S.5 AGRICULTURE NOTES.docx

You might also like

Download as pdf or txt
Download as pdf or txt
You are on page 1of 46

SENIOR FIVE P360/3 LUGANDA NOTES

SSEMITEGO OMUYIZZI KKUNGWA; Mirembe Mercy

Ennyanjula

Omuzannyo guno gwawandiikibwa Mercy Mirembe era gutwoleka omululu gw'ebyenfuna awamu
n'okwetagaliza mu bantu bwe gubasudde ku mitawaana egitagambika oluvannyuma lw'okusalawo
okukola ebintu ebitasaana mwe muli n’okutwala obulamu bw’abantu bo basoole okufuna ensimbi.

Ebyo ebyolekera mu muzannyo guno tebyawukana na biri mu bulamu obwa bulijjo abantu mwe baagala
okufuna ssente ezaamangu ezitali nkolerere. Omuwandiisi ayagala okubagulizaako ku musomi ku ebyo
ebiyinza okumutuukako olw’amaddu g’ebyenfuna.

Omuzannyo guzimbiddwa mu bitundu bisatu nga birimu ebiragibwa ebyenjawulo;

Ebiragibwa ebyenjawulo;

OMUTWE GW’OLUGERO

Omuwandiisi w'omuzannyo guno aguwa omutwe"Ssemitego omuyizzi Kkungwa" ogutwoleka nti omuntu
yenna asobola okubeera owamaanyi era omututumufu wabula n’asulibwa mu ngeri eyokusaaga/akantu
akatono nga bwe guli ku musajja Ssemitego, omutwe guno gutubagulizaako kuebiri mu muzannyo.

EKIFAANANYI KY'OKUDDIBA

Omuwandiisi w'omuzannyo ateeka ekifaananyi eky'abantuabiri ku ddiba nga kuno kwe kuli omukyala
omubalagavunekaanekanye obulungi awamu n'omusajja alina effumuwamu n'obusaale ku mugongo
ekimwoleka okuba omuyizzi. Omuwandiisi agenderera bino okutukubira ekifaananyi kino;

Okusunira ku musomi ebiri mu nda.

Okumusikiriza okusoma.
Okwoleka obukugu bwe.

Kiyamba omusomi okwefumiitiriza.

Okuggyayo omutwe gw'omuzannyo anti omusajja aliku ddiba ateeberezebwa okuba


Ssemitego.

BIKWATA KU MUWANDIISI

Mercy Mirembe Ntangaare ye muwandiisi w’omuzannyo.

• Musomesa ku Ssettendekero wa Uganda e MakerereUniversity ku bbanguliro


ly’ennyimba, amazina wamune katemba.
• Yaliko Nnankulu w'ebbanguliro lino 2002 – 2009.
• Muwandiisi w'emizannyo kayingo okugeza Dustbinnations, The Rat Trap.
• Muwandiisi wa lulango mu kuwandiika ku katembaawamu n’eby’obuwangwa mu
mpapula z’amawulireawamu ne magazines.
• Mukyala mukulembeze era abadde mukiise mu bitongolebyenjawulo. Okugeza Eastern
Africa Theatre Institute,Uganda National cultural Centre (UNCC).
• Anyumirwa nnyo okuwandiika ebitabo okunoonyerezaokusoma, okulambula abantu,
okukuba ebifaanany, okufumba, n'okulima.

OMUZANNYO MU BUFUNZE

Omuzannyo guno gukwata ku musajja omuyizzi kamyigo eyatomerwa embogo ku muyiggo bw'atyo
n'afuuka Ssekibotte Embeera eno yatuukawo oluvannyuma lwa Ssemitego okuzaalayo abalongo Babirye
ne Kato.

Ssemitego yafuba okulabirira amaka ge ng’agayiggira ennyama entakera era n’omukwano mu maka
gwali musuffunnyo. Wabula embeera ya Ssemitego obutasobola kuzaala baana balala yamukaluubiriza
era yatambula kubalubaale bangi naye nga tebamuyamba mu kizibu kye wabula okulyako ebibye.

Yasalawo okugenda ew'omulubaale Bijodolo. Gweyali amanyi nga talina kimulema wabula yalina kuyita
mu kibira bwatyo aba ali mu kyererezi mu kibira we yagwira ku Nnalulungi eyamusuubiza ensi n’eggulu
era nakola n’ebintu bingi ebyewuunyisa ebyatengula Ssemitego omutima n'ayagala amwewasize
okugeza okufuusa ssente empitirivu, ebikomo ebyazaabu n’ekikooti ekinyirivu.

Nalulungi ono (Nantabonekaboneka) yateerawo Ssemitgo akakkwakkulizo kamu kokka akaali kajja
okusobozesa okumuwasa n’okwefunira ebirungi ebitagambika awamu n’okuwona ekizibu kye eky’obwa
Ssekibotte. Yamusaba agende atte mukyala we (Nnalongo) kuba ye alina obuggya ekintu ekyalabika nga
kizibu eri Ssemitego. Ogwokubiri yamusaba agende amusaleko ebbere erimu alimuwe ekyo

Nakyo kyakaluubirira Ssemitego.

Mukulemererwa ennyo lubaale ono omukazi (Nantabonekaboneka) yagamba Ssemitego agende


aleeteamabeere gombi era bwegutyo Ssemitego yakka ku Nnaalongowe n'amusalako amabeere
n'agatwala mu kibira. Ebyembiemizimugyamusekereraeranegimwewuunyaolw'obutassaamubuwangwa
kitiibwa n'okwesiba ku Nnantabonekaboneka songa ye yali mpewo.

Omuzannyo gufundikira Ssemitego adibye n'amabeere geanti yatta mukyala we ate ne Nnalulungi gwe
yali aluubirirateyamufuna. Amaliriza aswadde mu maaso g'abaana be ne mug'ekyalo omuntu eyali
ow'amaanyi ng'ayenjebuse.

OBUKODYO/OBUKUGU BW'OMUWANDIISI

Mercy Mirembe obutayawukanakon'abawandiisi b'emizannyoabalala, alina ebintu bingi by'ateeka mu


muzannyo gweokusobola okugufuula omunyuvu awamu n'okugwagazisaabantu okugusoma. Kino nno
kimufudde omuyiiya omulungi.Buno bwe bukodyo obuli mu muzannyo.

• Omuzannyo agulondedde omutwe ogwa 'Ssemitegoomuyizzi Kkungwa'nga guno nno


gusunirako omusomiby'agenda okusoma we gutyo ne gumusikiriza
okusomaomuzannyo guno.
• Akubye ekifaananyi ku ddiba eky’omuwala omubalagavung'alin'omusajja akutte
effumun'obusaaleku mugongo kino kiwa omusomi okwefumiitiriza kuebyo ebiri
munda mu muzannyo.
• Omuwandiisi ateeka amannya ge ku ddiba n'ebyoebimukwatako kino kisikiriza
omusomi okusoman'okutegeera ensibuko y'ebyoby'awandiikabwatyo n'asobola
okugobererea obulungi omuzannyo n’okugutegeera.
• Mu kitabo kye awandiikamu omuzannyo mu bufunze nga tannagulambulula kino
kisobozesaokusikirizibwa okugusoma okusobola okutegera ebigulimu mu bufunze.
• Omuzannyo agukutuddemu ebitundu ebyenjawulo awamu n’ebiragibwanga bino
biyambaomusomi okufuna obubaka obwenjawulo awamu n'okuwummulamu
okusobola okwefumiitiriza ku by'asomye ebitundu by'omuzannyo biri bisatu (3).
• Omuzannyo aguteekamu abazannyi batono ddala ekintu ekiyamba omusomi
obutabuzibwabuzibwa awamu n’okugoberera obulungi omuzannyo anti
nnakamwantette bali mukaaga (6).
• Omuzannyo gwe aguwadde endagiriro ku buli kitundu n'ebiragibwa
ebyenjawuloekintu ekiyamba omusomi okugoberera obulungi awamu n’okutegeera
ebyo by'asoma ng'afuna ekifaananyi ekituufu.
• Omuwandiisi awandiika ku bulamu obwa bulijjo ekintu ekiyamba omusomi okufuna
obubaka awamu n’okutegeera obulungi omuzannyo okugeza omululu gw'ebyenfuna
awamu n’okweyagaliza nga Ssemitego bye yalina ebyamuttisa mukyala we.
• Omuzannyo gwe aguzimbidde ku miramwa egyenjawulo egiyamba omuntu okufuna
obubaka obwenjawulo okugeza, omukwano, (Ssemitego gwe yalina eri abantu be),
okwagala ensimbi (Ssemitego atta mukyala afune Nnalulungi alina ssente).
• Aguzimbidde ku nnimi ezenjawulo zino zongeraokugufuula omunyuvu okugeza mulimu
olugandaawamu n'olunyankole okugeza akayimba Ssemitegoke yayimbira
Nnantabonekaboneka ng'agaanye okujjaokumweyoleka.
• Omuzannyo gwe agutaddemu ennyimba ezenjawuloeziyamba okugunyumisa awamu
n'okutuusa obubakaeri omusomi okugeza, "Nnanta, Nnanta, omumbejja w’ekiro",
"Yamusanga anaaba" n'endala.
• Omuzannyo gulimu ebitontome ebyenjawulo ekintuekigufuula omunyuvu eri omusomi
okugeza "alwaddeekkwano".
• Omuzannyo gulimu obukuubagano obwenjawulo ngabuno butonda ekifaananyi
ky'obulamu obwa bulijjoawamu n'okuyamba omuwandiisi okufuna
obubakang'asinziira ku nsibuko yaabwo okugeza aka Ssemitegone Nnaalongo we,
Nnataboneboneka ne Ssemitegon'obulala.
• Mu Muzannyo mulimu obunkenke ekintu ekiwa abantuamaanyi okwongera okusoma
omuzannyo awamun’okugutegeera obulungi okugeza Ssemitego ng'ali mumbuga ya
Nnantabonekaboneka.
• Omuzannyo gwe gulimu obwenkanya kubangaasasula abakoze obulungi kyokka
n'abakoze obubin'ababonereza okugeza Ssemitego adiba n'amabeere gamukyala we
oluvannyuma lw'okumutta.
• Omuzannyo gwe aguzimbidde ku byobuwangwaeby'enjawulo ekintu ekiyamba
omusomi okumanyaobukulu bw'obuwangwa buno okugeza obukulu bwalubaale
n'emizimu.
• Abasomi/Abalabi be abakakkanyaemitimaantibwabuto n'abaana be era ne
basang'amaliriza omuzannyo Ssemitego amuzzaamu endasi bw'atyo
n'akwataganaokutandika obulamu obuggya.

