17

3
Ennyanjula

Sapule kye ki?

Edda nga Baibuli tennakubibwa mu kyapa yadde


okuvvuunulwa mu nimi enzaaliranwa, sso nga
n’abamanyi okusoma ba munyoto, kyabanga
kizibu okubunyisa Ekigambo kya Katonda mu
bantu. Abakulu b’ediini kye baava bateekawo
Sapule (chapelet mu Lufalansa) nga y’essaala
efunza eby’amagero oba ebikolwa bya Mukama
waffe Yezu Kristu eby’atulokola. Sapule yafuuka
nkuluze ya Vangili eri buli mulembe.

Ekigendererwa ky’akatabo kano

Kye tuvudde naffe tugaggawaza ensoma ya


sapule n’amasomo agagenderako mu
bulambulukufu bw’ago. Mu kusoma Sapule tuba
n’Omubeererevu Maria ng’atuyamba
okwebuuliririra ku Kigambo kya Katonda,
kubanga tukakasa nti y’atusinga okutegeera
4
Omwana we ate n’okuba nti yamwegattako
okutulokola. Katonda yatonda Maria nga
mutuukirivu, talina kibi kisikire (ajjudde
enneema), kuba yali wa kuzaala Omulokozi. Ye
mutonde eyasooka okugabana ku bununuzi bwa
Kristu. Nga tusinziira mu kitabo
Ky’okubikkulirwa, tukakasa nti Maria yatikkirwa
dda engule etafuma, anti Namasole agabana ku
kitiibwa n’obuyinza obwa Kabaka. Bwe tutyo
Maria tumuwa ebikolwa ebibiri
eby’okulumizibwa ebisembayo. Sapule era
tugiyita Rosali kuba buli mpeke
tugyefaananyiriza ekimuli kya Rosa ekifuula
essaala yaffe ey’akawoowo eri Katonda.
Okutambuza empeke ezo mu ngalo ggwe
wamma kituyamba okukuumira ebirowoozo
byaffe ku mulamwa. Kristu ng’ali ku musaalaba
yatulaamira Nnyina. Biikira Maria ng’ayita mu
Dominiko Omutuukirivu (1172-1221) atukakasa
nti sapule ky’ekyoto kw’agunjulira abaana be mu
diini. Tugisome nno n’omutima ogw’ebuulirira.

5
Weetegereze: Tusobola okufundikira sapule
n’essaala “Biikira Maria Ow’ekisa” oba
“Amatendo ga Nnyaffe Maria”.
Biblical Apostolate ky’ekitongole ekikuyamba
okutambula n’ekigambo kya Katonda mu bulamu
bwo, olokoke.
OKWEBAZA: Twebaza The Bible Society of
Uganda olwokusasulira omulimu ogw’okukubisa
akatabo kano mu kyapa.
Msgr. John Waynand Katende
(Chairman Biblical Apostolate Archdiocese of
Kampala)
Members: Msgr. Gerald M. Kalumba and Fr.
Vincent Kato

OKUTANDIKA SAPULE
Oluyimba
Mu linnya lya Patri…
Nzikiriza mu Katonda Patri…
Kitaffe ali mu ggulu…
Mirembe Maria…
Ekitiibwa kibe…
6
EBY’AMAGERO EBY’ESSANYU

Omulamwa: Okwekuza n’obujeemu bwa Adam


ne Eva bye byaleeta ekibi n’okubonaabona mu
nsi. Yezu yatulokola mu kibi ng’ayita mu
bwetowaze n’obuwulize eri Katonda.
Ye ne Biikira Maria tubalabirako empisa ezo
ennungi.

7
1. Malayika Gabrieli abuulira Maria nga
bw’alondeddwa okuzaala Omulokozi.
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire empisa ennungi
ey’obwetowaze n’obuwulize.

