Download as pdf or txt
Download as pdf or txt
You are on page 1of 44

SR.

IMMACULATE
ROSE
NAMAKULA
@50 YEARS OF DEDICATED
RELIGIOUS LIFE

26 | OCT. | 2023

OBUBAKA OBUYOZAYOZA EBIKWATA KU ORDER


SR. OKUTUKA KU JUBIREEWO BULAMU BWA SR. OF MASS
Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 01
OUR LADY OF MT. CARMEL
PRIMARY SCHOOL BUSEGA
The Headteacher, Pupils & Staff of OUR LADY OF
MT. CARMEL PRIMARY SCHOOL congratulate
Rev. Sr. Immaculate Rose Namakula
on reaching your Golden Jubilee in serving the Lord
You are a really Good Example to the School Community
and May the good Lord continue guiding
you in all your Endeavors.

P.O. Box: 672 Kampala, Contact: 0706 482459


E-mail: ourladycarme119@gmail.com
Page 01 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years
Table of Contents
A patient Mother, great innovator and wise
03 Obubaka bwa Ssabasumba 13 counsellor – by Jerome Katende

04 Obubaka bwa Nankulu – Daughters of Mary – Bwanda 14 Senga yogaayoga – Charles ssemwogerere

05 Obubaka bwa Bwana Mukulu – Busega PARISH 15 Webale kunjola – Nakitende Mary Immaculate

06 Obubaka bwa Ssentebe – chairman organizing committee. 16 Obubaka bwa John Paul Katamba

Yogaayoga nnyo Mulamu, webale


10 kumbererawo – Mrs Magdalene Nandawula
18 Webale kutugunjula - Petero

Baaba webale kuba mwesigwa era ddala


11 ojja kugenda mu ggulu – sr. nakitende
24 Obubaka bwa Fr. Emmanuel Ssekamaanya

Enviable Pateince and benevolence


12 – Baaba Naluyima Josephine
27 Obulamu bwa Sr. Immaculate Rose Namakula

Kristu kyekikompe kyobulamu


12 bwaffe – Ben Ssemakula 35 Order of Mass

Omukungannya
Mbalamusizza nnyo ba ssebo Kisaanye bulijjo okwebaza Mwebale nnyo mwebalire ddala
ne ba Nyabo mu biti byammwe. Omukama olw’ebirungi byatuwa okujja ne mubaawo nga abajulizi.
Mwebale okujja. Leero lunaku lwa mu bulamu bwaffe era yensonga
byafaayo era lwanjawulo nnyo anti lwaki tukunganye wano. Ddala Mu ngeri eyenjawulo , ntuusa
tukunganye okwebaza Omukama wamma kisaanidde okugulumiza okusiima kwange eri abo bonna
olw’ekirabo ky’obunnaddiini Omukama n’okumutenda anti awo abeetabye mu nteekateeka zino
kyeyatuwa nakikwasa Omugole ate naye wasinziira okutwongera mu ngeri eyenjawulo nga mutoola
waffe, era muganda waffe, ebirungi kafukunya eby’omwoyo ku birungi Omukama bye yabawa
mwannyinna ffe, Maama waffe, n’omubiri. Tukusabira bulijjo okulaba nti omukolo gutabula
senga ffe, jjajja ffe, mulamu waffe, Omulimu omulungi ogwo bukwakku! Twebaza abakoze
sso nga ate era mukwano gwaffe. gweyatandika mu ggwe, obutaweeera okulaba nga akatabo
agumalirize. kano akebyafaayo kafulumizbwa.
Nnyabo sr. Immaculate Rose Omukama yaba abaddizzaawo.
Namakula, ffe tuzze kukwebaza Abagenyi baffe mwenna Emirembe n’essanyu birijjo
olwokukuuma obulungi ekirabo tubeebaza okwefiisa akadde bibakulemberemu.
kyaffe Omukama kye yakukwasa kano ne mukatuwa nga ekirabo
kati emyaka ataano be ddu! okugulumiza Omukama. Katamba John Paul

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 1


YI
MM
ACULATE
B ST. MARYS IMMACULATE VILLA PRIMARY SCHOOL
OA P.O.Box 573 Masaka
R
ST MA

RDI
P S NG
VILLA MARIA

W
OR ES
S HEAD TEACHER DEPUTY HEAD TEACHER
CC
K HA
RD FOR SU
0754491121 / 0775548726 0773776730 / 0753605903

Pupils in the skilling lessons

Congratulates Sr. Immaculate Namakula On


her Golden jubilee in sisterhood
MOTTO: VISION:

Work hard for success To produce all-round citizens


PLE PERFORMANCE SINCE 2010
Guides at kololo ceremonial grounds
YEAR DIV 1 DIV 2 TOTAL
2010 23 01 24
2011 33 -- 33
2012 35 -- 35
2013 31 -- 31
2014 34 -- 34
2015 40 -- 40 Pupils Taking Computer Lessons
2016 41 -- 41
2017 42 -- 42 Scouts group photo after winning trophies
2018 56 -- 56 Education week victories
2019 67 -- 67
2021 47 01 48
2022 61 04 65

ADMISSION: BABY
Page 2 CLASS
Sr. -Immaculate
PRIMARY SIXRose
(P.6) @ 50 Years
Obubaka Bwa
SSAABASUMBA OW’ESSAZA EKKULU ERYA KAMPALA
KU JUBIREEWO (50) YA REV. SR. IMMACULATE ROSE NAMAKULA

Nyabo Sr. Immaculate Rose Namakula, yogaayoga n’okubyenyumirizaamu. Twegatta naawe mu


nnyo! Twebaza Omukama Katonda okuweza kwebaza kuno era ne twongera okukusabira
emyaka 50 be ddu ng’oweereza Omukama n’Eklezia emikisa gya Katonda bulijjo gikubeereko oyongere
ng’Omunnadiini, Katonda yeebale! Tugambire okuweereza obulungi mu Eklezia Katolika.
wamu n’omuwandiisi wa Zabbuli nti: Mutendereze Tukusabira obulamu obulungi mu mwoyo ne mu
Omukama kubanga mulungi ekisa kye kya mubiri. Omukama Katonda akubeere kumpi mu
Mirembe gyonna (Zabbuli 118:1). byonna by’okola bigenderere okusanyusa Katonda
waffe awamu n’okuyamba abantu be, beyongere
Eklezia yabugaana essanyu ng’ofuuse omunnaddiini okumumanya, okumwagala era n’okumumanyisa
era omuzaana wa Mukama, ate olwa leero mu bantu abalala.
tukuŋŋanye ‘Okujjukira Ekisa ky’Omukama
n’Okumwebaza’ oyo akutuusizza ku Jubireewo eno Ntwala omukisa guno okwebaza abo bonna
kati emyaka 50 be ddu. Omukama by’akukoledde abakuyambye mu buweereza bwo naddala
nkuyanja era ku lunaku luno tuyimbe Zabbuli abazadde, eb’eŋŋanda n’emikwano gyo. Mu ngeri
tutendereze Katonda, tuyimbe tutendereze Kabaka y’emu nneebaza bonna abeetabye mu kuteekateeka
waffe (Zab. 47: 6). Jubireewo eno ate nammwe mwenna okubeerawo
ku mukolo guno.
Ntwala omukisa guno naawe okukwebaza ennyo
nnyini ddala olw’obuweereza obulungi nga wemaliza Nkwagaliza ekijaguzo ekirungi, era nkusabira
Omukama n’abantu be. Ebyafaayo by’obulamu bwo emikisa gya Katonda mu buweereza bwo.
biraga nti oweerezza Eklezia bulungi naddala obwagazi
bwo eri abaana, webale kuyigiriza nakusomesa abaana Ad Multos Annos!
abaliko obulemu, nga bakiggala nga obalabirira mu
ngeri nyingi okumala ebbanga eddene. † Paul Ssemogerere
ARCHBISHOP OF KAMPALA
Jubireewo eno kadde katuufu okujjukira, wwa
Omukama gy’akuggye ne by’akukoledde ate

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 3


Obubaka Bwa
NANKULU, BANNABIKIRA
- DAUGHTERS OF MARY
ERI SR. IMMACULATE ROSE NAMAKULA

“Mwebaze Omukama, ebyewuunyisa. Katonda yayita Okwesiga obulabirizi bwa


mukoowoole erinnya lye;bye mu Bakulu b’Ekibiina n’akusaba Katonda nakyo kirabikidde nnyo
yakola mubimanyise mu okutandika essomero erisomesa mu bulamu bwo ate ne mu butume
mawanga. Mumuyimbire, era erigunjula abaana ba Kiggala ne bwo. Essomero lya St. Mark Vii
m u m u y i m b i r e ba Muzibe (Deaf, Deaf and Blind School for the Deaf walitandika
ettendo;munyumye ku Children) ; olw’okukkiriza okwo tewali bikola naye olw’okubeera
byewuunyisa bye byonna. okunywevu kwolina mu Katonda nga wali wesiga obulabirizi bwa
Mutendereze erinnya lye wakkiriza okukola omulimo Katonda, ye yennyini ebikola
ettukuvu, Emitima gy’abanoonya ogwo. Katonda akukozesezza yakuyamba okubifuna. Ekitiibwa
Omukama gisanyuke. Munoonye ebyamagero bingi mu ssomero lya n’ettendo tubiddize Katonda.
Omukama, munoonye amaanyi St. Mark vii School for the Deaf.
ge, munoonye bulijjo amaaso Webale kwoleka kukkiriza okwoTusaba Nyaffe Bikira Maria
ge. Mujjukire ebyewuuunyisa okunywevu era ffe Bannabiikira
ayongere okukulera era akusabire
byeyakola, ebikuuno bye, oli kyakulabirako kinene nnyo mu
emikisa n’enneema bulijjo, osobole
n’ennamula y’akamwa ke”(Zab kukkiriza entereza za Katonda mu
okwongera okuweereza Yezu
105/104: 1 -5) mbeera zonna. Kristu muganzi wo mu ssanyu,
mu ddembe era bulijjo “ojjukire
Ggwe wamma kisaanye tusitulire Katonda akuwadde ebitone bingi, ebyewuunyisa byeyakola” (Zab
wamu amaloboozi twebaze enneema, n’obuwanguzi naye 105: 5).
Katonda era tumugulumize osigadde ng’oli mwetowaze nnyo.
nnyo olw’ekisa, omukwano, Webale kutuyigiriza mu bikolwa Sister Noelina Namusoke
obulabirizi, obukuumi Omunnaddiini omwetowaze nga NANKULU
n’obusaasizi by’ayolesezza eri Rev. bwabeera.
Sr. Immaculate Rose Namakula.
Katonda akoze ebikuuno bingi Twongera okwebaza Katonda
nnyo nnyo mu bulamu bwa Sr. olw’okwagala okutasosola
Immaculate Rose mu myaka 50 kweyakuwa; abantu bonna
gy’amaze mu Bunnaddiini mu obaagala nga Katonda bwabaagala
Kibiina kyaffe ekya Bannabikira ate oyagaliza buli omu afune
– Daughters of Mary. Ayi ebirungi bya Katonda. Webale
Katonda tukugulumiza nnyo era kutulaga Yezu ajjudde okwagala
tukuddiza ekitiibwa n’ettendo asula mu ggwe.
nga tukwebaza. Katonda
agulumizibwe emirembe Obukwatampola nakyo kitone
gyonna. Katonda kye yakuwa ate
naawe okikozesezza bulungi.
Nyabo Sr. Immaculate Rose Obukwatampola bukuyambye
tukwebaza nnyo nnyini ddala, okwaῃῃanga byonna ebizito ate
okukkiriza Katonda n’akukozesa n’obeera muwanguzi.

