Download as docx, pdf, or txt
Download as docx, pdf, or txt
You are on page 1of 7

Maria de Agreda, “MYSTICAL CITY OF GOD”

Essaala Yezu gye yasoma mu Senaakulo ng’agenda okugunjaawo Ssakalamentu lya


Ukalistiya

470. ... [Mu kiro ky’olw’okuna olwasembayo,] Omukama yatuula ku mmeeza...


n’Abatume era n’abamu ku bayigirizwa be abalala, awo n’alagira omugaati
ogutazimbulukuse guteekebwe ku mmmeeza era n’evviini ereetebwe....

471. Awo Nnyini bulamu n’ayogera ebigambo eby’okwagala okuyitirivu eri


Abatume.... Omukyala ow’ekitiibwa ennyo [Nnyaffe Biikira Maria], ng’asiinziira gye yali
mu lusirika, Omukama yamuwa okulaba byonna Omwana we bye yali akola mu ssenaakulo;
era yabitegeera n’okusinga Abatume ne ba malayika, so nga nabo [ba malayika] mu
ssenaakulo baalimu.... Ba malayika baaleeta ne Enoka ne Eliya mu ssenaakulo okuva mu
kiwummulo kyabwe; kubanga Omukama yayagala ba jjajja b’etteeka ekadde bano nabo
babeerewo ng’ateekawo etteeka ery’Evvanjiri....

472. Bano bonna nga weebali,... Katonda Patiri naye n’alabika mu ssenaakulo wamu
ne Mwoyo Mutuukirivu nga bwe baalabika mu kubatizibwa kwa Kristu mu Yordaani ne mu
kufuuka kwe obulala ku lusozi Tabor. Wadde Abatume bonna baawulira okubeerawo kuno
okwa Trinita Omutuukirivu, naye bamu ku bo be baaweebwa omukisa okulaba Patiri ne
Mwoyo Mutuukirivu.... Bannaggulu bonna bajja mu ssenaakulo.... Kinajjukirwa, nti okuva
lwe yeefuula omuntu, Kigambo, newankubadde asigala ali persona omu, naye alina enkula
bbiri: ey’obwakatonda n’eyobuntu.... Ng’omuntu, ali wansi wa Patiri era alina omwoyo
n’omubiri nga ffe ffennyini bwe tuli. Mu bw’omuntu bwe buno mwe yatenderereza era
n’akungiriza obutakoma bwa Patiri ataggwawo, ng’asabira oluse lw’abantu lwonna.

473. “Kitange era Katonda ataggwawo, njatula, ntendereza era ngulumiza obutakoma
bwo n’obwakatonda bwo obwewuunyisa, mwe ndi ekimu naawe ne Mwoyo Mutuukirivu,
nga nzaalibwa amagezi go nga n’emirembe gyonna teginnabaawo, ng’ekifaananyi ky’enkula
yo n’eky’obwakatonda bwo (Yow 10:10; Zab 119:3; Abeeb 1:3). Mu nkula gye nnaggya mu
nda ya mmange omubiikira, njagala okutuukiriza omulimu gwe wankwasa ogw’okulokola
oluse lw’abantu. Enkula eno ey’obw’omuntu njagala okugiddiza obutuukirivu obusingira
ddala era ogyesiimiremu mu bujjuvu; era ekyo nga kiwedde njagala okuva mu nsi muno nzije
eyo ku gwa ddyo ogugwo, nga nsitudde abo be wampa awatali kufiirwako wadde omu ku bo
olw’okuba ffe tetubayambye (Yow 1:12). Essanyu lyange liri mu kubeera n’abaana b’abantu
(Eng 8:31) era, nga bwe kiri nti bwe mba sibayambye, bajja kusigala nga ba mulekwa nga
nngenze, njagala okubawa akabonero akakakafu ak’okwagala kwange okutakoma era
akakakasa empeera ey’olubeerera gy’obaterekedde. Njagala mu mpeera y’okubonaabona
kwange bafunemu eddagala eryangu ate ekkakafu eriwonya ennaku zonna eziva mu kibi kya
Adamu, era njagala okubaddiza mu bujjuvu essuubi ery’okwesiima okutaggwawo kwe
baatonderwa.”
474. “Naye nga bwe kiri nti abajja okunywerera mu butuukirivu buno batono, bajja
kwetaaga obuyambi obulala, basobole okudda era n’okukakata mu kkubo ery’obutuufu
n’obutuukirivu ng’ekisa kyo kibadduukirira buli jjo n’ebirabo ebijja era n’obuyambi obujja
mu lugendo lwabwe olw’obulamu olujjudde obubenje. Kwali kusalawo kwaffe nga
n’emirembe gyonna teginnabaawo, batondebwe era bagabane ku butuukirivu era ne ku
ssanyu ly’obwakatonda bwaffe emirembe gyonna; era okwagala kwo, okwansidika okufuna
enkula esobola okubonaabona era n’okwaniriza ekiswalo ky’omusaalaba (Fil 2:8),
tekwandibadde kumativu okutuuka nga kuzudde engeri empya ez’okwewa abantu okusinziira
ku busobozi bwabwe era ne ku magezi gaffe n’obuyinza bwaffe. Engeri zino empya zijja
kuba mu bubonero obulabika obuja mu nkula yaabwe ey’abantu abalina omubiri naye nga
bubawa ebirungi ebitalabika mu myoyo gyabwe.”