Essomo: Awo malayika n’amugamba nti:


“Maria, totya, kubanga Katonda akuwadde
omukisa: ojja kuba lubuto,ozaale omwana wa
bulenzi, omutuume erinnya lye Yezu. Aliba wa
buyinza, era aliyitibwa mwana wa Katonda
Atenkanika. Mukama Katonda alimuwa
obwakabaka bwa Daudi jjajjaawe. Alifuga
bazzukulu ba Yakobo emirembe gyonna, era
obwakabaka bwe si bwakuggwaawo.”
Maria n’abuuza malayika nti: “eky’okuba
olubuto kinaatuukirira kitya, nga simanyi
musajja?” Malayika n’amuddamu nti: “Mwoyo
Mutuukirivu anajja ku ggwe, era amaanyi ga
Katonda Atenkanika ganaaba naawe, n’olwekyo
omwana alizaalibwa aliyitibwa Mutuukirivu,
Mwana wa Katonda. Muganda wo Elizaabeeti,
newankubadde yayitibwanga mugumba, era nga
mukadde, guno omwezi gwa mukaaga ng’ali
8
lubuto. Era naye ajja kuzaala omwana wa bulenzi
kubanga tewali Katonda ky’ayogera kitayinzika”
Awo Maria n’agamba nti: “Nzuuno omuzaana
wa Mukama; nzikirizza, kibe nga bw’ogambye.”
Awo malayika n’ava w’ali, n’agenda…… (Lk
1:30-38)…
(Kitaffe.., Mirembe Maria x 10, Ekitiibwa...)

2. Maria akyalira muganda we Elizabeti.


Kye tusaba: Ayi Maria otusabire empisa
ennungi ey’okwagalana n’okutakabanira emyoyo
gy’abantu.

Essomo: Mu nnaku ezo, Maria n’asituka n’alaga


mangu mu nsi ey’ensozi, mu kibuga ky’omu
Buyudaaya, n’ayingira mu nnyumba ya Zakariya,
n’alamusa Elizaabeeti. Awo olwatuuka,
Elizaabeeti bwe yawulira Maria ng’amulamusa,
omwana n’azannya mu lubuto lwa Elizaabeeti.
Era Elizaabeeti n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukirivu,
n’akangula nnyo ku ddoboozi, n’agamba nti:
“Waweebwa omukisa okusinga abakazi abalala

9
bonna, n’omwana gw’olizaala yaweebwa
omukisa…. (Lk 1:39-42)
(Mirembe...)

3. Maria azaala Yezu e Beteleemu mu kiraalo


ky’ente.
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tube baavu mu
mwoyo (Matayo 5 :3)

Essomo: Maria yali lubuto, era bwe baali eyo,


ennaku ze ez’okuzaala ne zituuka. N’azaala
omwana we omuggulanda, wa bulenzi,
n’amubikka mu bugoye, n’amuzazika mu
mmanvu ebisolo mwe biriira, kubanga mu
nnyumba y’abagenyi tebaafunamu kifo…
(Lk.2:6-7)
(Mirembe…)

4. Bazadde ba Yezu bamutwala mu kiggwa


okumusingira ewa Katonda.
Kye tusaba : Ayi Maria tusabire empisa
ennungi ey’obutukuvu.

10
Essomo : Awo Yozefu ne Maria bwe batuusa
ennaku ez’okutukuzibwa kwabwe, eziragirwa mu
mateeka ga Musa, ne batwala omwana Yezu e
Yeruzaalemu okumwanjula eri Omukama, nga
bwe kyawandiikibwa mu tteeka lya Mukama nti:
“Buli mwana ow’obulenzi omuggulanda,
anaawongerwanga Mukama.”… (Lk 2:22-23)….
(Mirembe..)

5. Bazadde ba Yezu bamuzuula mu kiggwa


ng’ali n’abakulu b’eddiini.
Kye tusaba : Ayi Maria tusabire empisa ennungi
ey’obuwulize