EBY'OKUYIGA MU MUZANNYO

Omuntu yenna eyekwata omuzannyo guno ogwa Ssemitego omuyizzi kkungwa afuna obubaka bungi era
tasigala kye kimu mu bulamu bwe. buno bwe bubaka omuwandiisi bw'atutuusaako;

• Okulabirira amaka gaffe okugeza Ssemitego yagendanga n’ayiggira ab’enju ye


omunyama era nga bagulya mu bungi.
• Omuwandiisi atuyigiriza okubeera abakozi okugeza Ssemitego yali muyizzi kkungwa
ate nga n'ewaka waabwe balimi nga Nnaalongo alima emmere gye balya
• Okwewala okulimbibwalimbibwa nga ssaalongo bwe yalimbwa Nnantabonekaboneka
nti ye yali ensibuko y'ebyo bye yeetaaga kyokka natabimuwa.
• Okumatira n'ebyo byetulina ne tutalulunkanira bya bugagga awamu n’ensimbi bye
tutakoleredde nga Ssaalongo bwe yayagala okufuna ebirungi yamaliriza asse mukyala
we.
• Okussaamu ennono n’obuwangwa bwaffe ekitiibwa okusobola okufuna emirembe so
si kubeera nga Ssemitego eyayagala okuwasa Lubaale omukazi ate aba lubaale
tebawasibwa bantu.
• Okubeera abeesigwa eri abaagalwa baffe kubanga singaSsaalongo yali mwesigwa eri
Nnaalongo teyandisazeewokuwasa mukyala mulala ate eyamuviirako obuzibu.
• Okusonyiwa abo ababa bakoze obubi okugeza Babiryeasonyiwa kitaawe oluvannyuma
lw'okutta nnyabwen'amulekera ekitiibwa kya taata.
• Omuwandiisi atuyigiriza okubeera abanjulukufu eraabamazima eri abantu baffe si
kubeera nga Ssemitegogwe baabuuza ekyali kimutuuseeko ng'alimba nti
yalimulwadde.
• Omuwandiisi atukubiriza okwegendereza abalaguzibetugendako okutuwonya kubanga
abamu benoonyezabyabwe okugeza Ssemitego buli lwe yagendanga ewaJjajja Kiviiri
ng'amusaba ebintu nkumu kyokka ngatamuvumula.
• Okwewalaokutemulaabalalanga tugendereraokutuukiriza ebigendererwa byaffe
okugeza Ssemitegoasalako mukyala we amabeere olw'okwagala ebyenfunaate era
n’ataganyulwamu.
• Omuzannyo gutuyigiriza okwewala okwewaanira kubalala awamu n’okukuddaala
kubanga bikwata n'abaanabe tuzaala okugeza Ssemitego yeewaananga engeri
gyaliomuyizzi kkungwa era nga n'abaana be bwe batayinzakujula kanyama ekintu
ekyakwata n’abaana be.
• Tuyigamu okuwulira bazadde baffe si kubeera ngaNnantabonekaboneka ne baganda
be abewaggula kukitaabwe eyali ayagala beeyise kimbejja.
• Tuyigamu okwewala obuggya kubanga buyinzaokutuviirako okutuusa abalala ku
buzibu okugezaNnantabonekaboneka yali ayagala kubeera yekkaSsemitego kwe
kumulagira ate mukyala we.

EKIFAANANYI KY'OMUWANDIISI MU MUZANNYO

Bw'osoma omuzahnyo guno gukuwa bulungi ekifaananyi ky'omuwandiisi waagwo nga


gukulaga bye yettanira awamu n'ebyo byakyawa. Eno y'engeri omuzannyo gye gutuloopera
omuwandiisi waago.

• Munnakatemba mukyala munnakatemba kubanga atuteera ebikolwa ebya katemba


mu muzannyo gwe okugeza obunkenke nga Ssemitego agasimbaganye ne
Nnantabonekaboneka.
• Mukyala muyivu kubanga wadde ng'omuzannyo gwesigamye nnyo ku buwangwa naye
tekimulobera kuteekamu bagenda ku ssomero okugeza Babirye neKato baagendanga
ku ssomero.
• Omuwandiisi mukyala munnabyabuwangwa kubanga omuzannyo gwe agwetolooleza
ku buwangwa okugeza okulagula, obukulu bwa balubaale.
• Mercy mirembe mukyala amanyi okutontoma kubanga mu muzannyo gwe ataddemu
ebitontome ebyenjawulo ebigunyumisa okugeza Ssemitego atontoma ekitontor"Bwe
Nnamugwikiriza".
• Omuwandiisi ayagala okuyimba kubanga omuzannyo gujudde ennyimba ez'enjawulo
ezifuula omuzannyookuba omunyuvu okugeza Bannange onjagaza ki? Luluyimbibwa
Ssemitego.
• Omuwandiisi akyawa abantu abaagala okwekkusa bokka n’okwagala ebirungi kuba
akimanyi nga biviirako obuzibu okugeza Ssemitego olw'okwagala ebyenfunaafuna
obuzibu.
• Omuzannyo gutwoleka omuwandiisiokusinziira ku ngeri gy'atulaga Ssalongo ne
Nnalongonga bafaayo eri abaana baabwe nga babatwala ne mussomero.
• Alina omukwano okusinziira ku kkwano ly'azimbawakati wa Nnalongo ne Ssalongo ku
ntandikwa era lyebalaga n'abaana baabwe.
• Omutontomi amanyi ennimi ez'enjawulo kubangaomuzannyo we gulimu n'ennimi
endala okugezaolulimi Ssemitego lwayimbiramu Nantabonekaboneka
(Nnyakimbulimbuli kyange, kwokwija kanyaanya).

ABAGANYULWA/B’AWANDIIKIRA MU MUZANNYO

Omuzannyo "Ssemitego Omuyizzi Kkungwa" gulina abantuab'enjawulo omuwandiisi beyaguwandiikira


era be banowammanga;

• Abazadde; bano bayiga okulabirira obulungi abaanabaabwe nga Ssalongo ne Nnalongo


bwe baalabiriraabalongo baabwe ne babatwala ku ssomero.
• Abafumbo; bayigaokwesigannanaawamun’okwagalanabaleme kwenyigira mu bwenzi
kubanga singa Ssemitegoyeekuumira ku mukyala we teyandituuse ku buzibu
bweyafuna.
• Abayizzi; omuwandiisi ayagala bafune obubakaobw'okwegendereza ebyo bye basanga
ku ttale na ddalaebyokoola kuba biyinza okubatuusaako obuzibu ngaSsemitego bwe
yagwan mu butego bwabwe.
• Abaana; omuwandiisi abakubiriza okuwa bazadde baabwe ekitiibwa awamu
n'okubasonyiwa singa baba basobezza. Okugeza Babirye asonyiwa kitaawe obbesu
oluvannyuma lw'okutta nnyina.
• Abakyala; omuwandiisi abayigiriza okussa mu babba babwe ekitiibwa n'okubalabirira
nga Nnaalongo bwe yakolanga Ssemitego ng'amutegekera ng'agenda okuyigga.

• Abalaguzi; bano bwe basoma omuzannyo guno bayamba okubeera ab'amazima


n'obutasaba bintu bya kumukumunaddala ku ndwadde ze batayinza okugeza jjajja
Kiviirieyasaba Ssemitego ebintu ebingi kyokka n’atamuwonya
• Bannabyabuwangwa; naddala abo abakongojja balubaale bayiga okwessaamu
ekitiibwa awamu n'okugoberera ebiragiro ebyabaweebwa
sikubeeraNnantabonekaboneka eyali yewaggula ku kitaawe.

OBULAMU OBWA BULIJJO OBULI MU MUZANNYO

Omuntu asoma/alaba omuzannyo guno asobola okugutegera obulungi kubanga ebyo ebigulimu bye
bigenda mu muzannyo ensangi zino era buno bwe bulamu obwabulijjo obweyolekedde mu muzannyo;

• Ettemu eryeyolekera mu muzannyo liri ne mu bulamu bulijjo okugeza Ssemitego


atemula mukyala webwe yamusalako amabeere.
• Okufuna ebyobugagga okuvaku byokoolanga Ssemitgo bwe yabuggya ku
Nnantabonekaboneka n’ensangi zino abantu babyettanira nnyo basobole okufuna
obugagga
• Okwagala ssente ezamangu ezitali nkolerere nga bwekiri mu muzannyo n'ensangi zino
abantu baagala okufunabye batakoleredde okugeza Ssemitego ayagala
okufunaobugaggaobw'amangu.
• Okwenyigira mu mirimu gy'obuwangwa okugezaokuyigga okuli mu muzannyo ne mu
bulamu obwabulijjobwe guli.
• Okukweka ebyama mu maka nga bwe guli ku Ssemitegookugaana okubuulira mukyala
we engeri gye yafunamussente n'ensangi zino abantu tebaagala kwogera nsibukoya
bugagga baabwe.
• Okusomeka abaana nga bwekiri mu muzannyo n’ensangizino abazadde baweerera
abaana baabwe okugezaSsaalongo aweerera abalongo be (Babirye ne Kato).
• Okwettanira abalubaale okuvumula endwadde n’ebizibuebiruma abantu nga
Ssemitego bwe yagenda mu balaguziab’enjawulo n’obulamu obwa bulijjo bwe guli.
• Okutwala ebintu by'abantu kyokka ate ne batavumulwanga jjajja Kiviiri asaba
ssemitego ebintu bingi nayeng'amulimbalimba kino ne mu bulamu obwabulijjoabantu
balya ssente z'abantu ate ne batayambibwa.

EBYOBUWANGWA EBIRI MU MUZANNYO

Omuwandiisi womuzannyo guno mukyala munnabyabuwangwa era ebyobuwangwa tabisuula muguluka


mu muzannyo gwe. Bino bye by’obuwangwa ebiri.

• Omuzannyo guzimbiddwa ku mirimu gy'Abagandaegy’obuwangwa emikukuutivu


okugeza, okuyigga antiSsemitego musajja muyizzi kkungwa era abantu beabaliisa
ennyama eka.
• Obukulu bw'emizimu ne ba lubaale era omuwandiisi alaga nga bwe girina amaanyi
ag'enjawulo okugeza Nnantabonekaboneka afuusa ssente awamu n'ebikomo ebya
zzaabu.
• Mu muzannyo mulimu obufumbo okugeza obwa Nnaalongo ne Ssaalongo ate nga
batambuza bulungi amaka ge ngabuli omu atuukiriza obuvunaanyizibwe.
• Omuzannyo gwe gutwoleka obukulu bw’ennyimba mu buwangwa okugeza
Nnantabonekaboneka agamba nti okuyimba kumuwummuza ebirowoozo era yayimba
Ssemitego oluyimba olunyuvu.
• Ebitontome ebyeyolekedde mu lugero nabyo by'oleka obuwangwa bw'Abaganda anti
okutontoma kutwalibwa nga kukulu awamu n’okuyisaamu obubaka obwenjawulo
okugeza Ssemitego atontomera Nnantabonekaboneka.
• Mu muzannyo mulimu okweyanjula awamu n’okulanya ate nga kye kimu ku
by'obuwangwa bw'Abaganda okugeza Nnantabonekaboneka yeeyanjulira
Ssemitegn'amubuulira ebimukwatako (Pg. 27). Ssemitego naye alanya (obujjajja bwe
(pg 52).
• Olulimi omuwandiisi lw'akozesa olw'ebisoko n'enono nalwo lutwoleka obuwangwa
bw’Abaganda nga bwe buteereddwa ku mwanjo.

• Okujjanjaba edwadde zekinnansi awamu n’okulagulwa birabikidde mu muzannyo ate


nga bikulu mu buwangwa bw'Abaganda okugeza omuwandiisi ayogera ku jjajja
Bijoddolo agaba ssente, Jjajja Nnaalongo awamu ne Jjajja Kiviiri eyasawulanga
Ssemitego.
• Enkuza awamu n'ennunjula y'abaana okugeza Ssaalongone Nnaalongo baayigirizanga
abaana baabwe empisa.
• Omuwandiisi ayogera ku mutwalo ogusasulwa okusobola okufuna omukyala omutwale
mu bufumbo okugeza Nnaalongo bwe yamanya nga Ssaalongoafunye omukazi omulala
mubuuza oba ng’omutwaloogwa musalirwa gwe gwali gumweralikiriza.
• Okukungubagira omuntu afudde okugeza Ssemitegon'abaana be Babirye ne Kato
bakungubagira nnyabwe, ng’afudde.