475. “Okusobola okutuukiriza ebigendererwa bino ebitukuvu olw’okukugulumiza


n’okukussaamu ekitiibwa, ayi Mukama ataggwawo era Kitange, mu linnya lyange era ne mu
linnya ly’abaana ba Adamu bonna abanaku era ababonaabona ennyo, nsaba okkirize mu
kwagala kwo okutaliiko kusooka era okutaggwawo. Ebibi byabwe bwe biba nga bisaba
kibonerezo, obunaku bwabwe n’okubonaabona kwabwe buwanjagira obusaasizi bwo
obutakoma. Mu kadde ke kamu, nange mpaayo ebikolwa byange byonna eby’obw’omuntu
ate ng’era ndi Katonda ddala. Mpaayo obuwulize bwange mu kukkiriza okubonaabona
n’okutuuka okufa; obwetoowaze bwange, mu kukkiriza okulamulwa abantu ababi; obwavu
n’okutegana kw’obulamu bwange, ebivumo mu kubonaabona ne mu kufa kwange,
n’okwagala okunsindika okugumira bino byonna okukuweesa ekitiibwa n’okulaba nga
ebitonde byonna ebisobola okufuna enneema yo n’essanyu lyo bikumanya era ne bikusinza.
Ggwe, ayi Mukama ataggwawo era Kitange, onfudde Muganda w’abantu era Abakulira,
n’obateebeza okugabana emirembe gyonna ku ssanyu ery’obwakatonda bwaffe (Kol 1:18).
Ng’abaana bo, ba kugabana nange ku busika obw’emikisa egitaggwawo (Rom 8:17), era
ng’ebitundu by’omubiri gwange, ba kugabana mu kwagala kwange (1 Kor 6:15). N’olwekyo,
nze njagala okubasikiriza mbayingize mu mukwano gwange era bagabane ku birungi
eby’obwakatonda, bye baateebezebwa okuviira ddala mu masooka gaabwe mu Adamu.”