Essomo : Abazadde ba Yezu baagendanga buli


mwaka e
Yeruzaalemu ku Mbaga Ejjukirirwako
Okuyitako. Yezu bwe yaweza emyaka ekkumi
n’ebiri, ne bambuka e Yeruzaalemu nga bwe
baakolanga mu kiseera eky’Embaga. Bwe baali
baddayo ewaabwe, ng’ennaku ez’Embaga
ziweddeko, Omwana Yezu n’asigala mu
11
Yeruzaalemu, bazadde be nga tebategedde. Bwe
baamala okutambula olugendo lwa lunaku
lulamba, nga balowooza nti ali mu kibiina
ky’abantu be baali batambula nabo, olwo ne
bamunoonya mu baganda baabwe ne mu
mikwano gyabwe. Bwe bataamuzuula, ne
baddayo e Yeruzaalemu nga bamunoonya.
Waayitawo ennaku ssatu, ne bamuzuula mu
Ssinzizo, ng’atudde n’abayigiriza,
ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo. Bonna
abaamuwulira, bewuunya amagezi ge
n’okuddamu kwe.
Bazadde be bwe baamulaba, ne bawuniikirira.
Nnyina n’amugamba nti: “Mwana wange, lwaki
otukoze bwoti? Kitaawo nange tubadde
tukunoonya nga tweraliikirira.” Ye n’abagamba
nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi
nti nteekwa okukola ku bya Kitange?” Naye bo
ne batategeera ky’abagambye. Awo n’aserengeta
nabo e Nazaareeti, era n’abawuliranga. Nnyina
n’akuumanga bino mu mutima gwe. Awo Yezu
ne yeyongera okukula, era ne yeyongera mu

12
magezi n’okusiimibwa Katonda n’abantu… (Lk
2: 41-53) (Mirembe…)

+++++++++++++++++++++++++++++++++++

Oluyimba
Mu linnya lya Patri…
Nzikiriza mu Katonda Patri…
Kitaffe ali mu ggulu…
Mirembe Maria…
Ekitiibwa kibe…

13
EBY’AMAGERO EBY’EKITANGAALA

Omulamwa: Yezu Kristu ky’ekitangaala


ky’ensi, amugoberera tatambulira mu nzikiza ya
kibi. Kino yakyolesa mu njgiriza ne mu bikolwa
bye. Naffe atuyita okubeera ekitangaala
n’omunnyo gw’ensi mu bulamu bwaffe (Matayo
5:13-16).

1. Yezu Kristu abatizibwa mu mugga


Yorudaani.
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tuwulirenga
Yezu Omwana wo nga Patri bwe yatulagira.

Essomo: Awo Yezu n’ava e Galilaaya


n’atuuka ku mugga Yorudaani eri Yowaana,
abatizibwe Yowaana…Yezu bwe yamala
okubatizibwa, amangu ago n’ava mu mazzi,
awo eggulu ne libikkuka, n’alaba Mwoyo wa
Katonda ng’akka ng’ejjiba, ng’ajja ku ye. Era
eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti:
“Ono ye Mwana wange omwagalwa era gwe
nsiimira ddala”… (Mt 3:13.16-17)
14
2. Yezu Kristu ayoleka ekitiibwa n’ekisa
kye ku mbaga y’eKaana
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire twolekenga
ekisa kya Katonda eri bannaffe.

Essomo: Bwe waayitawo ennaku bbiri, ne


wabaawo embaga y’obugole mu Kaana eky’e
Galilaaya. Nnyina Yezu yaliyo. Yezu naye
yayitibwa ku mbaga wamu n’abayigirizwa
be. Omwenge ogw’emizabbibu bwe
gwaggwaawo, nnyina n’amugamba nti:
“Tebakyalina mwenge.”…Omugabuzi
w’embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse
omwenge, n’atamanya gye guvudde…Mu
byewuunyoo Yezu bye yakola kino kye
kyasooka. Yakikolera mu Kaana eky’e
Galilaaya n’alaga ekitiibwa kye, abayigirizwa
be ne bamukkiriza…
(Jn 2:1-3, 9.11)

3. Yezu Kristu alangirira obwakabaka


bwa Katonda
15
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tudde eri
Katonda

Essomo : Awo Yowana bwe yamala


okuggalirwa mu kkomera, Yezu n’ajja e
Galilaaya, n’ategeeza abantu Amawulire
Amalungi agava eri Katonda, n’agamba nti:
“Ekiseera ekyali kirindiriddwa kituuse.”
Obwakabaka bwa Katonda busembedde.
Mwenenye, era mukkirize Amawulire
Amalungi.”…. (Mk 1: 14-15)

4. Yezu Kristu afuuka obulala n’ayolesa


akitiibwa eky’omubiri kye tulifuna mu
kuzuukira
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tutuuke mu
kitiibwa eky’okuzuukira