OBUKUUBAGANO MU MUZANNYO GUNO

Omuwandiisi atuzimbira obukuubagano mu muzannyo gweng'akamu ku kakodyo ak'okutuusa obubaka


eri omusomi weera buno bwe bukuubagano obulimu.
• Nnaalongo ne Ssaalongo Ssemitego nga kano kasibukaku Ssaalongo okufuna omukyala
omulala awamune Nnaalongo okukwata ku ssente za Ssemitegon’amubuuza gye
yaziggye.
• Ssaalongo n’abalongo be (Babirye ne Kato). Kano kavaku nsonga y'abaana bano okuva
ku ssomero ne basanganga kitaabwe asse nnyabwe.
• Ssemitego ne Nnantabonekaboneka kano ensibukoyaako eva ku Nnantabonekaboneka
okuwalirizaSsemitego atte mukyala we ng'amusalako amabeerekyokka n’amwefuulira
n'agaana okumufumbirwa.
• Nnantabonekaboneka ne kitaawe nga kano kava kuNnantabonekaboneka
okwewaggula ku kitaawe eyaliayagala yeeyise kimbejja kyokka nga ye
tabyagalabw'atyo n'amuddukako.
• Kakwitsi ne Ssemitego akakuubagano kano kavaSşemitego okusiba mukyala we
ng'ayagala okuva ku akabwa ne kamuboggolera n'obukambwe wabula ye n'akakuba
omusambaggere.
• Ssemitego ne jjajja Kiviiri kano nga kasibuka ku jiajja Kiviiri okusabanga Ssemitego
ebintu ebingi kyokka n'atamuvumula na ndwadde eyali emuluma.
• Ssemitego ne jjajja Musota ono nga yamuwuusa ssupu w'emisota buli lunaku ate
n'atawona.

OBUKULU BW’OBUKUUBAGANO MU MUZANNYO

Omuwandiisi yeeyambisa obukuubagano olw’ensonga zino wammanga.

• Agendereramu okuzimba awamu n'okukulaakulanya omuzannyo gwe abasomi


be basobola okugutegeera obulungi.
• Obukuubagano butonda/busiiga ebifaananyi mu muzannyo ekiyamba mu
kwefumiitiriza okugeza aka Ssemitego ne Kakwitsi nga Ssemitego agenda kutta
mukyala we.
• Obukuubagano bugendererwamu okuzimba obulamu obwa bulijjo mu
mkuzannyo okugeza aka Ssemitego ne jjajja Kiviiri kava ku bwakumpanya bwa
Kiviiri okusaba ssemitego ekintu ekiri mu bulamu obwa bulijjo.
• Obukuubagano mu muzannyo butonda eby'okuyiga bingikubanga ebyo
ebisibukako obukuubagano omusomi asaana abyewale okugeza tusaana
okwewala okwewaggula ku bazadde baffe kuba kiviirako
Nnantabonekaboneka okukuubagana ne kitaawe.
• Obukuubagano buno buyamba okuzimba katemba mumuzannyo
n'okugunyumisa okugeza akakuubaganowakati wa Kakwitsi ne Ssemitego
k'oleka katemba.
• Obukuubagano bw'oleka obukugu bw'omuwandiisi mukuyiiya emizannyo anti
buyamba omusomi okutegeeraawamu n'okugoberera obulungi omuzannyo.
• Obukuubagano bukulu mu muzannyo kubanga butondaobunkenke mu
muzannyo bwe kityo ne kiwalirizaomusomi okugenda mu maaso ng'asoma
omuzannyo.Okugeza aka Nnantabonekaboneka ne Ssemitego ngaSsemitego
amaze okutta mukyala we (Nnaalongo).
• Mu bukuubagano obuli mu muzannyo omuwandiisiazimbiramu emiramwa
egyenjawulo omuzannyo kwegutambulira okugeza aka Nnaalongo ne
Ssaalongokaggyayo omulamwa ogw'ettemu.

OBUBAKA OBW’ENJAWULO OKUVA MU BUKUUBAGANO

Mercy Mirembe bwe yateeka obukuubagano mu muzannyogwe yagenderera okuwa omusomi we


ebyokuyiga ebyenjawuloera bye bino.

• Okubeera abeesigwa eri abaagalwa baffe kubanga okusuula obwesigwa kiviirako


Nnaalongo okukuubagana ne Ssaalongo olw’okwagala okuganza
Nnantabonekaboneka.
• Okussa mu by'obuwangwa ekitiibwa si kubeera ngaSsemitego eyayagala okuganza
Lubaale omukozi (Nnantabonekaboneka) ekibaviirako okukuubagano.
• Okubeera abamazima eri abantu betukolagana nabone tutabeera nga
Nnantabonekaboneka eyawaliriza Ssemitego okusalako mukyala we amabeere kyokka
n'agaana okumufumbirwa.
• Okussaamu abatuzaala ekitiibwa awamun'okugoberera ebyo bye
batugambasikubeeranga Nnantabonekaboneka eyewaggula ku kitaawe ekibaviirako
okukuubagana.
• Okwewala okutemula abalala kubanga kino kituusa obulumi ku bantu ekibaviirako
okukuubagana okugeza Ssaalongo akuubagana n'abaana be olw'okutemula nnyabwe.
• Okwewala okusaba abantu ebintu ebingi ate ne tutabayamba mu buzibu bwabwe nga
jjajja kiviiri bwe yasabanga Ssemitego ebintu ebingi ekivirako okukuubagana.
• Okwewala okukweka abaagalwa baffe ebyama byaffe kuba eno nayo eba nsibuko ya
kakuubagano ka Nnaalongo ne Ssaalongo.

OBUBAKA OMUWANDIISI BW’ATUUSA ERI ABAFUMB0

Omuwandiisi w'omuzannyo guno ateeka obufumbo mumuzannyo gwe okusobola okutuusa obubaka
obwenjawulo eri abafumbo era bwe buno;

• Omuwandiisi abayigiriza okuweerera abaana baabwenga Ssaalongo ne Nnaalongo bwe


baaweerera abaanabaabwe.
• Okubeeraabeesigwaeriabaagalwabaabwe si kubeeranga Ssemitego eyasalawo
okuganza Nnantabonekaboneka ate nga yalina mukyala we.
• Abafumbo abakubiriza okukolerera amaka gaabwe basobole okubayimirizaawo
okugeza Ssemitego musajja mukozi ayiggira abantu be ennyama ne balya.
• Okussa ekitiibwa mu by’obuwangwa si kubeera nga Ssemitego eyasalawo okuganza
lubaale omukazi (Nnantabonekaboneka) eyamuviirako obuzibu.
• Abafumbo bayiga okubeera abeerufu eri abaagalwa baabwe nga babategeeza ebiba
bibatuuseeko si kubeera nga Ssemitego eyalimba nga mukyala nti yali mulwadde so
nga yalina ebimweraliikiriza.
• OkwewalaokuyombaganasosiSsaalongoeyayombagana ne Nnaalongo oluvannyuma
lwa Nnaalongo okukizuula nti Ssaalongo alina omukyala omulala bw'atyo Ssaalongo
n'atandika okumumuwaanira.
• Okwewala okutemula abaagalwa baabwe kubanga bafunye ababeezi abalala okugeza
Ssemitego atta mukyala we ate ne Nnantabonekaboneka n'agaana okumufumbirwa.
• Okubeera abagumiikiriza nga Nalongo bwe yagumiikiriza lw'okutomerwa embogo
n'afuuka ssekibotte, naye ye n’asigala ng’abeera naye.
• Okwewala okufuna eby'obugagga mu makulo amakyamu wabula bamatire ne
kyebalinawo okugezaSsemitego ayagala okufuna ssente empitirivu wabulaamaliriza
asse mukyala we.
• Okuteekawo okwagalana maka mu awamu n’okuwaŋŋana ekitiibwa nga bwe gwali mu
maka ga Ssemitego mu kusooka anti bassaŋŋanangamu ekitiibwa okuviira ddala ku
muto.

EBIZIBU EBIRI MU KWAGALA SSENTE/EBYOBUGGAGA

Ez'amangu/ez’ekimpatiira

Omuwandiisi w'omuzannyo guno atwoleka engeri abantu gye balina omululu gw'ebyenfuna era bwe
gutyo ne batuuka n'okuzinoonyeza mu makubo amakyamu okugeza okugenda ku balubaale. Bino
by'ebizibu ebifumbekedde mumululu.

• Okweraliikirira buli kissera awamu nokubulwa emirembe okugeza Ssemitego bwe


yamala okufuna ssente ezo teyaddamu kufuna mirembe nate yabeerangyefuula
mulwadde buli kiseera.
• Ebyobugagga bino biviirako abantu okukola endagaano n'emizimu/lubaale ate nga
endagaano zino zibaako obukwakkulizo obuzibu ddala okugeza Ssemitego
bweyakwatagana ne Nnantabonekaboneka yamusaba okutta mukyala we asobole
okumuwa buli ky'ayagala.
• Biviirako okusasika kw'amaka anti omuntu afuna ebyobugagga ebyo akyuka mu
nneeyisa awamu n'ebirowoozo bye okugeza Ssemitego yatandika okukambuwalira
mukyala we oluvannyuma lw’okufuna ssente.
• Eby'obugagga bino biviirako ettemu okugeza Ssemitego atta mukyala we oluvannyuma
lwa Nnantabonekabonekaokumugambaamuleetereamabeere gombi amufumbirwe.
• Okukyawagana mu maka awamu n'obutakolagana okugeza abaana ba Ssaalongo (Kato
ne Babirye bakyawa kitaabwe oluvannyuma lw’okutta nnyabwe.
• Okufuuka ekyokusekererwa naddala singa obugagga obwo bubeera bukwefuulidde
okugeza Ssemitego embeera emutabukako oluvannyuma lw'okusigazaamabeere ga
mukyala we mu ngalo.
• Okusuulawo emirimu egituviirako ettuttumu okugezaSsemitego alekerawo okuyigga
n'atuuka n'okunoonyaennyama ewaka nga tagiraba wabula nga yesigulira kubugagga
bwa Nnantabonekaboneka.
• Okwagala obugagga buno bukuviirako okwonoonaebyobuwangwa okugeza Ssemitego
asalawo awaselubaale omukyala asobole okufuna ebyobugagga ekintųekyamuviirako
obuzibu.
• Obulumi awamun’obuswavu okugeza Ssemitegobweyamala okutta Nnaalongo we
yawulira obulumi kumutima wamu n'okuswala nga Nnantabonekabonekaamuyiye ate
ng’alina n’amabeere mu ngalo.

ENZIMBA Y'ABAKYALA MU MUZANNYO

Omuntu yenna asoma omuzannyo guno asobola okumanyaenneeyisa y'abakyala ng’asinziira ku abo
abali mu muzannyo. Abakyala mu muzannyo be bano Nnaalongo, Nnantabonekaboneka, awamu ne
Babirye era bazimbiddwabati;

• Bafumbo okugeza Nnaalongo mufumbo eri Ssaalongoera balina n’abaana baabwe be


balabirira obulungi.
• Bakozi okugeza Nnaalongo yalimanga emmere ewakaeyokuliisanga abaana be, ate era
yabalabiriranga.
• Balina obuggya okugeza Nnaalongo afuna obuggyaoluvannyuma lw’okumanya nga
Ssaalongo bwe yafunaomukyala omulala ate ne Nnantabonekaboneka agamba
Ssaalongo atte mukyala we kuba ye tafumba na mukazi muļala.
• Abakyala mu muzannyo bazimbiddwa nga batemu okugeza Nnantabonekaboneka
agamba Ssemitego,ate mukyala we olwo lw’ajja okusobola okubeera naye.
• Balina omukwano okugeza Nnaalongo afuba okulaba wadde nga ye yamwefuulira.
• Babuvunaanyizibwa okugeza Nnaalongo ategekeraabaana be emmere nga bagenda ku
ssomero kyokka ne bba yamusibiranga ennyama awamu n'amenvu ng’agenda
okuyigga.
• Bamanyi okuyimba okugeza Nnantabonekaboneka yayimbira Ssemitego oluyimba
olwamumalaamagezi nga lunyuvu ebitagambika olwamusikiriza.
• Omuwandiisi abazimbye nga bayombi okugeza Nnalongo ayombesa oluvannyuma

Lw’okumanya nti alina omukyala omulala.