476. “Nga nsindiikirizibwa okwagala kuno okutaliiko kkomo, ayi Mukama era
Kitange, nsazeewo nti okuva kati abantu bajja kuddizibwanga mu bujjuvu mu mukwano gwo
ne mu nneema yo nga bayita mu ssakalamentu lya Batiisimu, era nga bajja kusobola
okugifuna amangu ddala nga baakazaalibwa; era okwegomba kwabwe okw’okuddamu
okuzaalibwa mu nneema, kwe batasobola kwolesa nga bato bwe batyo, nzikirizza
kwolesebwenga bakulu baabwe. Bafuukirewo abasika b’ekitiibwa kyo; balambibwe mu ngeri
etagooka nti baana b’Eklezia wange; baggibweko ebbala ly’ekibi ekisikire; bafune ebitone
eby’okukkiriza, okusuubira n’okwagala, ebinaabasobozesa okukola ebikolwa eby’abaana bo:
nga bakumanya, nga bakwesiga, nga bakwagala kubanga ggwe mulungi ennyo omwagalirwa
ddala. Bafune empisa ennungi ezinaabasobozesa okufuga n’okulunngamya amaddu gaabwe
n’okwawula, awatali kuwubwa, ekirungi okuva ku kibi. Essakalamentu lino libeere
omulyango gw’Eklezia wange, era nga lisobozesa abantu okufuna ebirungi ebirala byonna
era ne libateekateeka okufuna ebitone ebijja n’emikisa emijja egy’enneema. Era nsazeewo,
nti ng’ojjeeko essaakalamentu lino, bayinza okufuna eddala, erinaabakakasa era ne
libanyweza mu kukkiriza okutukuvu kwe bafunye, era ne babeera bazira mu kukulwanirira
nga batuuse mu myaka egitegeera. Era olw’okuba obunafu bw’obuntu buva mangu ku
kukwata etteeka lyange ate ng’okwagala kwange tekujja kunzikiriza kubaleka nga tebalina
buddukiro, njagala okubawa essaakalamentu lya Penitensiya. Abantu, nga bayita mu lyo, bwe
banakkirizanga ensobi zaabwe ne bazaatula n’omutima ogumenyese, banaddizibwanga
obutuukirivu n’empeera ey’ekitiibwa eyabasuubizibwa. Mu ngeri eyo, Lusifeeri
n’abagoberezi be bajja kulemesebwa okwewaana nti amangu ago basuuzizza abantu bange
ebirungi bya Batiisimu.”

477. “Olw’okutukuzibwa amasaakalamentu, abantu bajja kusaanira okwetaba mu


kabonero akasingira ddala ak’okwagala kwange mu buwannganguse bwabwe obw’obulamu
buno obw’okunsi; nga banfuna mu ssaakalamentu, mu kifaananyi eky’omugaati
n’eky’evviini, mu ngeri etattottolekeka. Mu kifaananyi eky’omugaati nja kubaweeramu
omubiri gwange, ate mu kifaananyi eky’evviini nja kubaweeramu omusaayi gwange. Mu buli
kimu ku bino ebifaananyi nja kubeereramu ddala era mu mazima, era essaakalamentu lino
eryewuunyizibwa erya Ukalistiya ndigunjaawo ng’emmere eva mu ggulu ate egya mu
mbeera yaabwe ey’abalamazi. Ku lwabwe nja kukola ebyewuunyo bino era nja kubeera nabo
okutuuka ensi lw’eriggwawo (Mat 28:20). Olw’okugumya n’okutaasa abo abanaaba
basemberedde enkomerero y’obulamu bwabwe, nteekawo essakalamentu ly’Okusiigibwa
kw’abalwadde, eririmu n’ekisuubizo ky’okuzuukira kw’omubiri eri abo abasiigibwa.
Okusobozesa bonna okwenyigira mu ngeri esaanidde mu kutukuza kw’ebitundu by’omubiri
gwange Ekelezia, nteekawo essakalamentu lya Ordiini okwawula era n’okulamba abamu ku
bo mu kutukuzibwa okw’enjawulo era mbateeke waggulu w’abakkiriza abalala nga bwe
kisaanidde abatukuza amasaakalamentu era ng’abasaeridooti bange be nneerondedde.
Newaakubadde obuyinza bwabwe bwonna buva wange, naye era njagala buve ewange nga
buyita mu omu ku bo, ajja okubeera omusigire wange era omukulu, ankiikirira era akola
ng’omusaaseridooti wange omukulu. Mu mikono gye mwe ntadde ebisumuluzo by’eggulu,
era ensi yonna ejja kumuwulira. Okwongera okutuukiriza Eklezia wange, enteekawo
essaakalamentu erisembayo, ery’Obufumbo obutukuvu, okutukuza obufumbo bw’omusajja
n’omukazi ku lw’okwaza oluse lw’abantu. Eno y’engeri amadaala gonna ag’Eklezia wange
gye gajja okujjuulirizibwa n’okutereezebwa olw’enneema ezitakoma eziva mu kubonaabona
kwange. Kuno kwe kusaba kwange okusembayo, ayi Kitange ataggwawo, mwe nfuulira
abantu bonna abasika b’okubonaabona kwange, mu ggwanika ly’enneema zange, anti Eklezia
wange omuggya.”