Essomo: Awo Yezu n’ayita abayigirizwa be


ekkumi n’ababiri ne bakuŋŋaanira w’ali, n’abawa
amaanyi n’obuyinza okugoba emyoyo emibi
gyonna ku bantu n’okubawonya endwadde. Bwe
waayitawo ng’ennaku nga munaana nga Yezu
16
amaze okwogera ebyo, n’atwala Petero, Yowana
ne Yakobo n’alinnya ku lusozi okwegayirira.
Bwe yali akyegayirira, endabika y’amaaso ge
n’enfuuka, era ebyambalo bye ne bitukula, ne
byakaayakana…awo eddoboozi ne lyogera mu
kire nga ligamba nti: “Ono ye mwana wange,
omulonde wange, mumuwulirenga”… (Lk
9:1.2.35)

5. Yezu Kristu akola essakramentu


ettukuvu ennyo erya Ukaristia
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire okusinza
essakramentu lya Ukaristia n’okusembera
nga twetegese bulungi.

Essomo: Awo abayigirizwa be bwe baali


balya, Yezu n’atoola omugaati ne yeebaza
Katonda, n’agumenyaamenyamu n’abawa,
n’abagamba nti: “Mutoole mulye, kino gwe
mubiri gwange”. Ate n’akwata ekikompe, era
bwe yamala okwebaza Katonda n’abawa
bonna ne banywa, n’agamba nti: Kino gwe
musaayi gwange ogunaayiibwa ku lw’abangi,
17
era ogukakasa endagaano empya ekoleddwa
Katonda. Mazima mbagamba nti siryongera
kunywa mwenge gwa mizabbibu okutuusa
lwe ndigunywa, nga muggya mu bwakabaka
bwa Katonda”. (Mk14:22-25)

+++++++++++++++++++++++++++++++++++

Oluyimba
Mu linnya lya Patri…
Nzikiriza mu Katonda Patri…
Kitaffe ali mu ggulu…
Mirembe Maria…
Ekitiibwa kibe..

18
EBY’AMAGERO EBY’OKUBONAABONA

Omulamwa: Kristu bw’abonaabona n’atufiirira


ku musaalaba lwe tutegeera obulungi Katonda
bw’atwagala okuzaama. Ogwo naffe gwe
mulyango mwe tuyingirira ssawo mu mukwano
gwa Katonda nga tubatizibwa.

1. Yezu Kristu yelariikirira ku lwaffe mu


Getsemani.

19
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tukyawe ebibi
byaffe

Essomo: Era n’agamba nti: “Kitange oyinza


byonna. Nzigyaako ekikompe kino
eky’okubonaabona. Naye ggwe ky’oyagala kye
kiba kikolebwa, sso si nze kye njagala.”…Mk
14:36….

2. Yezu Kristu asibibwa ku mpagi n’akubwa


nnyo
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire twebonerezenga

Essomo: Pilaato n’ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki


ky’akoze?” Kyokka ne beeyongera bweyongezi
okuleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.”
Awo Pilaato olw’okwagala okusanyusa ekibiina
ky’abantu, n’abateera Barabba, ate Yezu bwe
yamala okukubibwa n’embooko eriko amalobo
agasuna, Pilaato n’amuwaayo okukomererwa ku
musaalaba…(Mk 15: 14-15)….

20
3. Yezu Kristu atikkirwa omuge gw’amaggwa
ku mutwe
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire
tugumiikirizenga mu bulumi

Essomo : Awo abaserikale ne batwala Yezu mu


lubiri lwa Pilaato oluyitibwa Puriyatoriyo, ne
bayita bannaabwe ab’ekibinja ekyo kyonna., ne
bakuŋŋaana. Ne bambaza Yezu olugoye
olumyufu, ne bawetaaweta amaggwa, ne
bagakolamu engule, ne bagimuteeka ku
mutwe…(Mk: 15: 16-17)…

4. Yezu Kristu yeetikka omusaalaba gwe.


Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tulemenga
kwemulugunya

Essomo : Awo ne bakwata Yezu ne bamutwala,


n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe,
n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu
Lwebuleeyi ekiyitibwa Gologoota. Ne
bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era
ne bakomerera n’abalala babiri ku musaalaba,
21
eruuyi n’eruuyi, Yezu nga ye ali wakati…(Jn 19:
17-18)….

5 Yezu Kristu akomererwa ku musaalaba


n’afa
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire tunywerere mu
mpisa ennungi

Essomo: Yezu bwe yamala okuweebwa


omwenge omukaatuufu, n’agamba nti:
“Kiwedde.” N’akutamya omutwe n’afa….(Jn
19:30).