Page 04 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


Obubaka Bw’omukulu
W’ekifo – Busega Parish

Mbalamusizza nnyo ab’oluganda mu Parish yaffe. Tukwebaza Ssemakula, Sr. Roze Nabatanzi,…
mu linnya lya Mukama waffe okukuuma endagaano gyewakola ennyumba eno ddala ya mukisa.
Yezu Kristu era mbanirizza ne Katonda emyaka 50 egiyise.
mu Busega Parish. Mu ngeri Bwemba sserabidde, olabika gwe Nnyabo Sr. Immaculate Rose
eyenjawulo nnyaniriza nnyo Musisita ow’okubiri mu kisomesa Namakula tukwagaliza obulamu
Ssabasumba w’e Ssaza ekkulu ky’e Busega kino ekyaali kigwa obulungi, Mukama ayongere
ery’e Kampala, Paul Semogerere, mu Lubaga Parish mu biseera okukukozesa emirimu emirungi
Nankulu wa Bannabikira okuva e ebyo nga Busega tanafuuka Parish naddala ng’olungamya abakyaali
Bwanda, Abasaseredooti bonna, eyetongodde. abato ng’oyigiriza ekigambo
Bannaddiini bonna n’abakulu kya Katonda, ng’osomesa,
ab’enjawulo abazze ku kijaguzo Twebaza nnyo abazadde ng’obuulirira ate n’okwegayirira
kino. abaakukuza obulungi abagenzi ebbanga lyonna.
Omw. n’Omukyala Katende,
Njozayoza nnyo Omugole ate naddala bwetwogera ku Otugguliddewo oluggi ffe nga
waffe Rev. Sr. Immaculate Rose muterabirwa mukadde waffe Busega Parish, anti naffe tutandise
Namakula okutuuka ku myaka Katende John Omulwaanyamuli okulengera emyaka 50 kubanga
50 mu Bunnaddiini, Katonda eyali omu ku mpagi luwaga ku Parish eno yatandikibwawo mu
yebale, yebale nnyo. Nga ntandikwa ya Busega Parish 1976 era kati tubuzaayo emyaka
twongera okwebaza Omukama, naddala mu kugunjula abaana ebiri gyokka tujaguze Jubileewo,
nkukwasa Zabbuli eno: ‘’ Naddiza era n’okubagazisa okuyingira tusaba Mukama fenna atuwe
ki Omukama, olwebirungi Obusaseredooti n’Obunnaddiini, obulamu tusisinkane nga Busega
byampadde? Njakuddira tusaba Mukama abazadde abo aweza 50 mu 2026.
ekikompe eky’obulokofu nkowoole abawummuze mirembe.
erinnya ly’Omukama.” Zabbuli Katonda omulungi abankuumire,
116:12-13. Nkusaba ogiyimbenga Amaka gano ga nkizo nnyo era Amiina.
buli lunaku. gabyafaayo wano mu Busega
parish, tugenyumiririzaamu nnyo Mbagaliza okujaguza
Ffe nga Bannabusega tuli musanyu olw’abaweereza b’Eklezia Katonda n’okusannyuka obulungi
lingi olw’Omwana enzaalwa Sr. beyalonda nga bava wano, abamu
Namakula Katonda gweyatuwa bawummula ate abakyaliwo Rev. Fr. Kasirye Vincent,
nabeera ekyokulabirako ekirungi twebaza Mukama, naddala Omukulu w’Ekifo Busega Parish
eri abo bonna abeegomba Rev. Sr. Theresa Nakitende ate
okuyingira mu Bannaddiini n’abazzukkulu Fr. Simon Peter

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 05


Obubaka Bwa
SSENTEBE W’OLUKIIKO
OLUTEESITEESI

Ba Ssebbo Ne ba nnyabo mbanirizza ku OLUKIIKO OLW’OKUNTIKKO OLUTEESITEESI


mukolo guno ogw’ekitiibwa ekitagambika
nga Rev.Sr. Namakula Betty (sr. Mr Makindi Rodgers Chairperson
Immaculate Rose) ajaguza okuweza Mrs. Magdalene Mutyaba (ma Fr.) Vice chairperson
emyaka ataano be ddu mu bunaddini.
Fr. Simon Peter Coordinator overall
wama kibadde kisa kya Mukama Katonda
. sister webale kukkiriza okuyitibwa Rev fr Simon Peter Kaboggoza Liturgy
Omukama era n’okwanukula ‘’nzunno Rev. fr Musukkulumu Aloysius Liturgy
omuzaana wo Mukama kinkolebwe nga Rev fr Mayega Pontiano Editor
bwogambye’’. Sister webale kuba muzaana All family members Logistics
w’Omukama munnimiro ye.
Mrs Katonnya Josephine Treasurer
Ntwala omukisa ogwenjawulo okwebaza Mrs Busingye Norah Head of catering
abantu bonna abayambeko sister mu Mrs Anne Lubowa Secretary online meetings
ngeri ezitali zimu mu myaka gino ataano. Ms Hamidah Kobusingye Secretary
Nzikiriza nga wama tegabade maanyi ge Mr Ssemakula Ben Coordinator
gokka wabula ekisa kyo Mukama n’abantu Charles Ssemwogerere Logistics
abamulungamizza mungeri ezitali zimu
Ms Florence Namugga Catering
mu mwoyo ne mu mubiri. mwebale nnyo
mwebalire ddala Omukama Katonda Dady PauL Katamba Head of entertainment
abawe omukisa ogutaliiko buyinke,
Abalala ku bukiiko obuwerako obwenjawulo besikonyeko
Omukama abadde wa kisa nnyo eri mwenna mbebaza nnyo nyini ddala Omukama abawe
sister mwanyinaffe ate baaba ate maama kyemusinga okwegomba ku mutima.
ate jjajja, ne senga. naffe netwebaza
katonda olwekirabo kya sister okubeera Mbaagaliza okwebaza n’okutendereza obulungi mu missa eno
munaddiini omulungi eyegombesa ate n’okujaguza obulungi.
wamma namuwereza mumyaka gye
egy’ekivubuka ate nasigala nga akyali Buli sekinnomu musabira okufuna omukisa gwa jubileo
mbooko ku myaka ataano. n’obuwangazi .

Sijja kwerabira kwebaza abantu bano Mwebale kujja kuweesa mukolo guno kitiibwa.
wamanga olw’okukwatira awamu
engabo ne bagirumisa mannyo okulaba Rodgers Makindi
ng’omukolo guno guba gwa kitiibwa. Ssentebe

Page 06 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


ST. MARK VII SCHOOL FOR THE
DEAF - BWANDA
The Board of Governors, Headteacher, Staff,
Students and the entire fraternity of
ST. MARK VII SCHOOL FOR
THE DEAF - BWANDA
congratulate
Rev. Sr. Immaculate Rose Namakula
upon your Golden Jubilee.
May God Bless you in the Journey ahead.

P.O. Box 1864 Masaka


MESSAGE FROM JJAJJA
MUTEEN (Omusika Wa
Maama W’omugole)

My dearest daughter Rev Sister Rose Namakula! My prayer is that God continues to use you to touch
and change lives...one day at a time, one life at a time.
What an honour to call you my daughter...
So proud to call you my own.
God has been faithful...a Golden Jubilee is no small
feat at all...standing on the vows you made to God God bless and keep you always.
those 50 years ago and standing steadfast is amazing.
Love, blessings, and favour
So proud of the many things you have done but
most importantly your vocation with the differently Your Mummy Muteeni.
abled...just truly awesome... ♥

MESSAGE FROM UNCLE


COSMA & PRUDENTIANA
KIMBUGWE

Rev Sr Immaculate Rose,

God has been faithful! Our parents must look down on


us and are very proud of what you set out to do 50 years
ago and what you have been able to achieve.

Who ever knew, those many years ago, as we grew up in


Busega, that this would be you!

Very proud of you.


God continue to bless and keep you.
Thank you for your contribution to our nation The Pearl
of Africa.

With Love,

Cosmas and Prudetiana Kimbugwe


Page 01 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years
Totya, Katonda
Akuyise Ajja
Kukuyisaawo
Bakadde baffe abatuzaalira Asooka olugendo lwe Namugamba, totya, Katonda
omujaguza, ab’oluganda lwa sr. olw’obunnaddiini akuyise ajja kukuyisaawo akufuule
Immaculate Rose Namakula, Katonda akola ebyamagero! mugole wa Kristu Yezu.
ab’oluganda n’ab’emikwano ,
Bannabiikira Sisters, nammwe Olumu yambuuza nti, “Baaba, Ebbaluwa yagikwasa nnyina
mwenna abaweereza bansabe banampa okugenda mu ng’atuuse ewaka, ye nga ajja
Mukama abazze Okutenda postulante? Njagala kubeera kubyanguya ne Taata tajja kuba
n’okugulumiza ennyo Omukama mugole wa Yezu.” Olwo ayagala muzibu. Bwatyo natandika
Ddunda Kawamigero omulungi kusaba, naye nga tuli mu December olugendo lwe olw’obunnaddiini
omuzirakisa eyalonda omwana ate nga abasaba baamala dda okutuusa lwe yalagaana!
waffe Sr. Immaculate Rose, balindirira kwatulirwa! Nange
namubalira mu babe, ye be yafuulanemuddamu nti “saba mangu Yono omugole wa Yezu Kristu
baganzi be nga kati amukumye nnyo sikulwa nga tusubwa ekintu” gwe tukulisa okufumba emyaka
emyaka 50 be ddu! Era kwolwo ye nawandiika ataano be ddu! Agulumizibwe
ebbaluwa esaba. Yagindaga Nga oyo Omukama amuwaniridde.
Namakula Betty namusanga yenna musanyufu nnyo naye Ebizibu tebibula mu bulamu
ng’azze okutandika olugendo lwe nansaba nsooke nsomemu ndabe bwaffe ng’abantu, naye Omukama
olw’obunnaddiini mu st. Aloysius oba byawandiise by’ebyo! Nti eyamwerondera amuyambye
e Bwanda mu 1968, era twasoma ssikulwa ng’answaza. okubivvuunuka.
ffenna s.1 ne s.2, nga mwana
mulungi nnyo. Nange negisoma mu bwangu, Sr. Namakula Immaculate Rose
nemmugamba “kirungi nnyo” mukazi mwegayirizi nnyo eyesiga
Olumu yangamba nti, “sister Nnagitwala ewa Nankulu Katonda ate ayagala ennyo Biikira
Baaba, nkwagala nnyo era njagala w’ekibiina era nemugamba nti Maria. Y’oyo ayagala annyo
tubeere wamu naawe . Era nnina ebbaluwa endala yiino. Zaali abaana ba muzibe ne bakiggala.
kimu kyokka ekinansobozesa ssaawa kkumi n’emu ez’olweggulo
okufuna ekyo, kwe kusoma ennyo nga nankulu ajja okwatulira abo Mwebale nnyo mwenna
n’okwegayirira nfuuke omubiikira abayitiddwa! abamuyambye mu lugendo lwe,
nga ggwe. Sifaayo, ekifo era mwongere okutuuka oyo
nebwetutabeere mu kimu, naye Okugenda mu postulante, eyamuganza lwalimutwala gy’ali.
nga nkuwulizaako n’okukulabako Nankulu erinnya lye yasooka Yezu, Maria ne Yozefu (ekika
oluusi n’oluusi!” namuddamu okusoma nga ye muwala waffe ekitukuvu) bakuwanirire bulijjo.
nti, “tusabe nnyaffe Biikira Namakula Elizabeth n’abalala; Nze Maama wo, akwagala era
Maria atuyambe akuwe ekyo kye essanyu n’amaziga nga okwo… akusabira
wegomba anti okufuuka omugole yadduka nafuluma ebweru
wa Yezu, oyo atugatta awamu mu ate nakomawo; era nnali Sr. Nakawunde Mary Elizabeth
mbeera eno ey’obunnaddiini! ntudde naayagala okunsitula.