• Bazimbiddwa nga bakyewaggula okugeza Nnantabonekaboneka yewaggula ku kitaawe


eyali ayagala beeyise kimbejja ate nga ye tabyagala.
• Abakyala balimba okugeza Nnantabonekabonekaasuubiza okufumbirwa Ssemitego
ng'amaze okuttamukyala we kyokka n’amulekawo.
• Bazimbiddwa nga y'ensibuko y'ebizibu mu bulamubw'abantu okugeza Nnanta
yaviirako Ssemitegookutuuka ku ebyo byonna bye yatuukako.
• Bamanyi okusikiriza awamu n'okumatiza abalala okugeza Nnantabonekaboneka
amatiza Ssemitego ngabwe yali agenda okumufuula omugagga fugge
awamun'okumuwonya obwa ssekibotte.
• Bassa mu byobuwangwa ekitiibwa okugeza Nanatabonekaboneka avumirira Ssemitego
olw'obutassaamu byabuwangwa na nnono ze kitiibwang'ayagala okumuwasa.
• Bamanyi okusonyiwa ababakoze obubi okugeza Babiryeagamba Kato basonyiwe
kitaabwe olw'okutta nnyabwe.
• Bazimbiddwa nga balungi mu ndabika okugezaNnantabonekaboneka mukyala mulungi
era kyeyavaasikiriza ne Ssemitego n'atuuka n’okutta mukyala we.
• Balina amaanyi agenjawulo okugeza Nnantabonekaboneka yafuusa ssente awamu
n'ebikomoebya zzaabu ekintu ekyasamaaliriza ennyo Ssemitego.
• Bagumiikiriza okugeza Nnaalongo agumiikiriza okubeera ne Ssaalongo wadde nga yali
ssekibotte antiembogo yali yamutomera.

EBIFUULA EKIWANDIIKO KINO OKUBEERA OMUZANNYO

Omuntu yenna bw’asoma omuzannyo guno akakasiza ddalanti muzannyo era bino wammanga bye
bigufuula okubeeraomuzannyo;

• Omuwandiisi aguwadde omutwe ogwa Ssemitego omuyizzi Kkungwa ate nga


gukwatagana bulungi n'ebyo ebirimu ekimu ku bintu ebitwoleka nga muzannyo.
• Agutaddemu ebitundu ebyenjawulo bisatu nga bino bireeta obubaka obwenjawulo
nekukyusa siteegi. .
• Omuzannyo aguteeka mu nfo ez’enjawulo ekyongera okutulaga nti ddala muzannyo
okugeza mu kyererezi mu kibira wakati, mu massekkati g’ekibira n’enfo endala kino
kigufuula munyuvu.
• Ekiwandiiko kirimu abantu abawanyisa amaloboozi obuteerevu ekintu ekinnyikiza nti
guno muzannyo okugeza Babirye, Kato, Nnaalongon’abalala
• Ekiwandiiko kirimu obukuubagano obuyamba okuzimbaemiramwa awamu ne katemba
ekintu ekiraga nti ddala guno muzannyo oguwedde engalo.
• Kirimu obunkenke era nga buno nabwo butulaga nga ddala guno muzannyo okugeza
Ssemitego ng’ali mu maaso ga Nnantabonekaboneka buli musomi omutima
gumwewanika.
• Ekiwandiiko kirimu ebiragibwa ebyenjawulo ekintu ekikakasa nga ddala muzannyo
okugeza mu kitundu ekisooka mulimu ebiragibwa bisatu nga byonna bireeta obubaka
obwenjawulo.
• Ekiwandiikoakitaddemuennyimbaawamun’ebitontomeebyongera okuzimba katemba
mu kyo olwo ne kikakasanga ddala muzannyo.
• Mulimu endagiriro ezigobererwa ekintu ekisangibwamu mizannyo okugeza “nga
yeegayirira alaga kitaaweeggumba".
• Mu kiwandiiko mulimu ebikolwa bya katemba bingiekikifuula okuba omuzannyo.
• Abantu tebaweebwa kwogera bingi okuggyako abatonoennyo.

OBUBAKA OMUWANDIISI BW’ATUUSA ERI ABAAMI

Omuzannyo "Ssemitego Omuyizzi Kkungwa" gutuusa obubaka eri abantu ab'enjawulo era nga muno
mwe muli abaami era buno bwe bubaka bw'abasibirira

• Okubeera abakozi nga Ssemitego bweyali n’asobola okuyiggira ab’amaka ge ennyama


ne bagirya ne bamatira.
• Okuweerera abaana baabwe okugeza abalongo ba Ssemitego yabatwala ku ssomero
era ng’abawa ebyetaago.
• Okulagaababeezibaabwe omukwanookugeza Ssemitego yalaga Nnaalongo we
omukwano ng’amulabirira awamu n’abaana be.
• Okwewala okulimbibwalimbibwa abakyala ne batuuka n’okubasaba ebintu ebizibu
okugeza Ssemitego alimbibwalimbibwa Nnantabonekaboneka.
• Okwewala okwagala ebyobugagga ebitali bikolerere kubanga biviirako obuzibu
obwenjawulo okugeza Ssemitego yayagala okufuna ebyobugagga yamaliriza afiiriddwa
omukazi.
• Omuwandiisi akubiriza abasajja okumatira ne kye balina kubanga singa Ssemitego
yamatira ne mukyala we n’ateegomba lubaale omukazi yandibadde bulungi nga bwe
yali mu kusooka.
• Okussaamu obuwangwa ekitiibwa si kubeera nga Ssemitego eyayagala okuganza
lubaale omukyala (Nnantabonekaboneka) n'amala n'afuna obuzibu.
• Omuwandiisi ayagala abasajja okuguma n’okuddamu amaanyi ne bwe baba bagudde
mu buzibu okugeza Ssemitego yamala ne yeegumya n'addamu okutandika obulamu
obuggya.
• Okwewola okutemula abalala na ddala singa baba balina kye betaaga si kubeera nga
Ssemitego eyatta mukyala we asobole okufuna nnalulungi.
• Okubeera n'ekisa eri abalala si kubeera nga Ssemitego eyasanjaga mukyala we nga
tamukwatiddwa kisa wadde nga yali amuwanjagira.

OLULIMI OMUWANDIISI LWE YEEYAMBISA OKUFUULA OMUZANNYO GWE OMUNYUVU

Mercy Mirembe yeeyambisa olukiiko olwenjawulo mu muzannyo gwe okusobola okugufuula omunyuvu
awamu n'okutuusa obubaka eri omusomi we. Zino z’ennimi eziri mu muzannyo;

• Omuwandiisi yeeyambisa olulimi olunnyonnyozi anti anyonnyla ebyo ebyaliwo nga


Ssemitego asisinkana ne Nnantabonekaboneka luno luyamba omusomi okugoberera
obulungi n’okutegeera.
• Omuwandiisi yeeyambisa olulimi olwabulijjo olwangu kubanga by'awandika
bitegeerekeka bulungi olulimi si luzibu kino kiyamba omusomi okufuna obulungi
obubaka.
• Omuwandiisi yeeyambisa olulimi olugeraageranya okugeza mu luyimba “yamusanga
anaaba" mulimu okugeraageranya "Ggwe ani? Ayaka ng'enjuba mu ttale". "“Amyansa
ng’enjuba mu ttale". Amyansa ng'eggulu mu bire.
• Olulimi olukubi lw'ebifaananyi nga luno luyamba omusomi kwefumiitiriza ku
byebasoma okugeza Ssemitego alweyambisa ng’ali ne Nnantabonekaboneka bwe
yamutonera amenvu ne mu bifo ebirala “ng'akuleete nga kutonere olyoke omanye nti
wakati w'omutima gwange nkuteereddewo Namulondo nga yiyo bw'omu
Kw’onokkaliranga
• Olulimi olubuulirira nga luyamba omusomi okufuna obubaka obw'enjawulo okugeza
Nnanta alweyambisa okubuulirira Ssemitego ayige okussa mu by'obuwa ekitiibwa
awamu n'ennono.
• Omuwandiisi yeeyambisa olulimi olw'ennaku olutonda embeera mu muzannyo
okugeza Ssemitego Iweyeeyambisa oluvannyuma lw'okutta mukyala we ate
n'omukyala n’omukyala n'amwabulira.
• Olulimi olw'essanyu okugeza Ssemitego lwe yeeyambisang'alabye ku
Nnantabonekaboneka.
• Omuwandiisi yeeyambisa olulimi oluwaana luno Ssemitego alukozesa okuwaana
Nnantabonekaboneka nga bwali omulungi kalaala.
• Olulimi olubalaata okugeza Nnantabonekaboneka lweyeeyambisa ng'ali ne Ssemitego
“vvaawo naawe sanyukako bambi tonyiiga..."
• Omuwandiisi yeeyambisa olulimi olwewaana nga Ssemitego lw'akozesa bwe
yewaanira ku Nnanta nga bw'ajja okulwana ne Kitaawe asobole okumutaasa.

ENZIMBA Y’ABANTU MU MUZANNYO

Omuzannyo gulimu abantu ab’enjawulo era omuwandiisi abazimbye mu ngeri ez'enjawulo. Abazannyi
abali mu muzannyo be bano; Ssemitego- Kato ne Babirye- Nnantabonekaboneka - Nnaalongo

SSEMITEGO

• Ono ye muntu omukulu omuzannyo kwe gutambulira


• Azımbiddwa nga muyizzi ow'amaanyi era abantu be yabaleeteranga ennyama ne
bagirya ne bagiggwa enyalwe.
• Azimbiddwa nga mufumbo alina omukyala n’abaana.
• Musajja mukozi kubanga yafuba okukolerera abantu be.
• Mukambwe kubanga akambuwalira Nnanta oluvannyuma lw'okuleeta amabeere ate
ye n’alemerayo.
• Azimbiddwa ng’alina omukwano anti afuba okugulaga Nnanta ng’amuwaana.
• Musajja muyimbi kubanga yasobola okuyimbira Nanta oluyimba ng'amulaajanira ajje
gyali.
• Ssemitego azimbiddwa ng'alina omululu gw'ebyenfuna anti yalemera ku Nanta
kubanga yali ayagala okufuna obugagga.
• Mutitiizi kubanga Nnanta amutiisatiisa era n'amulagira agende ate mukyala we naye
n’akikola.
• Musajja mu malirivu okugeza amalirira okuwasa Nnanta wadde nga yamugamba nga
kitaawe bw'ali omukambwe.
• Mutontomi.
• Mutemu anti atta mukyala we.
• Talina kisa kubanga atta mukyala we n'atasaasira baana be.
• Tassa mu baliraanwa wa kitiibwa.

Nnantabonekaboneka

• Guno gwe muzimu/omusambwa omukazi Ssemitego gwe yasanga mu kibira.


