Professional Documents
Culture Documents
okuweesa - culture0001
okuweesa - culture0001
OKUWEESA MU BUGANDA
Omulimu gw’okuweesa gwadda nnyo, era gwe gumu ku mirimu emingi ennyo Abaganda gye
baakolanga mu byalo byabwe. Abaganda baakakasanga nti omuntu asinga bonna amagezi obukugu
n’obuyiiya, ye muweesi.
OKUWEESA KWENNYINI.
Nga tuzze ku mulimu gwennyini ogw’okuweesa, abawesi baasokanga kunoonya n’okusima amayinja
agalimu ekyuma agayitibwa AMATALE; okuva mu nsozi oba ku mbalama z’ennyanja Nalubaale.
EMIVUBO (Bino biba bituli ebirekebwa mu mbigu oba akasenge akeetooloola ekinnya).
Emivubo gyasibwangako eddiba ly’endiga ensowole nga kuliko ENKERO (emidumu) omuweesi
ly’akozesa okufukuta empewo mu kinnya, okutuusa amayinja lwe gaasaanuukanga.
Mu kinnya wansi, basoookangayo ebinyusi by’ebitoogo ne bazzaako amayinja amatale ate kungulu ne
basembyako Amanda amagumu amanda gano gaatokebwanga mu miti emigumu nga akamenyambazzi,
enzo, omuzzaŋŋanda, omuttampindi , kibeere ennongo n’emirala.
Ebyo nga biwedde, olweggulo ennyo batandika okufukuta ebyuma byabwe. Okufukuta kukolebwa kiro
olw’okwewala ebbugumu n’omusana, era omulimu guno gwakolwanga kumpi kukeeseza ddala budde;
anti buli kinnya kyabeerangako emivubo nga munaana.
Amayinji nga gasaanuuse, gakulukutira mu binyusi, ate nga nabyo biyidde bifuuse evvu. Evvu
lyakwatanga amayinja agasaanuuse obutakwatako ttaka. Ebisiriinza by’amayinja agasaanuuse ebiba
bifuuse ebyuma ebyayitibwanga AMASENGERE.
1
Bya. Ssekimwanyi Musa – 0705 33 27 05 / 0777 023795
butundutundu obutonotono. Amasengere baagakubiranga era n’okutemaatemerwa ku jjinja eriyitibwa
OMUYINDO era nga n’ebyuma nga biteredde, baabiyitanga EMIYINDO oba EMISINGA.
Mu miyindo muno mwe baggyanga ebintu bye baayagalanga okuweesa. Obunene bw’emiyindo
businziira ku kiki ekigenda okuweesebwa. Wabula Omuweesi omu yayinzanga okuba nga akola bukozi
miyindo ate abalala ne bagigula, okuweesa
EMIGASO GY’OKUWEESA.
1. Mwavangamu ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo nga obwambe, enkato, embazzi
n’ebirala.
2. Mwavangamu eby’okulwanyisa n’okwekuumisa ng’amafumu, amajambiya, obusaale n’ebirala.
3. Mu ngeri y’emu, ebintu bino byonna byakozesebwanga okuddukanya ebyobusuubuzi.
4. Omulimu gw’okuweesa era gwalongoosa ebyobulimi mu Buganda. Ng’okuweesa
tekunnavumbulwa, Abaganda baalimisanga miti, oluvanyuma lw’okuvumbula enkumbi,
baasobola okugaziya ennimiro zaabwe.
5. Ebyaweesebwanga byatundibwanga okusobola okufunamu emisolo gy’eggwanga oba
gy’obwakabaka.
6. Mulimu mukulu nnyo wano e Buganda. Guwa abantu eky’okukola ne batabeera awo kulendera
na kukuba muleeyi.
7. Kyabuwangwa kikulu nnyo wano e Buganda. Abeddira ekika ky’Ente be baweesi ba Kabaka
abakulu.
8. Okuweesa kwawonyonga abaweesi okuttirwa mu kiwendo, anti omuweesi yatambulanga
n’ensinjo kiraga omulimu gw’akola.
9. Omuweesi afuna ensimbi mu bintu by’aweesa, n’asobola naye okweyimirizaawo.
10. Obuweesi bwatutumula nnyo eggwanga lyaffe, anti ebiweesebwa bya tundibwanga mu mawanga
amalala nga Karagwe.
11. Okuweesa kugaggawaza olulimi Oluganda; anti waliwo ebigambo bingi ebiri mu lulimi
ebyekwanya ku kuweesa.
12. Endege eziweesebwa zeetaagibwa nnyo mu nsinza y’Abaganda.
2
Bya. Ssekimwanyi Musa – 0705 33 27 05 / 0777 023795
EBISOKO N’ENJOGERA KU KUWEESA.
1. Okutuula ku lukato.
- Kubeera mu bizibu ebisusse obungi.
2. Okulekamu omuntu effumu.
- Kuteeka muntu ku bunkenke, naddala ng’obadde omunyumiza n’obikomya awo.
3. Okwekuulira embazzi ku kugulu.
- Kwereetera mitawaana.
4. Okuba ku musa gw’ejjirita.
- Okubeera ku kalebwerebwe k’ebizibu.
5. Okutunga ku mimwa empiso.
1. Kusirikira ddala nga tonyega.
3
Bya. Ssekimwanyi Musa – 0705 33 27 05 / 0777 023795
Ebitabo ebyo byonna bisangibwa mu bifo bino;
LTA offices – Kubira ku Mukyala Fatumah (0702 975350)
Angelina Bookshop (Mukwano Arcade – opp park enkadde mall. Kubira Ivan ku
0773 179 272 oba 0752 780458).
Muto Complex (Masaka – Angelina bookshop).
Minah Bookshop – Wakiso (0702 832609).
Kyaddondo S.S – Matugga (0705 332705)
Kireka High School – Kireka (0777 023795)
MT. ST.Henrys College - Mukono (Kabuye 0706 488 949 / 0782 912837)
Angels bookshop Kampala (Mukwano Mall K’la 0781 455095)
Quality bookshop (Mukwano mall Kampala; Kasozi 0703 985080)
Jay bookshop (Kampala – Mukwano Arcade – opp park enkadde mall.; Kubira
Kamya 0701 808636)
Kafeero Mathias (Entebe region 0752 658524).
Kakooza (Kyambogo – Bbanda – Nabisunsa 0708 179690).
Hajj Kakomo .I. (Kawempe Muslim S.S 0704 815625).
KOOMU BOOKSHOP – KYOTERA (0753 939220)
ALL Accessible bookshops in Uganda.
Osobola n’okukubira ku muwandiisi okukakutuusiza awo wonna wooli.
#Twebeereremu# Bulijjo ‘Amagezi gaba ga mitwe si migejjo’
4
Bya. Ssekimwanyi Musa – 0705 33 27 05 / 0777 023795