478. Essaala eno Kristu Mulokozi waffe yagiweereza mu mutima gwe munda.
Abatume baaliwo, naye ku ngulu yali talaga nti ali mu kwegayirira. Omuzadde omutukuvu
Biikira Maria, ng’asinziira gye yali mu lusirika, ye yali alaba Omukama bwe yeegayirira, era
ng’amweyungako mu kwegayirira okwo...
Essaala Yezu gye yasoma mu Nnimiro y’e Geteesimaani

493. Olw’ebyamagero ebyewuunyisa, Mulokozi waffe Yezu bye yali akoze mu


ssenaakulo, obwakabaka Kitaawe ataggwawo bwe yali amukwasizza mu nteesa ye
esukkiridde amagezi gaffe nga bumaze okugunjibwawo; nga n’ekiro ky’olw’okuna olutukuvu
kiyitiddwako essaawa nga ziizo, n’asalawo okutandika olutabaalo olw’entiisa
olw’okubonaabona kwe n’okufa mwe yali agenda okuyita okutulokola....

494. Mulokozi waffe era Mukama waffe yafuluma ennymba ya ssenaakulo n’abasajja
bonna abaali babaddewo ng’akuza eky’ekiro eky’ekyamagero; era bangi ku bo mu bbanga
ttono basaasaanira mu nguudo ez’enjawulo ez’ekibuga okukola ebyabwe. Ng’agobererwa
Abatume be ekkumi n’ababiri, Omukama n’ayolekera olusozi lwa Oliva oluli wabweru
w’ekibuga Yeruzaalemu, okuliraana ebisenge by’akyo eby’ebuvanjuba. Yuda, ng’anoonya
engeri y’okuwaayo Omukama, yateebereza nti Yezu yali ategeka okumala ekiro kyonna nga
yeegayirira, ng’empisa ye bwe yali. Kano kaamulabikira nga ke kadde akeesiifu okuwaayo
Omukama mu mikono gy’abakulu, abawandiisi n’abafalisaayo. Ng’amaze okusalawo bwati,
yatambula mpola Omukama n’Abatume basobole okumuleka emabega. Ng’Abatume
tebakyamulaba, n’abeeyawulako, n’ayolekera mangu mangu okuzikirira kwe....

495. ... Abasaaseridooti, olw’okuba baali bawulidde nti Nnyini bulamu yali mu
Yeruzaalemu, baali bakunngaanye okuteesa ku lukwe lwa Yuda. Yuda n’ayingira
n’abagamba nti yali alesse Omukama n’abayigirizwa abalala nga bagenda ku lusozi lwa
Oliva; era nti kano kaali kalabika okuba nga ke kadde akeesiifu okumukwata, kubanga mu
kiro kino baali baamaze dda okwetegeka obulungi era nga tajja kusobola kubeesimattulako
nga yeeyambisa obukodyo bwe. Abasaaseridooti ababi bano baasanyuka nnyo era ne
batandika okunoonya abaserikale abalina ebitala bagende bakwate Akaliga akataliiko
musango n’akatono.

496. Ye Omukama n’Abatume ekkumi n’omu baali ku mulimu ogw’okutulokola


n’okulokola abo abaali bategeka okumutta. Oh, olutabaalo olutawulirwangako era
olwewuunyisa wakati w’ettima eritagambika ery’abantu, n’obulungi era n’okwagala
okutakoma okwa Katonda!...

497. Byonna ebyaliwo Nnyaffe Biikira Maria yabiraba ng’asiinziira gye yali mu
lusirika.... Okunyolwa okwayingira mu mutima omutukuvu ogwa Biikira Omuzadde, essaala
ez’okwagala n’ezempisa ennungi zonna ze yasoma ng’alaba obubi obwo bwonna, n’ebirala
byonna bye yakola mu kaseera ako, tetusobola kubitegeera; tuyinza kugamba bugambi nti mu
byonna yakozesa obujjuvu bw’amagezi n’obutuukirivu, era n’okusiimibwa kwa Trinita
Omutuukirivu....