• Alina obuggya anti agamba Ssaalongo nti okusobola okumufumbirwa alina okutta
mukyala we.
• Azimbiddwa nga mukyala mulungi kalaala eyeegombebwa buli omu ekyamuviirako
okuganzibwa Ssemitego.
• Alina amaanyi ag'enjawulo kubanga yasobola okufuusan'amulemesa okugenda e
Kamirabigambo gye yali agenda n'ebikomo ebyasikiriza Ssemitegon’amulemesa
okugenda e Kamirabigambo gye yali agenda n’amwesigalisa.
• Omuwandiisi amuzimbye nga mulimba kubanga yasuubiiza Ssemitego okumufumbirwa
ng’amaze okutta mukyala we kyokka bwe yakikola yamusekerera busekerezi.
• Mukyala muyimbi mulungi anti ayimbiramu Ssemitego
ekintuekyamuleeteraokusikirizibwaawamun'okumwagala
• Azimbiddwa nga mugezigezi kubanga yasobola okuggyako Ssemitego ebintu byonna
ebyokuyigga omuli obusaale n'amafumu ng’amusalira olukujjukujju.
• Omuwandiisi omuzimbye nga kyewagula era tassaamu bantu bakulu kitiibwa okugeza
yewaggula ku kitaawe ng’amaze okwagala beyise kimbejja

Nnaalongo

• Ono ye mukyala wa Ssemitego gwe baasalako amabeera n'afa era azimbiddwa ati.
• Mukyala mukozi kubanga alina emmere y'amaka ge abaana be ne bafuna ekyokulya.
• Alina obuvunaanyizibwa anti ategekera bba emmere gy'agenda nayo okuyigga awamu
n'abaana bwe baba bagenda ku ssomero.
• Alina obuggya kubanga Ssemitego bwe yafuna omukyala omulala yayomba
n’amulangira n’obwa ssekibotte.
• Mukyala mugumiikiriza anti yasobola okusigala mu maka ge ne bba yadde nga bba yali
afuuse ssekibotte.
• Omuwandiisi amuzimbye nga muyonjo kubanga afuba okulongoosa ewaka we era
olumu Ssemitego yagenda okudda eka yamusanga alongosezza ng'aggycyo ne ssente
ze.
• Mukyala mukakkamu tayagala malala anti agamba bba alekere awo okuyigiriza abaana
okwewaana ng'ewaabwe bwe balya ennyama ennyingi.
• Mukyala mufumbo ate omuzadde kubanga afumbirwa Ssemitego n'amuzaalira
n'abalongo.
• Mukyala akkiririza mu buwangwa awamu n'okulagulwa okugeza agamba bba
agendeko ewa jjajja kiviiri alabe oba nga ddala anaamuwonya obwa ssekibotte.
• Anyumirwa okuyimba anti mu muzannyo alagibwa nga bw'aba akola emirimu gye
ayimbamu. (Yamusanga anaaba).

4. Babirye

• Ono muwala wa Ssemitego omu ku balongo.


• Azimbiddwa nga muyizi anti agenda ku ssomero ne Kato.
• Amanyi okusonyiwa kubanga amatiza mwannyina basonyiwe kitaabwe.
• Omuwandiisi amuzimbye ng'amanyi okusaaga okugezabwe balya ennyama ennyingi
babalaata nga bwe bali abaana ba Ssemitego omuyizzi.
• Assa ekitiibwa mu bazadde be.

EMIRAMWA OKUZIMBIDDWA OMUZANNYO

Omuwandiisi omuzannyo aguteekamu emiramwa egyenjawulo okusobola okutuusa obubaka eri


omusomi era gino gye miramwa;

• Obufumbo; omuwandiisi omuzannyo agwetolooleza ku maka era n’atwoleka engeri


gye gaddukanyizibwa n’ebizibu ebigoolekedde okugeza aga Ssemitego.
• Omululu gw'ebyenfuna; mu muzannyo omuwandiisi atwolese obuzibu obuli mu
kwagala ssente ezitalı nkolerere okugeza Ssemitego atuuka .okufiirwa mukyala we
kwagala ssente ezo.
• Ebyobuwangwa; omuwandiisi atwoleka obukulu bw’obuwangwa mu nsi muno
bwatulagaNnantabonekaboneka nga guno musambwa mukazi gulina amaanyi
ag'enjawulo
• Omuzannyo gwe aguzimbidde ku mulamwa ogw’okusoma olwo omusomi we asobole
okukwettanira okugeza Babirye ne Kato bagenda ku ssomero.
• Emirimu gy’Abaganda; mu muzannyo mulimu obukozi era nga mulimu emirimu
egyenjawulo okugeza okuyigga Ssemitego musajja muyizzi, okulima.
• Ettemu; Omuwandiisi w'omuzannyo aguzimbiddemu ettemu eriva ku kwagala
ebyenfuna ekintu ky'ayagala abasomi be bewale okugeza Ssemitego atemula mukyala
• Okusonyiwa; mu muzannyo mulimu okusonyiwa abo abasobeza ekiyamba okutwala
obulamu mu maaso okugeza Babirye asonyiwa kitaawe oluvannyuma lw'okutta
nnyabwe.
• Mu muzannyo mulimu omulamwa gw’obulimba okugeza
Nnantabonekabonekaasikiriza Ssemitego okutta Nnaalongo awaseemu ye kyokka
oluvannyuma amwefuulira.
• Obuggya;muzannyo oguviirako n'okufa kw’abantu okugeza Nnantabonekaboneka
agaana okufumbirwa Ssemitego nga tamaze kutta mukyala we olw'obuggya
• .Obugumiikiriza; nabwo bukutte ekifo kya kumwanjo mu muzannyo guno okugeza
Nnaalongo agumikiriza okubeera ne Ssemitego ate nga yali Ssekibotte.
PULOOZI

Ky'ekiwandiiko oba emboozi eri mu lulimi olwabulijjo naye ng'erina omulamwa kwetambulira. Mu
kitundu kino omuwandiisi aleeta ebirowoozo bye, obubaka awamu n'endowooza mu ngeri
y'okwetaaya.bya puloozi (ekiganiiro) tuyinza okubisanga mu mpapula z'amawulire, ebbaluwa, ebitabo
ebiwandiikiddwa eby'enjawulo (text books) n'ebirala.

Ekiwandiiko kino kibeera kyangu okutegeera eri oyo akisoma kubanga ebiba (paragraphs) awamu ne
sentensi biba bizimbiddwa mu ngeri ennyangu ddala. Kibeeramu okunyonnyola ensonga ez'enjawulo
naye ng'omuwandiisi yetaaya nga takugirwa.

EBIKA BYA PULOOZI/EKIGANIIRO

Zirimu ebika ebikulu bibiri;

Ezokumanyisa (Informative)

• Zino zibeera zimanyisa abantu amazima agakwata ku bintu ebyenjawulo mu


bulambulukufu bwakyo nga tewali kusavuwaza.
• Emboozi ey'ekika kino esobola okukulaga engeri ebintu ebimu gye bikozesebwamu/
gyebyeyambisibwamu.
• Ekigendererwa mu mboozi eno kwe kuwa omuntu/omusomi obubaka nga
tabuzaabuziddwa.
• Ebyokulabirako mulimu obutabo obulaga enkozesa ya masimu (phone manuals),
ebitabo ebiwandiikiddwa (text books) alipoota ezenjawulo.

Ezooleka endowooza n'embeera y'omuntu

Ng'oggyeko okutuusa/ okutegeeza abantu ku bintu nga bwetulabye waggulu, puloozi ez'ekika kino
zigendererwamu okutonda embeera mu musomi, okumuwa okwefumiitiriza ku ky'asoma awamu
n'okukyusa endowooza ye kintu ekimu
Ekika kino kye kisinga okusibwako essira ku ddaala lino era nakyo kirimu ebiti ebyenjawulo bwe biti;

(Ebyokunyumya (narrative)

Omuntu abeera alukuviira ku ntono ku ebyo ebyabaddewo/ ebyaliwo (akunyumiza


ebyatuukawo).

(Eyokukubaganya ebirowoozo (discursive)

Emboozi ez'ekika kino zisengeka ebirowoozo awamu n'ensonga nga zigendereramu okukwata
omusomi omubabiro naye asobole okuleeta ensonga/endowoozo ye ku ekyo ekyogerwako
okugeza ezimu ku mboozi ezifulumira mu mawulire ku by'emizannyo na ddala emipiira.

(Eyokwekeneenya/eyekeenenya (analytical)

Emboozi egwa mu kkowe lino ebeera ng’omuwandiisi waayo yakoze okunoonyereza okuva mu
nsonda ez'enjawulo era nga terina kyekubiira wabula

Okubeera n'ensonga nga yekeneenyezebwa bulungi.Zitera kuwandiikibwa bayivu abakola


okwekeneenya awamu n'okunoonyereza ku bintu ebyenjawulo era ne babisunsula bulungi.

(Eyokwefumiitiriza/Eyokwebuulirira (reflective)

Wano omuwandiisi yebuulirira nnyo ku ekyo ky'aba awandiikako. Ebiseera ebisinga


ekiwandiiko kiba kyesigamiziddwa ku kutebeereza, n'okwefuumitiriza so si ku kulowooza
okw'amakulu.

Ekiwandiiko eky'ekika kino kirungi nnyo ku muyizı kubanga kimuleetera naye okusobola
okwefumiitiriza ku biwandiikiddwa.

(Eyokusikiriza/Ezisikiriza

Eno ebeeramu olulimi olusikiriza omuntu okukola oba okwenyigira mu kintu era omusomi
agenda okumaliriza ekitundu ng'asobola okwetaba mu ekyo ky'abadde asoma/ ky'asomye.
Ebiwandiiko ebye kika kino mulimu ebirango by'amaguzi, ebyobufuzi (manifesto) ebiwandiiko
ebikwata ku ddiini.
Eby'okunyonnyola (descriptive)

Eno ebeera eraga ekifaananyi ky'ekintu ekyogerwako.Era omusomi w'ekitundu ekyo abeera
asobola okusiiga ebifaananyi ebyenjawulo ku ebyo ebiba bimunyonnyolwa.

Weetegereza;

Emboozi ezimu zibeera zisobola okugattika ebika ebyo byetulabye waggulu era sikyangu
kusanga kika kimu nga kyetengeredde kyokka.

EBISAANYE OKUTEEKEBWAKO ESSIRA

Bwetuba nga tusoma ebitundu bino waliwo ebintu eby'enjawulo bye tusaana okwekeneenya
okusobola okusunsula obulungi era bye bino;

(Omusono gw'emboozi olina okugwetegereza era n'ogwetegereza bulungi, ng'otunuulira


obukodyo obwenjawulo bweyeeyambisizza okufuula emboozi ye ennyuvu.

(Omusonogw'olulimi lw'emboozin'ebikaby'enninmi ebyeyolekedde mu kitundu awamu


n'obukulu bw'ennimi ezo okugeza.

Olunyonnyozi - Olubuulirira

Olusaasira- Olwebuziba,

Olwekikugu olukubi

Lw’ebifaananyi Olukiina

Olulimi Oluzimbulukusizza Olubikirira


Olwemulugunya n'endala.

(Endowooza y'omunyumya ku ckyo kyanyumyako,

Weetegereza ali mu mbeera ki, ya ssanyu, yeemulugunya, y’annaku,

n'endala. Embeera eno tugirabira ku

· Bigambo byakozesa,

-olulimi Iwennyini,

Ebikolwa by'akola

Okuddigana ebigambo ebyenjawulo n'ebirala.

(Ani anyumya mu mboozi era ali mu muntu wa ku mmeka?

(Eddoboozi mwanyumiza.

(Enkozesa y'obubonero awamu n'ekigendererwa kya bwo okugeza obubuuza, obwewuunya,


akasaze n'obulala.

Omuwandiisi ayinza okweyambisa obubuuza naye tebulina kya kuddamu aba agenderera ki?

Obubonero buno oluusi butulaga eddoboozi mu mboozi (tone).

(Ebifaananyi ebyeyolekedde mu kitundu n’ekigendererwa. Bino bitera okwoleka,

Okwoleka embeera,

. Obulamu obwabulijjo,

Bireeta obubaka obw'enjawulo,

Byoleka obukugu bw'omuwandiisi.


Emiramwa egyeyolekedde mu kitundu.

Obubaka/ebyokuyiga ebri mu kitundu.

(Obukuubagano obuli mu kitundu.

(Ekifaananyi ky’omuwandiisi nga bwe kyeyolekeraMu kitundu.

(Abantu ab'enjawulo abaganyulwa mu kitundu.

(Endowooza y'omusomi ku ebyo ebiwandiikiddwa.

(Amakulu g'ebigambo ebyeyolekedde mu kitundu.