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 09


OBUBAKA OKUVA ERI
BAWALABO AB’OMUGGIGI
GWA 1974

Kulwabaganda bange abo waggulu Maama waffe obwetowaaze, no’bugumikiriza sisobola kumalayo,
tukuyozayoza nnyo’nnyini ddala okutuuka ku Omukama ayongera okukulambika mu byokola
Kijaguzo ssemajaguzo, yoga yoga nnyo Maama , akuwe n’obulamu otuuke ku kye myaka 75.....ne
Omukama akugongonze nnyo. 100.

Webale ofumbye , webale okutulaga eby’okulabilako Ndi muwalwo


ebirungi :- okutwagala, obusanyufu , obukozi, Sr. Regina Consolate ku lwa Baganda bange .

MULAMU WEBALE KUMBERERAWO


N’ABAANA BANGE – Magdalene
Mutyaba

Abantu ba Katonda mwenna Awo nno wengattira omutima Nnina essanyu nti nnakusisinkana
mbanirizza nnyo mu linnya gwange ne ddoboozi mu bigambo oli mu sisita era tukuzizza
lya Mukama waffe Yezu Kristu, bye zabbuli nti “ Mujje mulabe abaana bano nga okyali sisita
mwebale okujja. Ntuusa okusiima Omukama akola ebyamagero (zab eky’okulabirako ekirungi ddala
kwange eri mmwe ba SSebo ne 34). gyetuli era naffe atuweesa
ba Nyabo abatukwatiddeko mu ekitiibwa.
nteekateeka z’omukolo guno Nkwebaza okumbererawo mu
ogwekitiibwa bwe guti!, Omukama byonna okuviira ddala nga Mulamu, Nkusabira bulijjo
abatuweere nnyo omukisa. nnakakusisinkana , mu budde osigale mu nnyumba y’Omukama
Tusiimye nnyo tusiimidde ddala. buli, nga mwami Francis Xavier emirembe gyonna (zabuli 34),
Mutyaba andeeta mu kika kino, sr. naffe tusaba otusabire, wakati
Mulamu wange, Sr. Namakula, obaddewo nnyo nga senga eri mu mayengo amangi, tusigale
“ Y O G A A Y O G A”, w e b a l e abaana bange ate nga n’abantu ng’amaaso tugatadde ku Kristu
kumalirira ne wesowolayo bangi bakuwaako obujulizi oyo gwe wasenga ne maama maria,
okuweereza Omukama, ffe baani naddala mu kukkiriza, okwagala, nga bulijjo bwozze okitwoleka.
abali ku kijaguzo kino ekyemyaka okunjula, okwagaliza ate
ataano!? omutabaganya era omwenkanya. Nze, Mrs. Magdalene Mutyaba

Page 10 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


Baaba webale kuba Mwesigwa –
Ddala wamma Ojja kugenda mu ggulu
by Sr. Nakitende -Muto wa Sr. Betty
Namakula

Baaba wange, bwetwaliyonka, bwesigwa obulabirwa mu nakugamba nti “Sisita ggwe, ojja
nkuyozaayoza nnyo okutuuka ku muntu oyo! (John21:17). Webale kugenda mu ggulu.”
myaka ataano be ddu, ng’owereza kubutuukiriza.
Omukama. Baaba ssisobola kukutenda
Ate era taata kyeyava nenkumalayo kubanga oli
Bagamba, ssessolye bwatafa, a b u k u w a , n d o w o o z a ttawaaza yaffe mu family. Nze
atuuka ku lyengedde! yamanyisibwa engeri kankomekkereze nga nkugamba nti-
gy’
o lirabiriramu abaana ba --nze akwagala ennyo era akusabira,
Nnandibadde kitaffe yakukwasa
okutulabirira wadde tuli banene, kiggala ne bamuzibe! Okwagala muto wo
naye otuwaniridde, otubuuliridde, okwo kwoleka nti olina okwagala Sr. Theresa Immaculate Nakitende
buli kaseera tube kimu. okwannamaddala. servant,
Benedictine sister of Perpetual
Ne Yezu yagamba, Petero... Era ndowooza ne Faaza adoration
nti “lunda endiga zange.” Buba Ngobya kyeyalengera mu ggwe Arua Monastery.

ST. CHARLES LWANGA CATECHETICAL TRAINING CENTER - VILLA MARIA

Sr.
Sr. Immaculate
Immaculate Rose @ 50
Rose @ 50 Years
Years Page 07
Page 01
YOUR PATIENCE AND
BENEVOLENCE ARE
ADMIRABLE
Naluyima Josephine
(Muganda w’omugole)
Congratulations my beloved Nakitende have been role models My children: Zubeda, Kadra
young sister, Reverand Sister to the family of the late John and Zabibu send their heartfelt
Namakula Rose Betty upon the Katende. greetings and love. My
golden Jubilee celebration of fifty grandchildren: Akampa and
years. Fifty whole years of being a
The mercy you have shown not Sophia, are very grateful for the
sister of Bannabikira Bwanda. only to your immediate family value you have added to their lives.
members but to everyone, the There is no way we can repay you,
I have the deepest admiration for people you have inspired to join apart from begging the good lord
your patience, and benevolence. the religious life and everybody to keep you safe. God bless you.
You have made our family proud. whose life you have touched is
You, the late sister immaculate filled with joy because you surely From Naluyima Josephine Family
Rose Nambi and sister Teddy deserve this sublime achievement.

KRISTU KYEKIKOMPE
KY’OBULAMU BWAFFE
Ben Ssemakula

Ab’enju y’omwami n’omukyala mingi nnyo mu bulamu bwo Twebaza obulamu Omukama
Ben Ssemakula e Busega tutuusa obw’emirembe. bwakuwadde era n’ebirungi bingi
okutendereza Katonda nnyini byakutuusizzaako ate era naffe
Ggulu n’ensi asobozesezza Sr. Twebaza n’essanyu lingi nnyo sr. Immaculate by’otutusizzaako
Immaculate Rose Namakula, nti webale kutulaga ssanyu lingi tusiimye nnyo.
mwanyinaze, mulamu ate senga lityo ate n’okwagala abaana
w’abaana okumusobozesa baffe naddala okutuyiiyiza mu Mr. Ben ssemakula & Family
okutuuka kukijaguzo ekyemyaka byemisomo n’ebirala bingi nnyo.
ataano mu Bunnaddiini. Era Omukama akwongere emikisa
Omukama akwongere n’emirala mingi nnyo.

Page 12 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


SR. IMMY NAMAKULA –
THE PATIENT MOTHER,
THE INNOVATOR
By Jerome Katende
Dear AUNT, what you decided Dear aunt, you are such a great people’s potential has also
to become as a religious has been inspiration to us. inspired Many of us to reach for
approved by the people of God in the stars!
the past 50 years of your service From you we have learnt that
as a nun. It would have been easily it is possible to start something Particularly about the impact with
passed for something that counted new in society that helps so many regard to the Deaf community,
for nothing in the eyes of many people and inspires many others. thank you for the many
but to those of us, who have had We have had the honor to learn interpreters for sign language
the privilege to share your space, from you, as you led st. Mark vii who have come up, either directly
your life among us is priceless! school for the Deaf, from strength or indirectly, as a result of your
to strength! work with the Deaf peoples! I am
Thank you for the greatest pieces sure many Deaf people within
of advice shared with us. Thank You have shared the wisest pieces Kampala Archdiocese who come
you for opening up to us as your of advice with us! to the catholic church can testify
brother’s children but loving us as to this as evident from st. Matia
your own! Of course, we miss our You’ve been and still are the Mulumba, old Kampala parish,
Dad, since his demise in 2009, but patient mother to everyone in Munyonyo, Lubaga, Nakulabye…
since then, you have always been a all the situations, hard and soft. to mention but a few!
great pillar in our life and because You truly have our respect and
of you we proudly celebrate the admiration in and through your I pray for you dear Aunt, and I
Katende family, from which we approach towards us and towards congratulate you, once again,
come! We have always held the life in general! upon this great milestone of a
confidence that because of you, lifetime!
no matter what happens, we are We have learnt from you how to
loved and cherished! And for this make this world a better place Jerome Katende
we are eternally grateful to you for others; i.e your unwavering
dear Aunt. dedication and trust in other

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 13


NOT ONLY A MOTHER BUT
MY BEST FRIEND
(Namawejje Immy - Mwana )

I am proud of the person you are and Your words of life and hope have YOU ARE NOT ONLY A
the values you have instilled in me. given me strength to cope in this MOTHER BUT MY BEST
world. FRIEND.
You have been a constant source of
love, care, support, and guidance You are my best friend and Dear mother, Rev. Sr. Immaculate
throughout my life. confidant. Rose Namakula, congratulations
upon these 50 years of living a
Your kindness, wisdom and Now that am grown, I don’t just truly committed life and for being
strength inspire me to do and be feel gratitude to you, but I admire a mother and inspiration to many.
better in All aspects of life. you and promise to be an amazing
parent as you are. Nze muwala wo,
Your generosity, prayers and Namawejje Immaculate
spiritual support have made me Thank you for being my guide and
who I am today. counsellor.

You are my mentor and role I love you more than words can
model. express.

SENGA YOGAAYOGA
NNYO
Charles Francis

N’essanyu lingi nnyo nkuyozaayoza ssenga wange Nsaba Omukama akwongere amagezi,amaanyi
Rev Sr. Rose Betty Immaculate Namakula okutuuka n’obulamu oyongere okumujulira era ng’omuweereza
ku kijaguzo eky’emyaka 50 mu buweereza. NZE mutabani wo,

Ntwala omukisa guno Ssenga,okukwebaza ebirungi SSEMWOGERERE CHARLES FRANCIS. a.k.a


byonna by’onkoledde era by’okolera abantu. Charles & Jesus ltd

Page 14 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


SENGA, WEBALE OKUNJOLA
Nakitende Mary Immaculate

Naddiza ki Omukama olwa omukisa guno okwongera Yogaayoga nnyo Senga okutuuka
byonna bye yampa, nja kuddira okukusiima olwokunjola kuviira ku Golden jubilee. Omukama
ekikompe ky’obulokofu, nkowoole ddala eri mu p.4 paka kati. ayongere okukunkumira olabe ne
erinnya Ly’Omukama. ku bazzukulu abalala. Amiina .
Ensigo ennungi gy’osize mu
Ntuusa okusiima kwange eri nze ey’okwagala, okukkiriza, Nakitende Maria Immaculate -
Omukama, Katonda, Ddunda, obugumikiriza ate naddala mwana
Nantalemwa eyampa senga, sr. okusonyiwa, nkusuubiza
Immaculate Rose Namakula nga okubyongerayo mu mugigi
senga wange era senga, kantwale oguddako.

SENGA, WEBALE
OKUTUBEERERAWO MU
BULI MBEERA
Namugga Florence.
Mbalamusizzako abantu ba
Ate nenkwebaza nnyo Tukusabira Mukama akukuume
Katonda mwenna. olw’okutubererawo ng’ abaana akuwe obulamu obulungi.
mubuli mbeera yonna.
Nange nnebaza nnyo Omukama Era nenkwebaza nnyo okuwulira Naffe tusabire Omukama
olw’okutuusa ssenga waffe ku eddoboozi ly’Omukamatunywere mu kuwereza Katonda
kkula ery’emyaka (50) mu ery’okuwereza n’okkiriza
waffe
Bunaddiini. n’owereza. Mukama akukuume, akuwe
obuwanguzi, era akutuuse ne
Nebaza Mukama akukulembedde Webale nnyo Senga okukozesa muggulu. Amiina
mu buwereza obwo okutuuka ekirabo eky’obuwereza obulungi.
awo. Omukama akikubalire. Nze muwala wo, Namugga
Florence.

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 15


SENGA, EBIGAMBO BYO
TEBISANGIKA!
John Paul Katamba
(mwana)

Twebaza Omukama akukumye nakulabirira ebbanga Ntwala omukisa guno okukwebaza olwokubeera
lino lyonna era tumusaba akwongere amaanyi omugatta bantu mu lujja luno era n’obugabirizi
n’obujjanjabi era n’omukwano gw’otulinako ng’olujja bw’owadde ssekinnoomu, obw’omwoyo n’omubiri
lwa Katende Yoanna gwongere okutinta. Nze nno era bwotyo n’ofuuka ekikubagizo eri abo bonna
nkuyita senga ow’ensonga kubanga ebigambo byo abayiseeko mu mikono gyo. Omukama ayongere
tebisangikasangika. okukukuuma Senga.