498. Mulokozi waffe yayongera mu maaso olugendo lwe, n’asala akagga ga Sedroni
(Yn 18:1) n’agenda ku lusozi lwa Oliva n’ayingira ennimiro y’e Geteesimaani. Awo
n’agamba Abatume bonna nti: “Munnindeko, era mutuule wano nga bwe nngenda wali mu
maaso ko okwegayirira (Mt 26:36); nammwe mwegayirire, musobole okwewala okugwa mu
kukemebwa (Lk 22:40). Omukama yabawa amagezi gano, basobole okusigala nga banywevu
mu kukemebwa, kwe yali ayogeddeko nabo nga bali ku ky’Ekiro: nti bonna baali bajja
kwesittala olw’okubeera engeri gye baali bagenda okumulabamu ng’abonaabona ekiro ekyo,
nti Sitaani yali ajja kubalumba abawewe era abayuuguumye n’ebikemo bye... Awo Nnyini
bulamu, ng’alesse Abatume abalala omunaana mu kifo ekyo, n’atoola Petero, Yowanna ne
Yakobo, n’agenda mu kifo ekirala, bali abalala nga tebakyasobola kubalaba wadde
okubawulira (Mk 14:33). Ng’ali n’Abatume abasatu, amaaso n’agayimusiza Kitaawe
ataggwawo ng’amutendereza era ng’amugulumiza nga bwe yali amanyidde okukola; nga
munda bw’asaba ng’atuukiriza Omulanzi Zakaliya kye yalanga, ng’akkiriza olumbe
lumutuukeko, asinga obulungi mu bantu bonna, era ng’alagira ekitala eky’ekibonerezo kya
Katonda kigalulirwe Omusumba era kituuke ku Kigambo eyeefuula omuntu, n’amaanyi
gaakyo gonna. Mu ssaala eno Kristu Mukama waffe yaddamu okwewaayo eri Kitaawe
ataggwawo okumuddaabiriza alokole oluse lw’abantu; era n’akkiriza obibonoobono bye
byonna n’okufa bimujjire.... Okuva mu kaseera ako, yaggalawo era n’ayimiriza ebikubagizo
byonna... asobole okubonaabona mu ngeri esingira ddala. Kitaawe ataggwawo bino byonna
yabikkiriza era n’asiima ekitambiro eky’okweweerayo ddala kwa Mukama waffe.

499. Essaala eno ye yali omulyango okubonaabona okuyitirivu mwe kwayita


okutuuka ku Mukama waffe, nga Dawudi bwe yali yalanga (Zabb 68:2). Amangu ago
n’atandika okuwulira ennaku ennyingi mu mwoyo gwe, n’agamba Abatume, nti: “omwoyo
gwange guliko ennaku nnyingi ezaagala n’okunzita” (Mk 14:34).... ebigambo bino
n’okunyolwa kwa Kristu Omukama birina eby’amagero ebikulu ddala bye bituyigiriza....
Omukama yakkiriza okunyolwa kuno kutuuke ku ssa erisingira ddala eryali lisobola okubeera
mu bw’omuntu bwe. Yenna yajjula okunyolwa mu mwoyo gwe ne mu mutima gwe, mu
kutegeera kwe ne mu bwongo bwe, ng’alaba ebibonerezo ebyali bigenda okujja n’okuzikirira
kw’abanji ennyo newaakubadde nga yali agenda kubafiirira. Kino kye kyasingira ddala
okumunakuwaza.... Teyagamba nti yali anyolwa olw’okufa kwe, wabula nti ennaku yali
eyagala kumutta, kubanga okutya okwali kuva mu kulowooza nga bwe yali agenda okufa mu
kugeraageranya kwali kutono....