Soma ekitundu ekikuweereddwa era n'oluvannyuma oddemu ebibuuzo ebigenderako.

EYASIMATTUKA AKALABBA ALULOJJA

Nze Michael Mutesaasira (45) nga nzaalibwa Busujju mu Mityana. Eno gye nnasomera
okutuuka mu siniya eyookubiri mu St. Peter's S.S.S. ssente ezimpeerera ne zibula. Nga mpeza
emyaka 28 nnatandika okukuba bbulooka nga bwe nzitunda era ssente olwawera ne ngula
pikipiki nga njagala enkolere ku ssente ngaziye ku nfuna yange.

Nafuna omuvubuka Tugume ne mmuwa pikipiki eno aginvugire nga bw'ansasula naye
waayitawo ennaku ntono n'anjamba nti baali bagimubbyeko. Nakizuula oluvannyuma nti yali
yagitunda, nnatandika okumubanja era olumu namusanga ne mmujjukiza naye yayomba
n'ekyavaamu ne tulwana.Nnamusindikira ekikonde mu kifuba n'agwa wansi n'asambaera
abadduukirize baamuyoola okumutwala mu ddwaliro nga biwalattaka era baba bamutuusa
n'akutuka.

Abaserikale ba Poliisi bankwata ne bazigulako omusango Bantwala mu kkooti ne neewoozaako


nti saagenderera kyokka nga tewali ampuliriza. Mu 2003, omulamuzi Augustus Kania yansalira
ekibonerezo kya kuttibwa bwentyo nentwalibwa mu kkomera okulindirira abalintugumbula.
Tubadde tusula twezinze nga buli lwe tuwulira akakuba nga tumaguka nga tulowooza nti
waliwo gwe baddukidde okuwanika.

Emyaka 17 gye mmaze mu nkomyo ntwaliddwa mu makomera 10 eno nnasangayo abasibe


650 abalindiridde okuttibwa. Tubadde tusula abantu bataano oba mukaaga mu buli
kasengeera embeera y'ekkomera etali nnyangu evaako bangi okufiirayo. Ab’enganda zaffe
baatuvaamu dda, tewli atulambula okuggyako bannaddiini ababadde batukyalira ne batuwa ku
bintu ng’ebyokulya okutubuulirira. Tubadde tufuna bannaddiini ababadde bajja okutusabira
n'okutugumya era bano be bannyamba okusoma.

Nnatandika okukola ssabbuuni, emisubbaawa, ebizigo n'amata ga soya. Nnayiiya


n'okuwandiika ennyimba z'eddiini n'ezensi. Mpandiise obutabo bubiri nga ndi mu kkomera
okuli obubuulirira abantu naddala abavubuka okwewala okuzza emisango, okukuuma
obusungu n'obutatwalibwa mbeerakubanga bino bye bisinze okutwaza abantu mu makomera.

Ebibuuzo;

1. Omwogezi w'ebigambo ebyo ali mu mbeera ki? Laga

Kw’osinzidde okuleeta embeera eyo.

2. Omuwandiisi omwogezi amutuzimbidde atya? (obubonero10)

3. Leeta abantu ebenjawulo omuwandiisi bayagala okutuusaako obubaka mu kitundu kino.


(Obubonero05)

4. Laga obukodyo obwenjawulo omuwandiisi bwe yeeyambisizza okusobola okutuusa obubaka


eri omusomi we. (Obubonero 05)

Oba

1. Leeta emiramwa egyenjawulo omuwandiisi kw'azimbidde ekitundu kino. (Obubonero 06)

Nyonnyola entanda esibirirwa abavubuka b'ensangi zino okuyita mu kitundu kino.


(Obubonero10).
2. Laga ebifaananyi ebyenjawulo omuwandiis by'atwolese mu kitundu. (Obubonero 05).

3. Nyonnyola amakulu g'ebigambo bino nga bwe bikozeseddwa (obubonero 05)

Baatuvaamu

- Abalitugumbula

Nnamusindirira

Ngaziye

Biwalattaka

Soma ekitundu ekikuweereddwa n'oluvannyuma oddemu ebibuuzo.

OMANYI KYE BAYITA “OBUGAGGA OBWA LIIZI"

Omuntu bw'ayogera ekigambi ʻliizi' abasing emitima giddukira ku ttaka anti lye bamanyi
okussibwa liizi. Abantu gye bakomye okwagala obugagga bwa liizi nga kino kitegeeza nti ssente
zino zibeera za kiseera buseera. Abeera azifunye bw'amala okufa nga; bugagga bwe budduka.
Abantu batadde ssaayansi mu kunoonya ssente abamu ne batindigga n’eŋŋendo empanvu nga
banoonya abaloaguzi babaweeyo ku ddogo lya balowooza nti ly linaabayamba okugaggawala
amangu.

Abalaguzi basaba abantu bano ebintu bingi ebitakkirizika omuli okusaddaaka abantu n'okukola
endagaano n’obweyambo eri sitaani bwe balina okutuukiriza okukuuma obugagga bwabwe.
Abalogo balina obukodyo bungi bwe bakozesa okutwala abantu be baagala okuwongera
emisambwa gyabwe. Bano oluusi babuzaabuza abalala nga balaga nga bwe baagala okuyamba
abaana abatalina mwasirizi.

Ebikolwa bingi omuli okuzimba amasomero agayamba abaana abanaku, ku baana bano kwe
bakwata nga babalaamirizaako mu ngeri y’okubawonga. Abalala baganza bawala naddala
abakyasoma ne babapokera omusimbi nekiddirira kumuwongayo mu misambwa.
Waliwo abalala abakola endagaano n'emisambwa nga bagisuubiza okuwongayo buli gwe
bagabira ku bugagga bwabwe, kati nno tolaba bantu kugaba ssente n'olowooza nti bonna
babeera n'omutima omuya bymbi, abamu babeera batuukiriza ndagaano.abamu bagabula
ebyokulya n'ebyokunywa abalala ensimbi ne bazigugumulamu ebizimbe n'okuvuga kapyata
ezitennenya.

Abantu bwe baagadde ennyo ensimbi bataddemu obungodiira ng'abantu batambula n'ensimbi
ennene ne batandika okuzikyusa ke kakutanda n'ozissa mu nsawo ogenda okuddamu
okukeberamu nga zonna zibuze. Abalala bagula bintu mu maduuka okukeera enkya nga tewali
ssente yonna gyebasangamu. Bubo bwe bayita obugagga bwa liizi teweebuuza lwaki abantu
abamu bwe bafa ensimbi nga zibagoberera, abooluganda lwabwe ne basigala nga badooba ku
nsi n'okufuuka ekisekererwa

(Kiggyiddwa mu Munno Voice March 21 – 27 2015).

EBIBUUZO

1 Omuwandiisi ali mu mbeera ki?

2 Nyonnyola olulimi olw'enjawulo omuwandiisi lweyeeyambisizza mu kitundu kino;

3. Obulamu bw'ensi mwetuwangaalira bweyolekedde butya mu kitundu kino?

4. Laga endowooza y’omuwandiisi ku bugagga n'abagagga okutwalira awamu.

5. Laga ebikolwa ebitali byabuntubulamu ebyeyolekedde mu kitundu kino.

Oba

1. Leeta abantu abenjawulo abaganylwa mu kitundu kino.

2. Wa endowooza yo ku muwandiisi w'emboozi eno.


3. Bukodyo ki obweyambisibwa abagagga abogeddwako okusobola okukuuma obugagga
bwabwe.

4. Wa amakulu agali mu bigambi bino nga bwe bikozeseddwa;

Babalaamirizaako mu ngeri y'okubawonga.

Bazigugumulamu agazimbe.

Kapyata ezitenneenya.

Basigala badooba ku nsi.

Batindigga eggendo.

NNAMULANDA(omuzannyo)
Omuzannyo Nnamulanda gwa wandiikibwa omwami Walabyeki Magoba, nga gukwata ku maka
ga Ssemaka Ssonko eyalina abakyala ababiri naya nga buli omu ayagaliza omwana we
afumbirwe omwami Kangawo omuganda wa kakaba basobole okufuna amakula n” okubeera
obulungi ate nabo okubeera abaganzi nnyo eri bbabwe,bakola ebintu ebyenjawulo omwali
okwetta ,obulimba ne birala ebyabasuula muteeka lya kabaka Ssemakookiro ne Kangawo
okwagala okuwamba ente ye, bayitibwa mumbuga ye n”abantu abalala gye basalibwa
omusango ogw”okuttibwa mu nnyanja.

ABAZANNYI ABALI MU MUZANNYO

Omuzannyo Nnamulanda mulimu abazaanyi kkumi n’omu(11) nga be bano wammanga.

MIILO: Mulirwna wa Ssonko

SONKO: Taata
NASSAZA: Maama wa Nakiganda era mukyala wa Ssonko

KADDULUBAALE: Maama wa Nakiwala mukyala Ssonko

NAKIWALA : Mwana azaalibwa kaddulubaale

NAKIGANDA : Mwana azaalibwa Nassaza

SSEMAKOOKIRO: Kabaka abeera Kisimbiri

KAMAAMYA : Mulangira omuto

KANGAWO : Mukodomi wa Ssonko yawasa Nakiwala era ye w”essaza

BUUZA : Mumbowa wa Kabaka gwatuma muntabaalo

MAKAMBA : Mukodomi wa Ssonko ye yawasa Nakiganda.

OBUKODYO OBWEYAMBISIDDWA MU KUWANDIIKA OLUGERO

Eno y’engeri omuwandiis gyatusaako abasomi obubaka obwenjawulo mu katabo ke nga


yeeyambisa obukodyo obwebjawulo mu kuzimba olugero lwe n”okulufula olunyuvu.

✓ Olugero aluzimbye n”omutwe ogugamba Nnamlanda ogutukirako obulungi ku


muzannto, ogubagulizako omusomi we ku bibeera mu lugero.
✓ Okutusigiira ekifaananyi ku ddiba lya katabo nga atwoleka ebigere ebigenda
byegoberera okulaga nti waliwo engeri ensonnga bwezegoberera, okuyamba omusomi
okwefumitiriza ku biri mu katabo.
✓ Yeeyambisiza ebintu byobulamu obwa bulijjo okugeza obutemu nga Kabaka
Ssemakookiro bwe yatta abantu be ,Nassaza yewa obutwa n”affa,abazadde okwayo
abaana baabwe abobuwala okfumbirwa olwe byenfuna SSonko awa Kangawo bawala
be bamufumbirwe okuyamba omusomi okutegera obulungi.
✓ Omuwandiisi omuzannyo gwe aguwandiise mu bitundu bina okusobola okutuusa
obubaka obwenjawulo eri abasomi be awamu n”okuyamba omusomi okuwummulamu
✓ Omuzannyo alutaddemu obukubagano obwenjawulo okugeza wakati waNassaza
ne Kaddulubaale,Naiwala ne Nakiganda,Ssonko ne Bbuuza okusobola okutuusa
obubaka obwenjawulo ku basomi be
✓ Omuzannyo aguzimbiddemu emiramwa egyenjawulo okugeza obutemunga,
Nassaza we yewa obutwa n’fa, bwenzi Nakiganda ayagala muganda wa muganda we
Nakiwala, obufumbo wakati wa Nakiwala ne Kangawo, Nakiganda ne Makanga,
nemirala okuyamba okuwa obubaka obwemjawulo.
✓ Atutereddemu omutwe omukulu okutambulira omuzannyo nga ye Ssonko
n”amaka ge ekiyamba omusomi okugoberera obulungi awamu n”okutegera obulungi.
✓ Omuzaanyo gwe atutereddemu obyobuwangwa ebyenjawulo okug obufumbo,
obwo kabaka bwa Ssemakookiro, okutwala ebintu ku buko, okusobola okumanya
ebikwata ku byobuwangwa.
✓ Omuwadiisi atuuma amannya agabatuukirako obulungi kwe bye bye bakola
okugezaNassaza, Kaddulubaale, Ssonko, Bbuuza n”amalala ate nga gategerekeka
bulungi okuyamba omusomi okugoberera obulungi.
✓ Omuwandiisi awadde abazannyi be akadde okuyisinganya ebigambo obuterevu
nga kino kiyamba omusomi okutegera obulungi n’okufuna obubaka obuterevu okugeza
Kaddulubaale ne Nakiwala.
✓ Omuwandiisi yeeyambisiza ebitontomu mu muzannyo gwe okusobola
okuwummuza omusomi we awamu n’okunyumisa omuzannyo gwe okugeza
Neezinireko maama nze namukisa
Nga nyaniriza omuzira ono mutanema
Buli lutalo lw’obamuggwe aluwangula…..
✓ Omuwandiisi omuzannyo gwe agutaddemu endagiriro n’enfo nga zirambikiddwa
bulungi nga kiyamba omusomi okugoberera n’okutegera ekyo kyabeera asoma,
okugeza “amusindika”.
✓ Atutereddemu ebikolwa ebye nseko mu muzaanyo okusobola okuggumiza kya
beera ayogeraka n’okunyumisa obulungi omuzannyo gwe okugeza Kaddulubaale ne
Nassaza okukayanira okunywesa bbabwe amazzi,nga kikuumira omusomi okusoma
akatabo.
✓ Ataddemu abazannyi batono mu muzannyogwe mwenda nga kiyamba omusomi
okugoberera obulungi
✓ Omuzannyo si muwanvu
✓ N”ebirala.