Nze Katamba John Paul

MESSAGE FROM NAMAKULA JANE


(mwana)

Mbalamusizza nnyo ba ssebo ne ba nnyabo, Nkwebaza webale kutwagala, kutulabirira era


ab’oluganda n’ab’emikwano mu linnya lya Mukama nakutubererawo mu byonna, Mukma akuwe
waffe Yezu Kristu. omukisa akuwangaaze akuwe ky’osiinga okwagala.

Ntwala omukisa guno okukulisa senga wange Mukama akunkumire.


okutuuka ku kijaguzo eky’emyaka ataano mu
bunnaddiini . Ne ssanyu lingi nkuyozayoza , Mukama Nkwagala nnyo senga wange,
yebale kukukuuma era, era tusaba akuwangaaze. Namakula Jane

Page 16 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


YOGA YOGA
OKUTUUKA KU
JUBILEO SR.

¬Yoga Yoga okutuuka ku Jubileo Awoono jubileo nga enno kituufu Nze nzijjukira bulungi Kisa
Sr. eberewo okujjukira ebikuuno n’omukwano Sr Immaculate gwe
ate n’okusomozebwa Omukama yatulaga mu mwaka gwa 2016, nze
Enkola ey’okutegeka ebijjaguzo byayisizzamu Sr Immaculate Rose ne muganda wange Dn. Ponsiano
mu eklzezia Katolika esibuka Namakula. Ekikulu mu jubileo, Asiimwe bwetwasindikibwa
mu kitabo ekituvu, naddala mu kwe kutendereza n’okwebaza ku ssomero lwa St. Mark
kiragano ekikadde. Mu kitabo Omukama olwebikuuno byaba Deaf School okuyiga oluliimi
kya Baleevi 25: 8-10, omukama akukoledde ebbanga eryo lyonna, lw’obubonero (Sign Language).
atugamba bwati, “Obalanga okwetunulamu mubulamu Wadde twali balenzi bato
sabbato musanvu ez’emyaka, bwo bwonna, okusonyiwa yatusaamu ekitiibwa kiyitirivu,
kwe kugamba, emyaka musanvu n’okuddabiriza olw’ensobi zaffe. yayagala nnyo tuyige olulimi.
emirundi musanvu, gino gye Okukola ebikolwa eby’ekisa ate Okuva olwo okutuusa kaakati
myaka amakumi ana mu mwenda. nokutunulira obulamu bwaffe atusabira tuufuke abasaaserdoti
Mu mwezi ogw’omusanvu, obw’omumaaso naddala eri abanasobola okulabirira baganda
kulunaku olwekuumi, ku ffenna gyetulaga. baffe abadeefu mu bw’omwoyo.
lunaku olwokuddabiriza Ebirabo bye yampa nga “Secrete
mufuuwanga eƞƞombe wonna Awonno twetaba ne Sr Friend” wange ne balluwa gye
mu nsi. Mukutukuzanga Immaculate Rose Namakula yampandikira mbijjukira bulungi
omwaka ogw’amakumi ataano; okwebaza Katonda olw’ekirabo era n’ebaluwa nkyagirina.
mulangiranga okuteebwa eri buli eky’obunaddiini kye muwa kati
mutuuze, guliba Mwaka gwa emwaka amakumi attano beddu. Omukama tumwebaza
Kijjaguzo gyemuli. Muddanga Twebaza Omukama olw’ekisa, akukongoze paka kati, kakano era
buli omu ku butaka, era buli omu okwefiisa, obukozi, obutebalira tukukwasa Omukama ne Maama
addangayo mu b’ekika kye.” n’okwagaliza naddala eri Bikiira Maria bakuwanirire
abateyinza, nga kino kyeyolekera weyagalire mu lugendo lwo luno
Emyaka amakumi ataano kagibe mu ngeri eyobugubi nobubulwa olupya. Ebikolwa byo ebirungi
gyabukulu, ensangi zino simyangu gye tandikamu essomero lya bikugoberere, obeere mu bulamu
gya kutuukako, naye olaba oli baganda baffe abadefu ate obulungi ate obutali bubulwa.
agyigyaguza mubunaddini, n’okulikulakulanya okutuusa kati Amiina.
tetulema kwebaza Katonda. Mu kumutindo lye guliko. Omukama
mwaka gino kikakafu Sr ayisemu akwongere ebirungi bingi. Deacon Lusembo Dickson
bingi ebirungi ate n’ebisomooza.

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 17


OBUBAKA OKUVA
EWA PETERO
(Mwana)

Blessed sacrament school Senga wange, Sr. Immaculate, I believe it more easily when the Bible
Kimaanya p/s is what secured me no words can express the joy and says, there are angels that appear on
the opportunity to live closer to honor that is as we celebrate your earth in human form because I have
Aunt. She was a classroom teacher, fifty golden treasured years, you’ve seen at least one in you! I couldn’t
p.4 English and there I was…one served God well each day, You’ve have asked for a better Aunt! For
of the pupils in her class! given guidance, help, and strength the Lord knew exactly the kind that
to others on life’s way. And for the we needed to inspire us and gave us
Little did I know that I was faith that you have shown, for every you and I can proudly say, You are
beginning a journey tapping into deed and prayer, we can only ask to the best gift and blessing, we ever
her merits and being carried on God bless you now and every day had. For before anybody else paid
the wings of the golden jubilant in and keep you in His care. attention to the uncertain future
the making! that lay ahead of us, you took to
Dear Aunt, you are a beckon of work and prayer to ensure that that
Onetime time, at the sister’s refuge and strength, our backup future comes into place!
convent at Kimaanya, I think I was system, point of reference and
in primary five, I was sitting down yet you always keep a balance I’m sure several people could
on the floor…and senga said to between kindness, gentleness and Testify to this, not to mention
me----“tuula ku ntebe, sikulwa discipline. And because of this the many persons with hearing
nga ofuuka faaza n’ogamba you have helped us to navigate impairment, whose life story also
abantu nti senga wo yakutuuza ku even some of the strangest and took a new and better trajectory
sementi! – senga, wamma, nnina strongest storms of life. with your instrumentality!
gwennali nkigambye! Again,
she played the prophetic role, Because of you and the kindness of If I am not mistaken, it’s the
although I hadn’t really thought your congregation, the Daughters first Golden jubilee among your
deeply about priesthood, but she of Mary, Bannabiikira, many of us siblings! Again, in you, a new
saw it and named it! have had the privilege to access record has been set.... indeed, a
(abazadde—biki byolangirira ku some of the best schools! restoration...and I pray that the
mwana wo!?) Lord confirms and seals this up as
Under the wings of your hard the new normal!
During my s.6 vacation, I had work and resilience, many have
only gone to visit, little did I know found good rest and calm! Senga ekijaguzo yali akigaanye,
that I was going to be introduced era Kyantwalira emyezi musanvu
to another aspect of life, persons In the shadow of your kindness, okukakasa Senga wange nti
with hearing impairment at St. we have found our voice! ekijaguzo awaka kyali kyetaagisa!
Mark vii school for the Deaf, Naye ba ssebo ne ba nnyabo,
Bwanda----. what a joy and honor And in the instrumentality of okujja kwammwe nkakasa Senga
to have been nurtured, mentored, your faith, simplicity and prayer, wange kumuwadde okwongera
and guided by the best I know! faith and hope have been restored okukakasa nti ddala kigwanidde
into the lives of many! okujaguza! ( kambikomye wano)

Page 18 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


Njagala okusembyayo ensonga 13 8. Give them chance. ne ba jjajjaffe, abo abaakuzaala
zenjingidde ku Senga wange: A benefit of doubt and obawesezza ekitiibwa ate naffe
Forgiveness are necessary notuyimusa.
1. Don’t be afraid to walk on a ingredients of life.
path least traveled as long as it
is the Lord’s will. 9. Empower your team and Okwebaza
appreciate them. Give them Ssebo Ssabasumba Paul
2. If it looks like a tough thing to chance to grow personally Ssemwogerere tukwebaza
do, don’t ask why me, consider and professionally. okukkiriza nojja
it an honor that you have been okutukulemberamu mu kujaguzo
trusted and found worthy to 10. Share opportunities with as kuno. Ba ssebo abasaserdooti,
do it! Then, do your best at it. many as you can. bannaddiini ate n’abantu ba
Katonda mwennna , mwebale
3. Smile all the way, smile 11. If you don’t like it, don’t do it nnyo mwebalire ddala okwetaba
anyway! And don’t complicate to others. mu kijaguzo kino.
your life or anybody else’s life.
12. Hard work, Commitment Olukiiko oluteesiteesi, olubadde
4. Set out - start simple, for the and witness, faith, discipline, lukubirizibwa Mr. Makindi
hardest step is the first step! and truth are a winning Rogers, awamu ne Mrs. Katonnya,
And trust the Lord to lead you combination. Mrs. Norah Kabagambe, Mrs.
and show you the way. Anne Lubowa, Mr. John Paul
13. Salvador- Enjoy your free Katamba, Mrs. Florence Mweruka,
5. Tokubiranga plan yo mu time and guard it! Take time Maama Mrs. Magdalene Mutyaba
nsawo ya mulala. off to rest, do something that ne Fr. Peter Kaboggoza, Hamidah,
gets you relaxed, but not bakulu, Omukama yekka yasobola
6. Don’t expect humans to sinful. okubaweera olwebyo byonna
act like angels. Everybody byemukoze okulaba nti tujaguza
has their own limitations! 14. Inspire before you expire. bulungi Gold ono Omukama
(Buli muntu aliko obulemu gweyasimba ku kimuli kya Roza!
mungeri ye). 15. Pay attention to those on the
peripheries. Be a voice to the Ba ssebo ne ba nnyabo
6. Keep Humble. voiceless and make concrete abatukwatiddeko mu nteekateeka
Let your achievements speak steps to alleviate or at least zonna, nga mutuwa amagezi,
for you, don’t interrupt your relieve their ordeal. ensimbi, obudde, na byonna
success with your words. byemukoze, omuzadde Biikira
16. Talk is cheap. Don’t just talk Maria bulijjo ababeere era atuuse
7. Called to serve. about it, do it. okuyaayaana kwammwe eri
Your title and (indeed your Omukama mu budde!
life) is useless if it cannot 17. Faith never fails.
translate into meaningful Senga wange, Kulika nnyo Nze mutabani wo Petero
service to God and his people. kulikira ddala, gwe wamma (Simon Peter Ssemakula)

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 19


“YOGAAYOGA !!”
Ba ssebo ne ba nnyabo mbanirizza ku mukolo guno mu masomera amalungi ate nomusingi
gwekitiibwa nga tukulisa senga wange, sr. Rose gweddiini;Omukama akumpere Omukisa n’ebirungi
Namakula okutuka ku kijaguzo eky’emyaka ataano bingi era akuwe ne ky’osinga okwagala mu nsi eno.
mu bunnaddiini. Senga tusiimye nnyo, tusiimidde ddala,

Era ntwala Omukisa guno okukwebaza akensusso Nze Nalunjogi Justine


okunjagala. Senga nneyanzizza nnyo okuntuusaako (Mwana wa Sr.)