500. ... okwagala okuyitirivu Mulokozi waffe kwe yatulinako kwennyini kwali
kumusindika okukkiriza okunyolwa kuno kutuukire ddala ku ssa erisingira ddala eryali
lisoboka; kubanga singa teyakkiriza kunyolwa okwo kutuuka ku ssa eryo, okwagala kwe
tekwandimatidde, era tekyandyeyolekeredde ddala nti okwagala kuno kwali tekuyinza
kuzikizibwa bibonoobono newaakubadde ebyenkana bitya (Oluy, 8:7). Mu ngeri y’emu,
yayolesa okwagala kwe eri Abatume, abaali naye era nga banyolwa nnyo olw’ekyo kye baali
balaba, nti akaseera ke ak’okubonaabona n’okufa, ke yali abagambyeko emirundi emingi era
mu ngeri ennyingi, kaali katuuse. Okunyolwa kuno n’okutya kw’abasobeza nnyo naye nga
batya okumubuuza. N’olw’ensonga eyo, Omulokozi omwagazi ennyo yayagala
okubakkakkanya ng’abooleka okunyolwa okukwe yennyini okwali kujula okumutta. Nga
balaba okunyolwa kwe n’okutya baali bajja kugumira okutya okwali mu myoyo gyabwe
bennyini. Waaliwo n’ekyamagero ekirala ekyali mu kunyolwa kw’Omukama kuno: ekyali
kikwata ku Batume bano abasatu mu ngeri ey’enjawulo, Petero, Yowanna ne Yakobo.
Okusinga abalala bonna, baali bategeera obusukkulumu n’Obwakatonda bwa Mukama
waabwe okusinziira ku njigiriza ye, ku butuukirivu bw’ebikolwa bye, ne ku buyinza
bw’ebyewuunyo bye. Baali balabira ddala era nga beewuunya okusinga abalala obuyinza bwe
yalina ku bitonde byonna. Okubanyweza mu kukkiriza nti yali muntu asobola okubonaabona,
kyali kisaanye okunyolwa kwe n’ennaku ye babirabireko ddala n’amaaso gaabwe.
Olw’obujulizi bw’Abatume bano abaaweebwa emikisa egy’enkanidde awo, Eklezia
omutukuvu yali ajja kunywezebwa mu kulwanyisa enjigiriza ez’obulimba sitaani ze yali ajja
okugezaako okubunya nga ziwakanya eky’amazima nti Kristu muntu ddala. Eno y’ngeri,
abakkiriza abalala gye baali bajja okufuna ekikubagizo n’okunywezebwa nga bali mu nnaku
ne mu kunyolwa.

501. Nga batangaaziddwa muli munda n’ebyamazima bino, Abatume abasatu Nnyini
bulamu yabakuutirira, nti: “Munnindeko, mutunule era mwegayirire nange.” Yali ayagala
okuggumiza byonna bye yali abayigirizza n’okubafuula abanywevu mu kukkiriza. Mu ngeri
eno, yabajjukiza nti basobola okugwa, era n’abajjukiza obuvunaanyizibwa obwokubeeranga
obulindaala nga beegayirira basobole okumanya n’okulwanyisa omulabe, obudde bwonna
babeerenga banywevu mu ssuubi ery’okulaba ng’erinnya lye ligulumizibwa oluvannyuma
lw’okubonaabona kwe. Awo Omukama Abatume abasatu n’abeeyawulako akabanga katono.
N’agwa ku ttaka nga yevuunise, ne yeegayirira Kitaawe ng’agamba, nti: “Kitange, obanga
kiyinzika, ekikompe kino kimpiteko” (Mt 26:39)....

502. ... Mu ssaala eno, Kristu yawaayo okubonaabona kwe, omusaayi gwe
ogw’omuwendo ennyo n’okufa kwe ku lw’abantu bonna okuva ensi lwe yatandika okutuuka
lw’eriggwawo.... Newaakubadde okufiirira mikwano gye n’abo abalirokoka kyali kisanyusa
Omulokozi era nga yakyegomba dda, naye okufiirira ab’okuzikirira kyali kimuzitoowerera
nnyo era nga kirimu obulumi bungi; kubanga tiwaali kimusikiriza kukkiriza bulumi
obw’okufa ku lwabwe. Kuno kwe kunyolwa Omukama kwe yayita ekikompe, kubanga
abayudaaya baali bamanyidde okweyambisa ekigambo kino okutegeeza ekintu kyonna
ekirimu okutawaana ennyo n’obulumi.... Ekikompe kino Kristu Mukama waffe
ky’amukaayirira nnyo, kubanga yali amanyi nti ye okukinywa, ng’ojjeeko abazikirira
obutabaviiramu kalungi konna, kwali kujja kubafuukira eky’esittazo era kw’ongere ku
kibonerezo kyabwe n’obulumi bwabwe olw’okunyoma omusaayi gwe.