+++++++++++++++++++++++++++++++++++

Oluyimba
Mu linnya lya Patri…
Nzikiriza mu Katonda Patri…
Kitaffe ali mu ggulu…
Mirembe Maria…
Ekitiibwa kibe…

22
EBY’AMAGERO
EBY’OKUGULUMIZIBWA

Omulamwa: Mukama Waffe Yezu yeetowaza


n’awulira okutuusa okufa mu nsonyi ku
musaalaba ne Katonda kye yava amugulumiza
ng’amuzuukiza. Naffe bwe tweyisa tutyo tuli ba
kumufaanana. Biikira Maria ye musaale.

23
1. Yezu Kristu azuukira mu bafu.
Kye tusaba: Ayi Maria tunyweze mu ddiini.
Essomo: Bwe baayingira mu ntaana ne balaba
omuvubuka ng’atudde ku ludda olwa ddyo,
ng’ayambadde ekkanzu enjeru, ne bawuniikirira.
N’abagamba nti: “Muleke kuwuniikirira.
Munoonya Yezu Omunaazareeti eyakomererwa
ku musaalaba? Wano taliiwo. Azuukidde.
Mulabe, kino ky’ekifo we baabadde bamutadde.
Mugende mubuulire abayigirizwa be nga ne
Petero kwali nti: “Abakulembeddemu okugenda
e Galilaaya. Eyo gye mulimulabira nga bwe
yabagamba.” Awo ne bava ku ntaana nga
badduka kubanga baakwatibwa ensisi
n’okuwuniikirira. Era ne batabuulirako muntu
n’omu kubanga baali batidde… (Mk 16: 5-8)…

2. Yezu Kristu alinnya mu ggulu


Kye tusaba: Ayi Maria twongere essuubi
ery’okulokoka

Essomo: Awo Yezu n’abatwala ebweru


w’ekibuga, n’agenda nabo e Betaniya, n’agolola
24
emikono gye, n’abawa omukisa. Awo olwatuuka
ng’akyabawa omukisa, n’ava we bali,
n’atwalibwa mu ggulu. Ne bamusinza, ne
baddayo e Yeruzaalemu nga bajjudde essanyu
lingi. Ne babeeranga mu Ssinzizo bulijjo nga
batendereza Katonda…Lk 24: 50-58…

3. Yezu Kristu asindika Mwoyo Mutuukirivu


mu batume be
Kye tusaba:Ayi Maria otwagaze Mwoyo
Mutuukirivu ne by’atuleetera

Essomo: Awo olunaku olwa Pentekooti ne


lutuuka. Ku olwo, abakkiriza bonna baali
bakuŋŋaanidde mu kifo kimu. Amangu ago ne
wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu, nga
kulinga okuwuuma okw’empewo ey’amaanyi
ennyo, ne kujjula ennyumba yonna mwe baali
batudde. Awo ne balaba ennimi eziri
ng’ez’omuliro, nga zeeyawuddemu, buli lulimi
ne lubeera ku buli omu ku bo. Bonna ne
bajjuzibwa Mwoyo Mutuukirivu, era ne
25
batandika okwogera mu nnimi eza buli ngeri, nga
Mwoyo Mutuukirivu bwe yaziboogeza…
(Ebikolwa 2; 1-4)…

4. Biikira Maria atwalibwa mu ggulu


Kye tusaba : Nnyaffe Maria tumusanyukire

Essomo : Ekyewuunyisa ne kirabika ku ggulu:


ne wabaawo omukazi ng’ayambadde enjuba, ate
ng’omwezi guli wansi w’ebigere bye, ku mutwe
gwe nga kuliko engule ya mmunyeenye kkumi
na bbiri… (Rev.12;1)...

5. Biikira Maria alya mu ggulu obukulu


obutasingika
Kye tusaba: Ayi Maria tusabire okufa obulungi
naffe tutikkirwe engule ey’obuwanguzi

Essomo: Oyo awangula, ndimukkiriza okutuula


awamu nange ku ntebe yange ey’obwakabaka,
nga nange bwe nawangula, ne ntuula wamu ne
Kitange ku ntebe ye ey’obwakabaka. (Rev 3:21)

26
27

You might also like