“ OMUJAGUZA WAFFE OMWAGALA


ENNYO”
Sr. Immaculate Rose ,Sirina bigambo byennyinza w’abaana abateesobola nabatalina mwasirizi ate
kweyamba okwolesa okusiima nokwebaza Katonda omugunjuzi .Okufunza byonna Sr.Immaculate
akatuusiza ku kijaguzo kino nga tukungiriza ekisa kya Rose obuweerezabwe ng’omunnaddini ndabamu
Katonda Kyatugiridde!Twongere era okumwebaza omulimu n’ekigendererwa eky’omugunzi waffe Arch
obuwereza obulungi bwamusobozesezza mu kibiina Bishop Henry Stensela eyayagala ennyo okulaba nti
kyaffe kino ekya Bannabikira ate ne ggwanga lyonna abaana abato bafiibwako,Era mu Sister ndabamu
awamu. maama w’abaana era jjajja w’abaana omulungi!

Eby’okwogera Ku Sister Immaculate Rose Kale katwongere okujaguza nga tukusabira amaanyi
Namakula bye mwennyumirizaamu naddala ebyo n’ekisa kya Katonda bikubeereko mu bbanga
byennamuyigirako mu bbanga lyennamala nga ly’okyasigazza mu buwerezabwo oleme kugwa nganzi
tuweereza wamu mu St.Mark School for the Deaf osigale nga Omukama omusanyuse mu byonna.
bingi nnyo! Naye byesiyinza kubuusa maaso ebimu
ku byo bye bino. Nnyaffe Bikira Maria ayongere okuwambatira mu
kiremba kye.
Sister Immaculate Rose omuweereza omwesigwa
owamaanyi omujjumbize ,ow’ekisa ayagaliza buli Sister Maria Serina Nakibuuka(DM)
muntu azzamu amaanyi ababa baterebuse omwagazi

“YOGAAYOGA !!”
The Family of Mr and Mrs Lubega
Vincent from Kigo, congratulates Rev.
Sr. Immaculate Rose Namakula Betty
up on her Golden Jubilee in the Lord’s
Vineyard. May the Lord continue
nurturing you in his path.

Page 20 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


“YOU ARE BLESSED!!”
In the first place, I wish to thank the almighty God for some of us (Fr. Peter my O.B and I) who thought
for the gift of His abundant protection, sustenance that sisters (Nuns) and Priests came from Heaven!
and guidance upon my Mother and Mentor; Rev. Sr. Now through your guidance, we are filled with joy
Immaculate Rose Betty Namakula (whose names I and happiness to witness the reality of God’s love
pronounce with due respect. that you sowed in our hearts at an early age. For
sure your simplicity and humility can never go
God has blessed us and this is the right time to count unrewarded.
yourself blessed because you are not celebrating
50 years of your existence in the institute of the I wish you God’s blessings in this new journey that
daughters of Mary, but 50 YEARS OF GOOD you have started once again and I pray that the
SERVICE in God’s vineyard which is witnessed by Holy spirit gives more wisdom, encouragement and
the good fruits that you have produced; of which the strength to continue advancing along the road of
whole world is enjoying now. becoming more and more His zealous servant day
after day for the rest of your life.
It is a great Horner today that I congratulate you dear
mummy on behalf of all the children that passed WORD OF ENCOURAGMENT
through your great care, upon this HISTORIC
GOLDEN JUBILEE. You are indeed a credible “KNOW THAT WHEN THE GROUND AROUND
Mother and Mentor that left a mark of love for YOUIS UN STEADY, YOU CAN STILL STAND
each soul that you touched. In fact you are worthy FIRM BECAUSE THE ROCK BENEATH YOU
celebrating on such an occasion. CAN NOT BE MOVED”

Thank you for setting us a good example that led us SR. ELIZABETH ALIKKIRIZA (D.M)
through all that we considered impossible especially (Loving daughter)

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 21


“I WILL SIN OF THE
MERCIES OF THE
LORD”

Dear Sr. Immaculate Rose Namakula congratulations


upon your Golden Jubilee in the service of the lord.
A religious in the institute of the daughters of Mary
where you dedicated yourself totally to Jesus the lord!
Together with you, what can we do other than
raise a cup of salvation and praise Him!
We thank you for having put in use the gifts he gave
you especially the gifts of love to young and old,
hardworking, kindness, Simplicity to mention but a few!!
As you celebrate remember the journey is still on,
do not put down the tools. Fight, work up to the end.
Sister Clotilda Nalugwa, for all the Jubillians(1973)

ST. JOSEPH’S CENTENARY


SEC. SCHOOL NDEEBA

The Board of Governors, Headteacher, Staff,


Students and the entire fraternity of St. Joseph’s
Centenary Sec. School Ndeeba congratulate
Rev. Sr. Immaculate Rose Namakula
upon your Golden Jubilee.
May God Bless you in the Journey ahead.

Page 01 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


GOLDEDN
JUBILATIONS

you have for all people without discrimination


We thank and praise the Almighty God for the makes you unique and younger always.
support , care and love He has given you from the
day you were conceived in your mother’swomb till We thank God who saw that you were theright
now when you are cerebrating 50years in this special person to handle this special calling of making the
calling of religious life. May the name of the Lord be impossible possible through St. Mark School for
glorified. the Deaf Bwanda. We also thank the superiors of
our institute for responding positively to God’s
In special way, thanks goes to your dear parents who inspiration of starting St. Mark and chose you
bore, nurtured and more so made a firm foundation to be their ambassador.Indeed, you performed
of your first formation that helped you to become whole heartedly for 21 years as the head
what you are in religious life. May the Almighty teacher. Congratulations.“here I am send me”
grant them eternal Rest. like ProphetIsaiah 6:8,has been your response.
Yourtirelessworking, the effort and struggle made
Really Sr. Immaculate Rose “Sr. jajja” we treasure St. Mark a center of Excellency.Due to your love,
you for what you are in our community. When the responsibility you have ( school matron) calls
you leave home, your absence is felt. When we see for commitment and active participation daily, it is
you performing your daily activities, at school, we never heard that you complain neither have you been
imagine and admire how your parents groomed a stumbling block on our move. Such a patience and
youbecause of the many gifts you have. Sincerely, you reliable Nun! We are grateful.
bear all the seven gifts of the Holy Spirit which are
seen in being a wise and understanding Sister. Where May mother Mary embrace you under her mantle
there is a need to be corrected, your politeness is during this time of aging gracefully and you cerebrate
always the answer. Many of us are successful because more years in religious life.
of your prayers and effort, this make us feel so proud
of you our “ jajja”. You are our leaving example that Sr. Angela Nnanyonjo
everyone has some special quality to copy.The love HEADTEACHER.

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 23


Obubaka Eri
Rev, Sr, Immaculate
Rose Namakula
Fr. Emmanuel Ssekamaanya

Nnyabo Maama Sr. Immaculate Rose, nkukulisa Katonda akusobozesa. Kino kirabikira nnyo mu
nnyo okutuuka ku lunaka luno olw’okwabaza ekirabo mirimo Omukama jjaze akuwa naddala wano wooli
eky’obunaddiini kati emyaka attaano (50) nga mu baana abaliko obulemu, bakiggala. Webale
owereza! Omukama yebale nnyo era agulumizibwe. kukozesa maanyi n’amagezi Katonda byeyakuwa
Yowanna omuwandiisi we evangili agamba singa n’omuweereza. Nze olumu nkuyita Sr. Amadeo
yali wakuwandiika byonna Mukama waffe Yezu kuba nkulabamu omunadiini oli eyakola omulimo
Christu byeyakola! Ensi yandijudde (Jn 21:25) nange n’okwagala ate nga ayagala nnyo Katonda n’abantu.
singa mba wakundiika bigambo bimala ku lunaku Sisobola kwelabira engeri gyozze otubererawo ate
luno obudde bwandizibye. Ebigambo byonna nga werekeraza akatono kolina n’okatuwa. Webale
bya kukwebaaza! webale kutwagaala n’otuyigiriza kutwaniriiza nga bulijjo n’essanyu n’okwagala buli
n’okwagala Katonda ate n’abantu. Obulamu bwo lwetukusanga. Webale kutuwa waka buli wobeera
butuyigirizza bingi kubanga kyakulabirako nnyo. (You always made us feel welcome and at home
Webale kuba n’omutima omugazi ogukiriza buli whereever you have been, we shall never forget
muntu ate ogusomesa. Webale kutuyigiriza kukola that!) Tetugenda kukoowa kusabira bulijjo naye
n’emikono gyaffe nanti watugamba nga Omuntu naawe tukusaba otuteeke bulijjo mu ssaala naddala
tatuulira awo. nga oli mu maaso ga Yezu.

Webale nnyo kutusomesa ddiini ate n’okumanya Webale nnyo kuwereza Mukama ate kulika okutuuka
Katonda! Nzijukira naddala nga tusoma okusombera ku lunaku luno.
e Kimaanya watuyiriza ebyabassoka mu ddiini ate
nononda nkulembera akuleeta ebirabo. Bwentyo Mutabani wo
neneyongera okumanya paka museminariyo Fr. Emmanuel Ssekamaanya
kati ndi Faaza wamyaka kumi nokusoba. Webale St. Catherine of Siena Catholic Parish
kutusomesa nti Katonda bwakuwa omulimo olina Clarksville, Virginia
gukozesa kwagala nti era nebweguba muzibu gutya

Page 24 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


CONGRATULATIONS SISTER IMMACULATE
ROSE NAMAKULA FOR YOUR GOLDEN
JUBILEE IN RELIGIOUS LIFE

We have gathered here with the same purpose


to rejoice full of appreciations and triumph in
collaboration with you to give thanksgiving to the
Almighty God who has bestowed His Grace's to you
and enabled you to feed His flock-the multitude
in the past half century."CONGRATULATIONS
OUR SISTER".Indeed life is really a mystery which
we find difficult to interpret.For instantance Sister
Immaculate our Jubilant during her youth did not
think that one day she would become a Missionary
Sister of the Bannabikira of Masaka -Uganda and
be sent to evangelize the people of God in the
Southern of the Equater with the St.Therese Sisters
in Bukoba.!That is what really happened.!

As a junior sister in 1988,Sr.Imma Rose, full of


legacy, simplicity and commitment she find herself
with other companions in the vineyard of the Lord friend and mother.Thank you very much sister for
in Tanzania.We owe much gratitude to the Superior enlightening the youth and the nation at large.We
General and her Cabinet who were able to answer learned that when you returned to your country you
the need of that time by sending the sisters for the fastened your belt so tightly and continued helping
mission. other schools.

As we could reflect upon the life of our missionary May we join you to thank God and glorify Him
sent at that time,it wad really a.lufe of total during this Jubilee.May He continue giving you His
commitment and service towards the Church and Graces in your life spiritual and physically.Amen.
society.Sister was a religious of prayer and action.We
can summarize that her personality and teachings
impacted all students at large for she taught as a

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 25


OBUBAKA OKUVA EWA
SR. NAMUKASA THEOPISTA
‘’Omukama mulungi, Obudde bwonna…,” Kakati nno Jjajja, nkuyozaayoza olw’okugundiira
mu ddya lya Kristu mu kibiina kya Banabiikira
Kituufu ddala Omukama mulungi kubanga atugirira emyaka ataano be ddu, kulika nnyo, kulikira ddala,
ekisa kye, mu bulamu bwaffe ng’atusisinkanya webale kutuwa kyakulabirako ekirungi era tweyanza
mu mbeera zaffe, mu maka ne mu butume okutubeererawo mu buli mbeera naffe tukukkakasa
gyetuwangaalira. tugenda kumalirira era tugumire ddala anti nga
tulabira ku gwe Jjajja ffe era ne binatusoomooza
Gwe wamma kanebaze Omukama byonna tujja ku bigumira tewali kuterebuka.
olw’okunsisinkanya ne Rev. Sr. Rose Immaculate
Namakula, jjajja omwagalwa, omulungi, omusanyufu Sr. Jjajja, nkwagaliza Omukisa gwa Katonda,
omwagazi era omusaasizi wa buli muntu. Omukama oyo eyakulonda okufuuka omunaddiini
Omubiikira (Daughter of Mary) akwongere obulamu
Kannyongere nebaze Ddunda Nantalemwa, kawa n’obusobozi osobole okwagazisa bangi obulamu
migero oyo eyakuwa ekitone eky’okukolagana Obunnaddiini. Kulika nnyo Sr. Rose Immaculate,
obulungi nabuli muntu mu mbeeraaze. Siyinza Jjajja wange.
kwerabira ekiseera kye twabeerako ffenna e Bwanda,
enkolagana ennungi gyetalina yeeyo egyayo obulungi Muzzukulu wo,
eteeka ekkulu Mukama waffe lyeyatuwa erigamba SR. THEOPISTA NAMUKASA
nti “Oyagala nga munno nga naawe bweweyagala’’

QUEEN OF PEACE PRIMARY SCHOOL LUBAGA


Congratulates their old student Sister Immaculate Rose Namakula for celebrating her Golden Jubilee!
We present to you the blessed Virgin Mary to always lead we you are serving in the vineyard of the lord.