503. Awo nno, nnategeera nti mu ssaala eno Kristu y’egayirira Kitaawe akkirize
ekikompe eky’okufiirira abazikirira kimuyiteko. Nga kkwo okufa kwe bwe kwali kuteekwa
obuteekwa okubaawo, yasaba nti, bwe kiba kisoboka, waleme kubaawo muntu n’omu
azikirira. Yasaba nti, ng’okubonaabona kwe ku bwakwo bwe kwali kumalira ddala abantu
bonna okulokoka, awo nno bonna omuganyulo ogwo bagufunire ddala, bonna balokoke.
Kyokka era yakkiriza, nti kino bwe kiba tekisoboka, kibe nga Kitaawe bw’asazeewo.
Mulokozi waffe essaala eno yagiddamu emirundi esatu. Buli mulundi essaala ye
yeyongeranga obuwanvu, olw’obukulu bw’ensonga (Lk 22:43). Mu njogera yaffe ey’abantu,
tuyinza okugamba nti waaliwo engeri y’okwawukana mu ndowooza wakati w’obwakatonda
bwa Kristu n’obw’omuntu bwe. Mu bw’omuntu bwe, olw’okwagala okuyitirivu kwe yalina
ku bantu banne, Kristu yali ayagala bonna balokoke olw’okubonaabona kwe. Kyokka mu
bwakatonda bwe, mu magezi ge amakusike, yali yasalawo dda bameka abalirokoka, era nga
tayinza kuwa mikisa gye abo abaginyoma ennyo, abagaana okwaniriza ebigendererwa bye
eby’okubalokola, mu ngeri eyo ne beeraga nti, olw’okusalawo kwabwe bennyini,
tebasaanidde kufuna bulamu butaggwawo. Okwawukana mu ndowooza kuno kwe kwaleetera
Kristu okunyolwa ennyo mu mutima, ne yeegayirira ebbanga eggwanvu ddala, ng’akowoola
n’omutima gwe gwonna obuyinza n’ekitiibwa kya Kitaawe ataggwawo era omuyinza wa buli
kantu.

504. Obulumi bwa Kristu buno mu mwoyo bwayinjiwala nnyo olw’okwagala kwe
okutenkanika n’okumanya kwe okukakafu nti abantu bajja kulemera mu bujeemu, nga
bagaaana okweyamba enneema eziva ku kubonaabona n’okufa kwe (Lk 22:44). Okunyolwa
kwe kwatuuka ne ku ssa ery’okumutuuyanya entuuyo ez’omusaayi, ezaakulukuta okutuukira
ddala ku ttaka....

505. ... Patiri ataggwawo yasindika Mikayiri Ssaabamalayika ku nsi, omulundi


ogw’okusatu, okukubagiza Omukama.... yamubuulira mu bigambo eby’abantu, ebyamagero
bye yasangibwa amanyi: nti tekisoboka kulokola abo abatayagala; nti Patiri ataggwawo
asanyukira bya nsusso abatuufu, newakubadde omuwendo gwabwe mutono okusinga
ogw’aboonoonyi abazikirira....

511. [Nnyaffe Biikira Maria, ng’amaze okundaga bino, n’anngamba, nti:] ... Nze
okukuyita omwana wange era mugole wa Mukama wange kisaanye okukuyigiriza obutafa ku
kintu kirabika wadde ekimu, wabula okwettanira okwagala kwokka n’kubonaabona
olw’erinnya lye. Nze kennyini nkuwadde eky’okulabirako mu kino, kubanga obudde bwonna
nnamalira amaanyi gange gonna ku bino ebibiri [okwagala Katonda n’okubonaabona ku
lulwe]. Okusobola kino okutituukako, njagala weegayirirenga obudde bwonna awatali
kusalawo.... Njagala weebuulirirenga ku byamagero by’okubonaabona kw’Omwana wange,
obiwandiikeko, obiwulire muli mu mutima gwo, byolerwe ddala ku mutima gwo.

You might also like