EMIRAMWA EMIKULU MU MUZANNYO

Zibeera empagi enkulu omuzannyo kwe lutambulira era emiramwa gyeyamba mu kuzimba
omuzannyo awamu n”obubaka obwenjawulo era nga byefumbikiddemu muzannyo.

✓ Ettemu mulamwa mukulu mu muzannyo okugezaNassaza yewa obutwa n’afa,


Ssemakookiro okutta abantu be olwe bigambo olw’okutebereza nti ayagala muwabako
ntebbe, era omuwandiisi avumirira ebikolwa ebye ttemu.
✓ Obufumbo bwetwoledde mu muzannyo okugeza Ssonko ne bakyala be baali
bafumbo, Nakiwala ne Kangawo ate Nakiganda ne Makamba nabo baali bafumbo era
omuwandiisi ayongera okukatiriza empisa y’obufumbo.
✓ Ebyobuwangwa okugeza empisa y”obufumbo okwongera, okukomaga embugo,
okutuuma amannya Nakiganda, obw’akabaka nga obwa Ssemakookiro n”ebirala
okwongera okusoabola okutumanyisa ebikwata ku by”obuwanga.
✓ Enkwe mu bantu okugeza Kangawo okwagala okulya mu kabaka Ssemakookiro
oluvannyuma lw’okubeera ne ntebbe eyefananyiriza eya Kabaka era atwalibwa e
Mbuga navunanibwa okwagala okulya mu kabaka olukwe era n”attibwa.
✓ Obwenzi omuwandiisi a twoleka obwenzi era nga buva obuzibu obwenjawulo
okugeza Nakiganda okwagala Kangawo bba wa muganda we Nakiwala ekyaviirako
Nakiwala okwawukana ne Kangawo.
✓ Empisa y”ekizzaganda okugeza abantu okuddukirira enddulu eyakuba Nassaza
oluvannyuma lwo kubika Nakiganda nti afudde okusobola okumwawukanya ne bba
Makamba afumbirwe Kangawo.
✓ Obutagaliza mu bantu okugeza Kaddulubaale yali tayagaliza Nakiganda
okufumbirwa Kangawo era yasala amagezi okulaba nti Makamba amanya nti
Nakiganda mulamu era nasobola okubawula ne Kangawo.
✓ Obulimba ngwo mulamwa mu muzannyo okugeza Nakiganda alimba nti ali
bulungi ne bba naye nga bali bubi, Ssonko ne bakyala be balimba nti Nakiganda afudde
wabula nga baggala ayawukane ne bba Makamba eraomuwandiisi akivumirira.
✓ Obw”akabaka okugeza kabaka Ssemakookiro.
✓ N”ebirara.

EBYOBUWANGWA EBIRI MU LUGERO

Ebyobuwangwa ye nnono oba obulombolombo obugobererwa ekitundu ekimu, Walabyeki


Magoba musajja muganda era atwoleka ebyobuwangwa ebyenjjawulomu lugero lwe nga bye
bino wammanga.

✓ Obukulu bw”omulirwano nga buyamba mu bintu ebyenjawulo okugeza abamulirwana


baddukirira enddulu, munju ya ba Ssonko oluvannyuma lwo kulanga omwana wabwe
Nakiganda afudde.
✓ Emirimu egyenjawulo abaganda gyebattanira ennyo, okugeza okulima, n”okulunda
embuzi, enkoko nga Kangawo ze yawa ku buko.
✓ Entuuma y’amannya okusinzira ku byobuwangwa okugeza Nakiwala, Nakiganda,
Bbuuza, Ssemakookiro n’amalala nga Buganda.
✓ Empisa obufumbo ng’obuwangwa okugeza SSonko ne bakyala, Nakiwala ne Kangawo,
Nakiganda ne Makamba bali mu bufumbo obweyagaza.
✓ Empisa y’ekizzanjjanda eri mu lugero okug. Ssalongo aduukirira endulu ku mulirwano,
bagenda mu kuzika Nakajubi eyali yetuze.
✓ Omuko okuwa ebintu ku buko okugeza Kangawo yawa Ssonko enkoko, embuzi,
embugo ne birala awamu ne Nassaza ebintu bingi okusobola okutwala mwana muwala
Nakiganda.
✓ Okwambala ekyambalo kye mbugo okugeza Ssemakookiro n’abantu bonna bali
bambala mbugo era embugo zaweebwa nga ebirabo.
✓ Okukubagiza nakyo kya buwangwa okugeza Makamba bba wa Nakiganda yali yajja
okukubagiza ku buko oluvannyuma lwo kubika nti mukyala we Nakiganda afudde.
✓ Okulanya nakyo kyabuwangwa okugeza Kaddulubaale yalanya mu maaso ga
Ssemakookiro ntiamannya agange nze Namutebi muwala wa Kigoonya eye ddira e
mmamba, akabiro Muguya era muzukulu wa gabunga n’abalala.
✓ N’ebirala.

EBIKOLWA EBYEKKO EBIRI MU MUZANNYO

Bino bye bikolwa ebibi abantu bye bakola ku bantu baabwe era omuwandiisi
akivumirira nnyo kyavudde abityoleka mu MUZANNYO lwe nga bye bino wammanga:

✓ Obutemu okugeza Nassaza okwewa obutwa n’afa, kabaka Ssemakookiro


okusalawo natta be olwokubatebereza nti bagala kuwamba ntebbe ye.
✓ Nassaza okwewa obutwa nga atidde okutwalibwa mu mbuga ya mukwano we
obutwa mu ccaayi olwensalwa oluvannyuma lwokumunyumiza bimu byatuuseko nga
okuzimba ennyumba.
✓ Ssonko ne bakyala be okulimba ne babika muwala w abwe Nakiganda nti afudde
mpoozi nga bali mulukwe ku mufumbiza Kangawo.
✓ Omululu ogwe byobuggaga okugeza Ssonko afumbiza abaana be Nakiwala ne
Nakiganda omusajja omu Kangawo ngalubirira kufuna.
✓ Obutagaliza Kaddulubaale obutagaliza Nakiganda kufumbirwa Kangawo akola
ekisoboka nagamba Makamba nti Nakiganda mulamu era yafumbirwa Kangawo
n”ebamutega Entebbe efaanana eya kabaka.
✓ Kaddulubaale awalana Nakiganda olwo kwagala bba wa muganda we Nakiwala
✓ Nakiganda okukola obwenzi ku bba wamuganda we Kangawo nakiriza
amufumbirwe.
✓ N”ebirala.

ENZIMBA Y”ABAKYALA MU LUGERO

Omuwandiisi twoleka enneeyisa y”abakazi mu muzannyo Namulanda,nga era atwoleka


enkulakulana yaabwe bano be bamu ku bakyala abali mu muzannyo:
Kaddulubaale,Nassaza,Nakiganda,Nakiwala,.eno yenneeyisa yabwe wammanga:

✓ Bagumikiriza okugeza Nakiganda agumikiriza ennaku gye yalimu ne bba Makamba nga
okubulwa ekyokulya ne mbeera embi.
✓ Abakyala balina omukwano ogwanamaddala okugeza Kaddulubaale ne Nassaza okulaga
Ssonko omukwano nga akomyewo, Nakiganda yali ayagala bbawe Makamba
newankubadde yali mwavu.
✓ Abakyala battemu okugeza Nassaza yetta oluvannyuma lwa kabaka kumuyita e mbuga
era omuwandiisi akivumirira.
✓ Abakyala bazimbiddwa ng”abafumbo okugeza Nakiwala yafumbirwa Kangawo,
Nakiganda mufumbo eri Makamba, Kaddulubale ne Nassaza nabo bafumbo eri Ssonko.
✓ Abakyala abakiriziba mu byobwangwa okugeza Kaddulubale ne Nassaza tebasembera
Kangawo nga bamubuuza okusobola okwewala obuko era babeera mabega nga
bamubuuza.
✓ Abakyala benzi okugeza Nakiganda ayenda ku bba wa muganda we Nakiwalla bwakiriza
okumufumbirwa.
✓ Abakyala baggala nnyo ebyobuggaga okugeza Nassaza afumbiza muwala we Nakiganda
omulundi omulala oluvannyuma Kangawo okumuwa amakula nga nkoko,mbuzi
n”ebirala.
✓ Balina obuggya ne bubba okugeza Nakiwala afuna obuggya oluvannyuma okutegera nti
Nakiganda yafumbirwa bba we Kangawoamulumba ne bayisinganya ebigambo.
✓ Abakyala balimba/ bakumpanya okugeza Ssonko ne Nassaza okulimba kaddulubale nti
Nassaza agenda ko wabwe kumbe agenda ku beera kumpi,ate era balimba Makamba nti
mukyala yafa wabula nga yatwalibwa mu bufumbo bulala.
✓ N”ebirala.

ENZIMBA y”ABAAMI MU MUZANNYO

Omuwandiisi twoleka enneeyisa y”abasajja mu muzannyo Nnamulanda,nga era atwoleka


enkulakulana yaabwe bano be bamu ku baami abali mu muzannyo: eno yenneeyisa yabwe
wammanga:

✓ Abasajja bazimbidwa nga bakozi okugeza Kangawo yali mulimi, mulunzi ekyamuyamba
okubeera ne bintu byeyawayo mu buko.
✓ Abasajja balina omukwano ogwanamaddala okugeza Makamba ayagala mukyala we
Nakiganda era bwe mwawukanako yafuba okulaba nga munoonya kangawo ayagala
mukyala we Nakiwala ne Nakiganda.
✓ Abasajja battemu okugeza Kabaka SSemakookiro yalagira Bbuuza okutwala abasibe
kangawo, Kaddulubaale, Ssonko n’abalala oluvannyuma lwokutebereza nti bagala ku
mujja ku ntebbe.
✓ Abasajja bazimbiddwa ng”abafumbo okugeza Ssonko ne Kaddulubaale, Nakiganda,
Kangawo ne Nakiwala, Makamba ne Nakiganda bali bafumbo.
✓ Abasajja abakiriziba mu byobwangwa okugeza obulimi, okulunda, okutwala ebirabo mu
buko,nga kangawo yatwala ebirabo ewa Ssonko,okwambala embugo.
✓ Abasajja benzi okugeza Kangawo ayagala muganda wa mukyala we Nakiganda
n”amuwasa n”amutwala ewuwe.
✓ Abasajja baggala nnyo ebyobuggaga okugeza Ssonko olwo kwagala ennyo ebyobuggaga
asalawo okufumbiza bawala we bombi eri omusajja Kangawo olwo kuba alina
ebyobuggaga.
✓ Balina obuggya ne bubba okugeza Makamba afuna obuggya oluvannyuma lwo ku
kitegera nti mukyala we Nakiganda yali akyali mulamu nga ate ali wa Kangawo asala
amagezi gonna okula nti omujjayo.
✓ Abasajja balimba/ bakumpanya okugeza Ssonko olwokwagala okufumbiza Nakiganda eri
Kangawo alimba Kaddulubaale nti Nassaza agenda mukyalo kumbe Nassaza yali
omugambye abeere kumpi.
✓ Bawayiriza okugeza Makamba bawayiriza Kangawo nti ayagala kugyaako kabaka
Ssemakookiro.
✓ N”ebirala.