P.O. Box 14371, Mengo Kampala, Tel: 0204660000


Page 01 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years
OBULAMU BWA SR. IMMACULATE ROSE NAMAKULA
Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 01
Taata yali muyigisa. Emyaka egisinga obungi
yagimala asomesa Lubaga boys. Naffe ffenna abaana
tewali ataasomerako Lubaga.

Maama yali nnyo omukulembeze w’ebibiina


byenkola enkatoliki. Ekyo nga kimugattirako
okusolooza endobolo mu bakristu.

Bakadde baffe baalina eddiini, ate era ne batulaga


okwagala n’okutwagazisa abantu bonna awatali
kusosola. Mu mazima awaka nga tewaggwa bagenyi,
n’abaana abaakulirawo nabo bangi ddala.

NTANDIKA OKUSOMA
Mu mirembe gyaffe, tewaaliwo Nursery schools,
naye olw’okuba taata yali muyigisa (teacher),
ffe ewaka yali yatuteerawo ekisenge ku kiyungu
mwatusomeseza. Ekisenge ekyo kyalimu olubaawo
(blackboard) ne bu-slates bwetuwandiikako era
n’ebitabo.

Taata ne bwatabangawo, nga bakulu baffe


batusomesa, naye nga byebakuwadde bwebikulema
ng’embooko enyooka!

Awo nze okutandika okusoma e Lubaga nga nnina


emyaka mukaaga (6)
OBUZAALE BWANGE nga mmanyi okusoma ekitabo n’okuwandiika, ate
Nze Sr. Immaculate Rose Namakula (Namakula nga Mathematics nnali kafulu. Ku lubaga Queen of
Elizabeth). Nzaalibwa omwami Katende John peace primary school, nasomerayo p.1 - p.6, anti mu
eyeddira olugave, n’omumbejja Nantale Rose Mary, budde obwo primary yali ekoma ku p.6 era nayita
kati bagenzi, abagalamidde e Busega mu kyaddondo, bulungi ddala mu 1st Grade.
kitaka zone, Lubaga division, Kampala District.
OKUYITIBWA KWANGE
Nsibuka mu parish y’e Busega, mu Archdiocese Nnali ntandika p.1 e Lubaga, nga Sr. Rose Nambi
y’eKampala. gwenzirako bamutwala mu boarding school e
Buyege wamu ne mukulu wange Josephine Naluyima
Twazaalibwa abaana mwenda, abalenzi bana Alikkiriza. Buli lwebaddanga okuwummula, Sr.
n’abawala bataano, nze mwana ow’omukaaga. Rose Nambi nga ali smart nnyo, wa mpisa nnyo, wa
kisa nnyo , mu mazima nga wanjawulo nnyo ku ffe!
Gano wammanga ge mannya nga bwetuddiringana: Nempulira nga nnegombye nnyo nange okubeera
1. Fr. Jerome Katende (RIP) nga ye. Ye olwava e Buyege, yagenda Bwanda mu
2. Naluyima Josephine st. Aloysius. Awo nange nensalawo nti, olumala
3. Ssemwogerere Joseph (RIP) primary ngenda Bwanda!!
4. Mutyaba Francis Xavier (RIP)
5. Sr. Rose Nambi (RIP) Sr. Rose Nambi yali amaze okutunyumiza ebirungi
6. Sr. Immaculate Rose Namakula ebiri e Bwanda. Ng’asookera ku luguudo okuva e villa
7. Sr. Theresa Nakitende Maria okutuuka e Bwanda nga bweruliko ebiti ebiri
8. Ssemakula Benedict mu nnyiriri entereevu. Yayongerako okututegeeza
9. Nabatanzi Cissy (RIP) nga essomero mweyali lyerisinga obulungi mu
masomero gonna agali mu Bwanda. Okwo kwossa

Page 28 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


n’eklezia y’abasisita ennungi ennyo era nga olina EBIFO GYEMBADDE NTUMIBWA
kutambuza bwegendereza munda Kuba eseerera. 1973 - 1975 St. Aloysius Bwanda, student
Naye nagamba, abasomerayo bafuuka basisita.
1976 - Jinja Convent, Trial Teacher, and Sacristan
Nange olwamala primary school, nensaba e Bwanda
nsobole okulaba ku birungi byeyatunyumiza, 1977 - 1979 PTC Ngora (Teso), student
mbeere smart nga ye era nfuuke omusisita.
1980 - 1983 Mubende Convent, teacher
St. Aloysius yansanyusa nnyo kubanga nnali
sirabanga bayizi bampisa nnungi nga be nnasanga 1984 - 1987 Mitala Maria Convent, teacher
mu ssomero eryo! Baali baakisa nnyo!
Mw’abo abaatwaniriza mwemwali Maria Babirye, 1988 - 1991 Tanzania (Hekima SS), teacher
Kati ye Sr. Domitra, eyantwala mu dormitory
nanjalira, nampa amazzi ag’okunaaba ate n’amala 1992 - 1995 Kimaanya Convent, teacher
nantwala ku ddiiro nanfunira eby’okulya.
1996 - 2017 St. Mark vii school for the Deaf,
Okwatalira awamu, abaana abasinga baali ba mpisa Headteacher
nnungi. Twasomanga n’abasisita mu classes naye
nga nabo balungi nnyo era ng’obeebuuzaako ku 2018 to date: St. Mark vii school for the Deaf, Matron
by’okuyiga ne bakuyamba!
NB.
Omwo mwemwali ne sister Elizabeth Nakawunde, 1996 - 1998 Kyambogo University - Diploma in
era wamma ddala yafuuka muzadde nnyo Special Needs Education.
omwagalwa gyetuli.
2004 - 2006 Kyambogo University, Bachelor of
Abasaserdooti bajjanga nebatuwa ensirika, nazo Education degree.
zannyamba nnyo. Mw’abo mwalimu Fr. Benedicto
Ssettuuma (senior) ne Fr. Benedict Nsubuga, bombi Mu budde obwo nnali nsoma nga bwenzirukanya
bano Kati bagenzi, nsaba Omukama abawummuze n’essomero.
mirembe.
EBINNYAMBYE MU KUYITIBWA KWANGE
Bwentyo nga mmaze senior II, nasaba Empagi Omusanvu
okweteekerateekera obunnaddiini nga
nnungamizibwa Sr. Elizabeth Nakawunde. Waliwo empagi musanvu ezimpaniridde ennyo
mu lugendo lw’okuyitibwa kwange, nga zezino
Mu mwaka (1970 -1972), nnayingira eggerezo wammanga;
(novitiate) ne bannange 33. Mu mwaka 1973, 8th
January, nakuba ebiragaano ebisooka mu kibiina i.Okwesiga obulabirizi bwa Katonda.
kya Bannaddiini e Bwanda. ii.Okutambulira mu mateeka g’Ekibiina kyaffe .
iii.Okusoma Ekitabo Ekitukuvu,
Twagenda okulagaana, nga tusigadde 24. iv. Okusoma ku bulamu bw’abatuukirivu
v. okwebuulirirako.
Kati nga njaguza emyaka ataano (Golden Jubilee), vi.Okukuuma obweyamo bwe nnalazannya Yezu
wenjogerera nga tusigadde 15. Abataano baafa, wange.
ate abana baddayo nga tebannakuba bweyamo
bwalubeerera. vii.Okugoberera omwoyo gw’Ekibiina:
nga muno mwemuli; Obwetowaze,Okwevaamu,
Okwegaana, n’Okwagalana okwaboluganda.

Ekigambo kino bulijjo kingumya, nti ‘Katonda


bwayita teyejjusa’... Rom.11/29,33-36 .

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 29


OKWEBAZA na kunsabira na byonna bye munkoledde. Nange
Nsookera ddala okwebaza Katonda Kitaffe nnyini mbaagala nnyo era mbasabira.
byonna eyantonda ate nanjagala mbeere mugole-we
mu Bunnadiini. Nnebaza nnyo Bannabiikira benzize mbeera nabo
mu convent gyenkoleddeko okuva lwe nnalagaana!
Nnebaza bazadde bange abaanjagala ennyo era Aboluganda, mwebale kunjagala nga bwendi!
nebankuliza mu mpisa ennungi zonna naddala Ebitagenze bulungi, nsaba munsonyiwe!
okwagala Katonda n’abantu bonna.
Mu ngeri eyenjawulo, nnebaza st. Mark vii school
Ssirema kwebaza baganda bange bwetuzaalibwa for the Deaf, mwe mmaze emyaka 27 nomusobyo!
abaambeerera eky’okulabirako. Mu ngeri eyenjawulo Bannange, mwebale kunjagala. Ba teacher ne support
nnebaza Sr. Rose Nambi eyanzigulira ekkubo mu staff mwenna sisobola kubeerabira mu ssaala zange,
lugendo lw’obunnaddiini ng’anyumya ebirungi ebiri naye nange munsabire.
e Bwanda. Nsaba Omukama, bonna abaafa abatuuse
mu bulamu obutaggwawo. Abalamu abawe ebirungi Ba Friends of the Deaf Associations, omuli
bye betaaga. abasaserdooti n’abaseminariyo, ssimanyi bwennyinza
kubeebaza kubanga mwatuukiriza ekirooto kyange!
Nnebaza nnyo nnyini family ya kojja Kimbugwe Nnali negomba nnyo nfune abaseminariyo abasoma
Cosma abatulaga okwagala kwabwe kwonna mu Sign language nga bafuuse abasaserdooti basobole
by’essanyu ne mu by’ennaku. Buli wetubatuukirako okujuna ba kiggala bebasanga mu parishes zaabwe
Muba wamu naffe! Tweyanze nnyo okutwagala nga babalyowa emyoyo. Fr. David Ssenkaayi, Fr.
bwemutyo! Simon Peter ssemakula, Fr. Emmanuel Ssekamanya,
Fr. Raphael Tebukozza,Fr. Michael Ssebutinde, Fr.
Maama Mbaaga omwagalwa, webale kumberera
Raphael Tebukozza , Fr. Nnaku Francis, chaplain
kikubagizo naddala mwanyinaffe Fr. Jerome Katende
wa friends of the Deaf- Katigondo ate n’abakulu mu
lweyafa!
seminariyo ku st. Mbaaga ne Kinyamasika, abatutte
mu maaso omulamwa guno ogw’okujuna aba-
Mbateeka mu mikono gya Nnyaffe Biikira Maria
Deaf, nsiimye nnyo nsiimidde ddala.Mwebale nnyo
abawambatire!
omulimu omulungi gwemukoze! Sso nno nnebaza
ne bannaddiini abewaddeyo okuyiga olulimi luno
Nyongera okwebaza abagunjuzi bange, okuviira ddala
nokuyamba abaana bano.
mu primary school, st. Aloysius Bwanda, postulant,
novitiate ne convent yonna gyempise, mumberedde
Nga mmaliriza, nnebaza ne ssekwebaza yenna abo
baakisa nnyo mu byonna. Abasaserdooti ababadde
bonna abateeseteese omukolo guno ogwekitiibwa!
bannambika mu by’omwoyo ate n’abo bonna
Nsookera ku ArchBishop Paul Ssemwogerere,
bembadde nkolagana nammwe mu bifo ebyawufu
eyasiima okutukulemberamu mu kitambiro ku
mwebale nnyo naddala okunnambika.
lunaku luno ! Nnebaza nnyo akakiiko akateesiteesi
akamaze ebbanga nga kakola ekiro nemisana
Ab’oluganda bwetwayingira mu formation, simanyi
okulaba nga byonna bigenda bulungi. Fr. Peter
bwennyinza kubeebaza anti mwambererawo mu
Ssemakula, webale Kuba na mikwano emirungi
buli kimu! Kuba mwandaga okwagala. Mu mazima,
era webale kunjagala, nange njogera ng’omukazi
nnabayigirako bingi ddala.
eyagamba Yezu nti, Omukazi eyakuzaala nga wa
mukisa...! Mulamu Mutyaba nkwebaza akensusso
Ba Nnyabo abakulembeze b’ekibiina kyaffe ekya
okunteganira ennyo wakati mu nteekateeka zonna
Bannabiikira nga nviira ddala ku Mother Noelina
awamu nabaana baffe ate nabazzukulu.
Namusoke, atutwala kaakano awamu nolukiiko lwo,
okutuukira ddala ku Mother Mary Vincent n’enkiiko
Mmaliriza nga ngamba nti, “ Onkongozze Taata
zonna ezaakulembera...byemutukoledde, Nnyaffe
webale! Onkongozze emyaka emingi Mukama
Biikira Maria ayongere okubawambatira.
nkusiime ntya!!!
Nnebaza abaana n’abazzukulu abava mu nnyumba za
Nze Sr. Immaculate Rose Namakula
baganda bange ne bannyinaze. Mwebale kunjagala
Omujaguza
Page 30 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years
LIFE OF SR. IMMACULATE ROSE NAMAKULA IN PICTURES

PTC Ngora in soroti sister nga ali mu apostolate.

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 31


Abaana life in tanzania with Rovina francis

Sister with her Students in Tanzania.

Page 32 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


Life in Germany

Life in Tanzania

celabrating 25years in 1998

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 33


Family ya Ssemakula Ben Mwanyina wo`mugole Balamu B`omugole

Family Y`omugole

Family ya josphine Naluyima Muganda wo`omugole

Blessings from Pope Francis through Bishop Jumda S.

Page34 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


ORDER
OF MASS
PROCESSION Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
ng’omusenze
BW’OMWEWA OMUKAMA Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
ng’onywedde
Bw’omwewa Omukama, ne weemaliza Omukama, Omukama Yezu alikuwa – Alikuwa empeera
Talikujuza Omukama oyo, talikujuza emirembe. bw’omwewa.

1. Abamugoberera ......Talibajuza emirembe Kwata ekkubo ery’akanyigo,


Talibajuza..............Yabasuubiza okubaweera Kwata ekkubo era effunda
mu nsi muno ne gye bujja.
Nywera ssebo ggwe toddirira.
2. Entalo zo alizirwana, obulamu bwo alibukuma, Alikutwala obeere waggulu eri,
Talikujuzza emirenbe. Waggulu awaladde ng’omuli ku gwa ddyo.
Ddunda alikuwa empeera..................Alikuwa
Aliba wuwo Omukama, aliba wuwo, naawe
Ddunda alikuwa empeera..................Alikuwa
olibeera eyo eyo mu ggulu.
Alikuwa empeera.
a) Buli eyevaamu n’amugoberera alimuwa – Empeera
MIREMBE AYI MARIA
b) Buli eyeresa eby’ensi eno alimuwa – Empeera
c) Buli alireka n’abazadde alimuwa – Empeera 1. Mirembe ayi Omuzadde, ffe tuli baana
bo Ayi tuzze okukutenda
d) Buli alireka n’emikwano alimuwa – Empeera n’okukulamusa.
e) Buli alireka n’abaana alimuwa – Empeera Ggwe Nnyina wa Katonda, yennyini
yakulonda, Maria, Maria, tukulamusa.
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana...
Ku mpeera y’abalungi emirembe. 2. Mirembe ayi Kabaka, ffe tuli baana
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana... bo, Ofuge emyoyo gyaffe, obeere
Ku mpeera y’abanyikira obutoosa. nnyini gyo!
Olifuna kikumi kunsi kuno ne gye bujja, oligabana... Nnamasole wa Yezu, Omuzadde ggwe
Ku mpeera y’abalwana abazira. omuteefu: Maria, Maria, tukulamusa.
N’omusalaba olifuna --- N’obonaabona
N’obonaabona ku lulwe--- Olwa Kristu 3. Mirembe ggwe Omutiibwa, atiibwa mu
N’ebizibu olifuna--- Ogumanga ggulu, Ojjudde enneema zonna, ggwe oli
Ne weewayo ku lulwe --- Eyakuganza mutukuvu.
//Osaana onywere ggwe --- Ku Katonda Ayi ggwe omulungi ddala, mu ggwe timuli
Omusalaba togutya --- Gwegulokola//x2 bbala: Maria, Maria, Ggwe mutukuvu.

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 35


4. Mirembe Omuzadde ataayonooneka, C
Ggwe wekka ggwe wazaala ng’obeera Ekidd.:
Biikira; Awonno buli ggwanga Tuyambe ffenna mikwano gyo baganzi bo
likugulumizenga: Maria, Maria, Nnyina, otuyambanga.
Bikira!
1. Tuyambe ffenna mikwano gyo baganzi bo
5. Tommanga kutuyamba, Maria otukuumanga.
omwagalwa, Mu nnaku, mu kibamba, 2. Ku nsi bye tulina twabireka, essanyu lyaffe ye
leero ne mu kufa! Ggwe Mukama.
Ayi tujunenga, Nnyaffe Ggwe oli mukuumi 3. Ku nsi kuno twafuuka bafu, olw’okubeera
waffe, Maria, Maria, tukukoowoola. obwakabaka bwo.
4. Mu Ggwe byonna tubisobola titulemwa
ENTRANCE: MPA OKULWANIRIRA ng’otukwatirako.
KY’ONKUUMIDDE 5. Obw’omuntu obwesiga kitono, amaanyi gaffe
ye Ggwe Mukama.
Ekidd.: 6. Obwomuntu obwesiga kitono, Mukama waffe
Mpa okulwanirira ky’onkuumidde okuva obuto otuyambanga.
bwange, Nyweza ky’onkuumidde okuva obuto bwange. MUKAMA WAFFE FFE B’OLONZE

1. Wanjagala Mukama wange nga nkyali mu D


lubuto lwa maama, Mukama waffe ffe b’olonze –
N‟onnonda nze n‟onjawula, mbeere wuwo nzenna. Ab’okukolanga mu nnimiro
2. Wankuuma Mukama wange ng’oli bw’akuuma Tuwe okukolanga mu nnimiro -
eriiso lye, N’omutima omwetowaze
N’onkuuma obuto bwange n’obulamu bwange. Tuwe okukola nga sitweganya -
Tukuleetere amakungula
3. Wampa mu mutima gwange omuliro ogwaka Tubeere abakozi abakusanyusa-
ekitalo, Okwagala Mukama waffe ab’omyoyo
okwo kumpujja, nsaba okukuumenga. Tubalirwe mu abo abeetegese -
4. Okuva obuto Mukama wange nnakwagala Abakulindirira lw’olijja
obutamala, Njagala Ettawaaza zaffe zaake nnyo –
nkwekuumire Mukama wange emirembe N’omuzigo ogugenderako
n’emirembe. Mukama waffe nno lw’olijja -
Ne batugamba nti otuuse
5.Nkuume ettawaaza y’obutuukirivu Mukama
kiro Leero nno ffe abeetegese -
wange ng’eyaka, Mu
Mukama waffe olitusanga
butukuvu n’obuwulize nga ndi wuwo.
eri Tubeere mu abo abalisooka -
OKUKWEMALIZA KYE KIRABO KYANGE
Abaligenda okwaniriza
Ng’otuuse bw’oti amazima -
B.
Mukama waffe tulisanyuka nnyo.
Ekidd.
Okukwemaliza kye kirabo kyange kye nkuwadde
Gloria – EKITIIBWA KIBERE ERI KATONDA
Okukwemaliza kye kirabo kyange mu maaso go,
Okukwemaliza kye kirabo kyange ekisinga,
Bass; Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda
Ggwe Katonda wange, muganzi wange nkulagaanya,
Obutukuvu, obubeererevu bwe nkuwadde,
Chorus.
Emibiri gyaffe obulamu bwaffe ebyo birabo byo,
Ekitiibwa kibeere eri Katonda,
Ebirabo ebirala Katonda waffe bya munguuba,
yekka;
TUYAMBE FFENNA MIKWANO GYO
Naabo abalungi ye basiimye,
emirembe gibeere ku bo.

Page 36 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


1. Tukusinza, tukutenda egyakayitawo okuva ku kujaguza ku jubilewo.
anti ebyo byokola Mukama bya ttendo. Era naye anaakutunzanga ngʼasinziira ku myaka
2. Katonda Mukama ggwe omuyinza Patri ggwe egibulayo okutuuka ku makungula gʼebibala.
Kabaka w’eggulu otendwa. Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo
3. Omutiibwa wekka Omwana owa Kitaffe ggwe ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka
katugulumize, bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga,
4. Ayi Mukama, Kaliga ka Katonda Yezu Kristu kubanga obungi bwʼebikungulwa, bwʼogula ku
Mukama otendwa. mutunzi. Temuseeragananga; mutyanga Katonda
5. Ggwe ajjawo ebibi by’ensi saasira saasira, wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda
tuwanjaze tuwulire. wammwe.
6. Ggw’atudde ku ddyo gwa Kitaffe, saasira saasira
tuwanjaze tuwulire. Ebyo Omukama y’abyogera.
7. Kubanga ggwe Mutukirivu asukkiridde wekka,
ggwe Yezu Kristu. Okwebuulirira
8. Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu, mu kitiibwa
kya Patri, Amiina, Amiina. ONKONGOZZE
Onkongozze Taata webale
AMASOMO Onkongozze Taata webaale
Essomo erisooka. Gwe ankongozze emyaka emingi Mukama
Byetusoma mu kitabo ky’abalevi 25:1,8-17 nkusiimye ntya?

Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi Otambudde nange Mukama wange, ng’ondaga ekisa
nti, Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ezʼomu kyo n’obuyambi bwo, mu bizibu
myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka byange ne mu byangu, ng’obeera nange ggwe
musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti wennyini Katonda wange ggwe Mukama
ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda. owange: tewantumira mubaka yadde tewantumira
Ekkondeere eryʼokujaguza munaalifuuyiranga malayika.
wonna wonna ku lunaku olwʼekkumi mu mwezi
ogwʼomusanvu ku Lunaku olwʼOkutangiririrwa, 1. Wansitulanga ng’omwana n’onzisa oti ku ttama
ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe lyo, wantwala na nkobaza kisa
yonna. Munaatukuzanga omwaka ogwʼamakumi Taata weebalege, wannneyamba ng’omutume
ataano, era munaalangiriranga ebiseera ebyʼeddembe n’obalambula abantu,
eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka wabatuukako obagumye bonna Taata weebalege
ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubilewo Mu bakadde bange wabeera nange, mu baganda
gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye bange wabeera nange
ekyʼobwannannyini, era buli omu anaddangayo mu Mu ssanyu lyange wabeera nange, mu nnaku
kika kye. Omwaka ogwʼamakumi ataano gunaabanga zange wabeera nange
gwa kujaguza gwa Jjubilewo gye muli; mu mwaka Mu mirimu gyange wabeera nange, mu lugendo
ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze lwonna waberanga nange,
ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya tewantumira mubaka wadde tewantumira
ebibala ebyʼoku mizabbibu egitali misalire. malayika.
Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubilewo
era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo 2. Abannyambye bawe omukisa gwo, bannakibiina
byokka bye munaggyanga mu nnimiro. abo bawe omukisa gwo abakulu
baffe bawe omukisa gwe ne bato baffe bawe
Mu mwaka ogwo ogwʼokujaguza ogwa jubilewo buli omukisa gwo abo be
omu anaddangayo mu kifo kye ekyʼobwannannyini. wayita bawummuze mu ddembe n’e kitangaala
Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu eky’olubeerera kibaakire
kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe
ekintu kyonna, temuseeragananga. Munnansi Amiina
munno onoomugulangako ngʼosinziira ku myaka

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 37


Essomo ery’okubiri. OFFERTORY:
Byetusoma mu bbaluwa esooka mu
kyabakorinti. 1: 3 -9 EKIRABO KY’OBUGOLE KYENDESE
MUSIC SHEET
Ekisa kibe ku mmwe nʼemirembe egiva eri Katonda
Kitaffe ne Mukama waffe Kristu. Nneebaza KATONDA WAFFE OYO
Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olwʼekisa
kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristu Yezu, Katonda waffe oyo – Nnamwebaza ntya? (3)
mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu Olw’ebirungi enfaafa by’atuwadde?
kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna, Nga tweyanze! Katumuddize kw’ebyo by’atuwadde
era ngʼobujulirwa bwa Kristu bwe bwakakasibwa Ebivudde mu kutegana okwa buli nkya
mu mmwe, muleme kubaako kye mwetaaga mu (Ssebo ow’ekisa ebyaffe bisiime
kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Anti biraga omutima ogusiima) (2) Ogw’abaana bo.
Mukama waffe Yezu Kristu. Era oyo yʼalibanyweza
ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa 1. Laba omugaati, laba n’eviini gye tuleese,
ku lunaku lwa Mukama waffe Yezu Kristu. Laba n’amakula g’otuwadde tugaleeta.
Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu Tobigaana, bitono nyo, biraga Kitaffe
okwʼOmwana we Yezu Kristu Mukama waffe. Bwe tusiima Taata by’otuwaddde webalege.

Ebyo Omukama y’abyogera. 2. Tunaakuwa ki, ddala ky’osiima nannyini nsi?


Laba n’obulamu bw’otuwadde tubuleeta.
Tobigaana................
Evanjiri
3. Ebintu by’ensi, tubiwe Ddunda atwagala nnyo,
NENO LITA SIMAMA Tumuwe ebirala by’atuwadde olw’ekisa kye.
Neno lita simama (2) Tobigaana.................
Vitu vyote vitapita lakini neno lita simama
Uta pita utapita, uma sikiya utapita 4. Nnaakuddiza ki, ddala eky’ebbeeyi ekikugyamu?
Vitu vyote vita pita lakini neno lita simama Kino kye nsobola kye nkuwadde onokitwala.
Tobigaana................
Pesa ya uta pita, uma sikiya uta pita
Vitu vyote vita pita lakini neno lita simama OGGYA KU BUGAGGA
Oggya ku bugagga bwo Mukama wange
Ebigambo byevanjiri ya Mukama waffe Yezu gwe n’ongagawaza
Kristu ebivudde mu Mariko. 5: 18 -20 Ebyo bye mpita ebyange byonna bibyo.
Njigiriza nange okutoola kwebyo by’ompadde
Yezu bwe yali ngʼalinnya mu lyato, omusajja mbikuddizenga;
eyali abaddeko sitaani nʼamwegayirira bagende Njigiriza nange okutoola kwebyo by’ompadde,
bonna. Yezu nʼatakkiriza, nʼamugamba nti, “Ddayo Ngagawaze abalala.
ewammwe mu bantu bo obabuulire ebintu byonna
Mukama byʼakukoledde era nga bwʼakusaasidde.” 1. Ebirabo byendeese biibino
nga biva mukutegana kwange,
Awo omusajja oyo nʼagenda ngʼatambula mu Omutima gwange ne byennina
Dekapoli (ebibuga ekkumi) ngʼabuulira abantu gy’oli biba bya ttendo.
Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna Eby’ennaku n’eby’essanyu
abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo. Taata mbikuddiza byonna,
Obunafu bwange n’ebinnema
Ebigambo by’evanjiri eno bikomye wano. by’ebirabo bye ndeese.

2. Obulamu bw’ompadde Mukama


obujjudde emikisa,

Page 38 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


Kitange nneyanzizza ebirungi TUJJA WUWO YEZU
ontonnedde bingi. Nga muwomedde ebyambalo
Mukutuusa bye nteekwa naffe mutubulireko mulaga wa
okukola mbeere kitangaala, Tuli bayite ffe kukijulo ku
Mu kusiriira nenzigwerera mbaga ya Yezu gyategese,
mbayambe balabe ekkubo lyo. Okulya ebirungi ebya buli kika,
bye bigere bino batulinze.
3. Amaanyi n’amagezi bye wampa Tulina kukeera twanguweko
okuva mu buto bwange, okubalirwa mu abo bannamukisa,
Okubyeyamba nentetenkanya ebibala Mwanguwe okutegeka tweyuneyo Yezu atugabule
nga nfunye bingi. Ukaristia.
Bwe bugagga kwe ntodde Mukama
ne nkudiza nyini byo Tujja kukyala gy’otuyise,
Obitwala gwe Namugereka tujja wuwo Yezu omugabuzi x2
by’ebirabo bye ntodde.
Omubiri n’omusaayi gwo nga biwoomu nnyo,
4. Abayonta n’abawamma Mukama, Anti okubiryako kigambo kya ttendo nnaatenda
abatalina kantu, Ntya obuwoomi bwakyo.
Bangi abanneetoledde Ddunda Kankufenenga lunye, nkumanye okusinga wano x2
abadaagira Ggwe.
Kantoole ku byompadde ebingi Abayala n’abayonta nga muludde ye?
mukutegana kwange, Yezu abayita eno Katonda y’abayita munaasubwa
Bafune emmere ya leero ettendo lyo bayimbe. mutya munnagambaki?
Kankufenenga lunye, nkumanye okusinga wano x2
BRINGING IN THE SHEAVES
Sowing in the morning, sowing seeds of kindness Akusaba kimu kati ba muyonjo nnyo,
Sowing in the noontide and the dewy eve. Omutima gulongoose ku kijjulo baayo kyategekedde
Waiting for the harvest and the time of reaping, Abagenyi baakyo,
We shall come rejoicing bringing in the sheaves. Kankufenenga lunye, nkumanye okusinga wano x2

//Bringing in the sheaves, bringing in the sheaves KATONDA WANGE OMWAGALWA


We shall come rejoicing bringing in the sheaves. // x2 Katonda wange omwagalwa, Ggwe
ssanyu buli wantu.
Sowing in the sunshine, sowing in the shadows, Buli kye nnoonya okindaga
Fearing neither clouds nor winter’s chilling breeze, ssetaagenga na kantu.
By and by the harvest and the labour ended, Onnyamba nga ngwa mu kabi,
We shall come rejoicing bringing in the sheaves. Kitange nnaakuweera ki?
Laba bwe ndaga obwavu.
Going forth with weeping sowing for the master,
Though the loss sustained our Spirit often grieves. Bwe nfunye Yezu twegasse, olwo
When our weeping is over, he will bid us welcome, nfuuse muganzi.
We shall come rejoicing bringing in the sheaves. Ensi n’ebyayo mbidduse, bisuula
bangi enganzi.
SANCTUS: ST JOHN THE BAPTIST Ekkubo lyokka eryandagwa, Yezu
kwe ndinywerera, era ssirimuvaako.
AKALIGA: MISSA MUMUTENDEREZE

Sr. Immaculate Rose @ 50 Years Page 39


Yezu ekkubo eddungamu, anyweza 7. Yalyowa Yisraeli omuwereza we ng’ajjukira
buli bbanga. Ekkula omubalagavu, ekisa kye.
bajjajja gwe baalanga. 8. Nga bwe yalagaanya bajjajjafe, Ibrahimu ne
Ankuuma ndi kuteera ki? K’omwoyo bazzukulu be emirembe gyonna.
ngudduse awabi, enneema ze mba
nyweza. Ekitiibwa kibe kya Patri ne kya Mwana n’ekya
Mwoyo Mutuukirivu nga bwekyaliwo olubereberye
Ayi Yezu omuzira kisa, nnaasiima nakakano, n’ebulijjo emirembe n’emirembe
ntya by’oleese. Nkungaanye Amiina.
bamalayika ne mmange olwo
tuteese. EXIT
Tube wamu nga nkwebaza,
nneesambe n’ebitagasa. Nkukwase GO FORTH GUIDED BY THE SPIRIT
omwoyo gwange Go forth guided by the Spirit go
Go forth guided by the Spirit go
THANKSGIVING: Magnificant GO, And preach the word of God go,
Omwoyo gwange gugulumiza Omukama Guided by the Spirit go.
Omwoyo gwange gugulumiza Omukama
Omutima gwange gujaguliza mu 1. I call you my disciples,
Katonda Omulokozi wange. My brothers and my sisters
Be my witness throughout the
1. Kubanga yalaba obwetowaze bw’omuzaana we, nations, Preaching the word of God.
Okuva kati amazadde gonna ganampitanga wa
mukisa 2. Bring good news to the people,
2. Kubanga nnyini buyinza yankolera ebyamanyi, To love God and neighbor
erinnya lye ligulumizibwenga. Peace and justice teach the people,
3. Ekisa kye kibunye mw’abo abamutya, okuva You the salt and light.
kuzzadde erimu okutuuka Ku ddala.
4. Yakola eby’amaanyi n’omukono gwe, 3. I send you to the people,
n’asaasaanya abekuzaanga mu birowoozo byabwe The sick, the poor, the needy
5. Abeekuluntaza yabaggya ku ntebe, n’agulumiza Heal the sick ones, help the needy,
abeetowaza. Help them as you can.
6. Abayala yabatukumula ebirungi abagagga
n’abaggyawo bukumbu.

Page 40 Sr. Immaculate Rose @ 50 Years


BISHOP STENSERA VOCATIONAL
TRAINING COLLEGE - BWANDA

ABOUT US UNIQUE POINTS


Bishop Stensera V.T.C is a girls & boys boarding - Unique vocational training girl’s college
private vocational college registered with the - Dedicated sister (DM) administrators
ministry of education and sports. It was founded by - Has good facilities & spacius environment
Rev. Mother Mary Magdalene De Pazzi Nakirijja - Supporting local students & teachers
(DM) in 1991 - Dedicated teaching / nonm teaching staff members

A model vocational training college that enchanges AIMS / OBJECTIVES


development in and out the nation embedded - Train job creators & entreprenueurs.
with quality vocational skills, moral descpline - To promote creativity & good standards of living.
compentence, confidence and fear of God. - For future responsible citizens..
- Provide quality vocational skills to the girl / boy child.
VALUES: - To enchane moral and religious disciplined citizens
- Vocational Training - Discipline COURSES OFFERED
- Integrity - Moral Values - Insitutional Catering & Hotel Management
- All Round Development - Secretarial & Office Managment
- Tailoring, Art & Design
MOTTO: - Computer Studies
Training for the future - Accountancy & Finance
- Hair Dressing, Cosmetology & Body Therapy
MISSION: - Nursery Teaching Training (ECD) ED
For quality Vocation Training of a Girl Child. - Child Care - Farming M IN
A
EX BY: &
We congratulate the newly and
- Fashion & Designing
U B TEB O
,
- Sweeter Knitting DIT MBOG TY
perpetually professed and jubilarians A
Sr. Immaculate Rose @ 50 Years YNPage
- Driving & Motor Mechanics K RIS
upon their commitments. U IVE 01
The Board of Governors PTA, Headteacher, Staff, Students and the entire fraternity of St. Aloysius Girls
SSS Bwanda congratulate Rev. Sr. Immaculate Rose Namakula upon your Golden Jubilee.
82 | May God Bless you in the Journey ahead.

Page 01 “Spec Patra”


Sr. Immaculate Rose @ 50 Years

You might also like