OBUKUBAGANO MU MUZANNYO
Obukubagano bwe butakanya obubeera wakati w”abantu ababiri n”okusingawo nga era buva
ku bintu ebitali ebyenjawulo nga omuwandiisi abweyambisa okutuusa obubaka eri abasomi be,
buno bwe bumu ku bukubagano obuli mu muzannyo.

KADDULUBAALE NE NASSAZA: akakubagano kava ku,

✓ Kaddulubaale okwagala okulaga nti yasinga okwagala Ssonko okusinga Nassaza.


✓ Kaddulubaale okwagala okumanya ennyo ebikwata ku maka ga Nakiganda ne bba
Makamba.
✓ Nakiganda okutwalibwa okufumbirwa Kangawo nga ate kimanyikiddwa nti Kangawo bba
wa Nakiwala.
✓ Nassaza ougezaako akwagala okutta Kaddulubaale namwetegula ate ye olwayitibwa
embuga mu kutya n”abunywa.
✓ Kaddulubaale okwagala ennyo muwala we okubeera omuganzi ennyo eri Ssonko
olwokuba bbawe alina ebyobuggaga okusinga Makamba.
✓ Kaddulubaale okukitegera nti Nakiganda yali atwaliddwa ewa Kangawo mubufumbo
wabula si kukwekebwa nga bwe byali mugambibwa bba Ssonko.
✓ Kaddulubaale okubuulira Makamba ekyama nti Nakiganda taffanga wabula ali mu maka
ga Kangawo afumba.

SSONKO NE NASSAZA: akakubagano kano kava ku,

✓ Ssonko okwagala okujja Nakiganda mu bufumbo bwe nti afumbirwe Kangawo alekewo
obufumbo bwe.
✓ Ssonko okwagala okubika Nakiganda nti afudde asobole okujja ku Makamba ekintu
ekitasanyusa Nassaza.
✓ Ssonko okwagala okufumbiza bawala be bombi omusajja omu olwo kuba agenda muwa
byabuggaga.
✓ Nassaza okugaana ensalawo ya Ssonko muwala we Nakiganda okufumbirwa kangawo
✓ Ssonko okwagala okulya enkoko ebiri mu muwala we Nakiganda.
✓ N”ebirala.

SSONKO NE NAKIGANDA; akakubagano kava ku,

✓ Ssonko okwagala Nakiganda ave ewa bbaawe Makamba kubanga yali tamuyamba.
✓ Ssonko okwagala Nakiganda afumbibwe Kangawo ekintu kye yali tayagala.
✓ Ssonko okwagala Nakiganda okutwlibwa Kangawo obudde obwo nateyetegese.
✓ Nakiganda okugaana okugenda ne Kangawo kubanga yali akyayagala bba Makamba.
✓ Ssonko okwogere obubi Makamba mu maaso ga Kangawo nti talina kyalina
✓ N”ebirala

KANGAWO NE KABAKA SSEMAKOOKIRO: kano kava ku,

✓ Ssemakookiro okulowooza nti Kangawo ayagala kutwala namulondo ye.


✓ Kangawo okusanga ne ntebbe awamu namaliba gobwa kabaka mu lubiri
✓ Abantu okulumiriza kangawo nti kituufu ayagala kuvunika namulonda ya Ssemakookiro.
✓ Kabaka okusalira Kangawo omusango nti attibwa olwokwagala okuvunika namulondo
ye.
✓ Kangawo okuwasa abakyala babiri maka gamu.

KANGAWO NE BBUUZA: akakugubago kano kava ku,

✓ Bbuuza okuloopa Kangawo ewa Kabaka Ssemakookiro nti ayagala kutuza kamaanya ku
Namulondo.
✓ Bbuuza okulumiriza Kangawo mu maaso ga Kabaka Ssemakookiro nti kituufu ayagala
kuvunika namulonda ya kabaka.
✓ Bbuuza okuwalabanya wamu n’okutwala Kangawo nga teyeyagaridde mu mbuga ya
kabaka Ssemakookiro.
✓ Bbuuza okakasa kabaka nti yasingana Entebbe wamu n”amaliba g”obwakabaka mu
nsisira ze kisakaate ya mukodomi kangawo.

KADDULUBAALE NE MAKAMBA: nga kano kava ku Kaddulubale okuwayiriza Makamba


ye yatwala entebe wamu n”amaliba mu lubiri lwa Kangawo.

EBYOKUYIGA EBIRI MU MUZANNYO

Buno bubeera bubaka omuwandiisi bwatuusako eri abasomi be ng”ayita mu byokuyiga


ezenjawulo nga bye bino wammanga,

✓ Omuwandiisi atuyigiriza okubeera abavumu era abamalirivu ku mulimu gye


tukola okugeza Kaddulubaale ne Makamba bamalirira okyankalanya obufumbo
bwa Kangawo ne Nakiganda.
✓ Okubeera omukozi okugeza Kangawo yali musajja mukozi nga mulunzi, mulimi
,era ekyamuyamba okulakulana mu mbeera ze.
✓ Okubeera n”omukwano ogwanamadda okugeza Nakiganda yalina omukwano
ne bba Makamba newankubadde yali atwalidwa mu bufumbo obulala ne
Kangawo.
✓ Okwewala obwenzi okugeza kangawo yaganza muganda gwa mukaziwe
Nakiganda era n”amutwala ne mu maka ge mu lubiri.
✓ Okwewala ebbuba wa buggya okugeza Nakiwala afuna obuggya oluvannyuma
lwa Maama we okumugamba nti Nakiganda mukyala Kangawo,ne Makamba
afuna ebbuba oluvannyuma lwo ku kitegera nti Nakiganda mulamu ate ali mu
maka ga Kangawo.
✓ Okugoberera obulombolombo byobuwangwa okugeza Ssonko alya enkoko biri
mu mwala we Nakiganda nga ya muwa Makamba ne Kangawo ate nga kivve
nnyo.
✓ Okusooka okwetegereza ensonga nga tonasalawo okugeza Kabaka
Ssemakookiro yasalira Kangawo n”abalala ogwokufa .
✓ Okwewala obulimba okugeza Ssonko alimba Kaddulubaale nti Nassaza agenda
kulak u nnyina songa agenda ku beera kumpi.
✓ Ngiga okwagaliza abalala ebirungi okugeza Kaddulubaale ayagaliza muwala we
yekka ya beera afumbirwa Kangawo .
✓ N”ebirala.

ENZIMBA Y”ABANTU MU MUZANNYO

Omuwandiisi atuzimbidde enneeyisa y”abantu abenjawulo okutugirayo ekifaananyi kyabwe


awamu n”okutuusa obubaka eri abasomi be abenjawulo Muzannyo mu ngeri eno wammanga.

SSONKO

✓ Ono ye bba wa Kaddulubaale ne Nassaza era taata wa Nakiwala ne Nakiganda


✓ Musajja mufumbo era alina abaana Nakiwala ne Nakiganda
✓ Musajja ayagala nnyo ebyenfuna afumbiza muwala we Nakiganda emirudu
ebiri.
✓ Musajja tassa mu byabuwangwa kitiibwa alya enkoko biri mu muwala
Nakiganda ate nga tekikirizibwa.
✓ Alina omukwano eri bakazi be kaddulubaale ne Nassaza awamu baana be
Nakiganda ne Nakiwala.

NASSAZA

✓ Ono ye mukyala wa Ssonko ate maama wa Nakiganda.


✓ Mukyala muzadde alina n”omwana Nakiganda.
✓ Mukyala mutemu ayagala okutemula Kaddulubaale naye ate yeyabunywa
n”afa
✓ Mukyala alina omukwano eri omwana we ne bba Ssonko era akayana ne
kaddulubaale okunywesa Ssonko amazzi.
✓ Mukyala mulwanyi okugeza alwananga ne kaddulubaale ku butanya bwa
muwala we Nakiganda okufumbirwa Kangawo.
✓ Mukyala tassa kitiibwa mu byabuwangwa okugeza akkiriza muwala we
okufumbirwa abasajja babiri Kangawo ne Makamba
✓ Mukyala ayagala nnyo ebyenfuna okugeza akkiriza muwala we afumbirwe
Kangawo olwe bintu ebya muweebwa, embuuzi n”ebirala.
✓ Mukyala alina obuggya eri bba we okugeza tayagala Kaddulubaale awe Ssonko
amazzi.

KADDULUBAALE
✓ Ono ye mukyala wa Ssonko ate maama wa Nakiwala.
✓ Mukyala muzadde alina n”omwana Nakiwala.
✓ Mukyala alina omukwano eri omwana we ne bba Ssonko era akayana ne
Nassaza okunywesa Ssonko amazzi.
✓ Mukyala mulwanyi okugeza alwananga ne Nassaza ku butanya bwa muwala we
Nakiganda okufumbirwa Kangawo.
✓ Mukyala alina omululu gw’ebyenfuna okugeza akkiriza muwala we afumbirwe
Kangawo olwe bintu ebya muweebwa, embuuzi n”ebirala nga tayagala muntu
mulala kwagala KANGAWO.
✓ Mukyala alina obuggya eri bba we okugeza tayagala Nassaza awe Ssonko
amazzi n’okumusemberera.
✓ Mukyala ayagaliza muwala ebirungi okugeza ayagala kangawo ayagale muwala
we yekka Nakiwala aleme bigabana n”amuntu mulala.
✓ Mukyala talina mmizi agamba Makamba ekyama nti Nakiganda mulamu era
bamutwala wa Kangawo.
✓ Mukyala awayiriza okugeza awayriza Makamba nti ye yatwala entebe mu lubiri
lwa Kangawo ate nga ye yamugamba.
✓ Mukyala muvumi okugeza avuma NASSAZA mu maaso ga bbabwe.

MAKAMBA
✓ Ono ye bba wa Nakiganda era mukodomi wa Ssonko
✓ Musajja alina omukwano eri mukyala wa Nakiganda era alwana okulaba nga
mwediza.
✓ Assa ekitibwa mu byobuwangwa okugeza ajja okukubagiza oluvannyuma lwo
kubika nti Nkiganda afudde.
✓ Musajja enfuna ye ntono ekyawaliriza SSonko okufunira muwala we omusajja
omulala.
✓ Musajja alina ebbuba eri mukazi we oluvannyuma lwo kufumbirwa Kangawo
akola kyasobola okumwediza.
✓ Alina obusungu obwe ttumbizi ayagala okutta Kangawo olwo kwagala
Nakiganda.

KANGAWO

✓ Ono ye bba wa Nakiwala era mukodomi wa Ssonko


✓ Musajja alina omukwano eri mukyala wa Nakiganda awamu ne Nakiwala.
✓ Assa ekitibwa mu byobuwangwa okugeza atwala amakula mu bakadde ba
Nakiwala ne Nakiganda okugeza ssente, embuzi, enkoko n”ebirala.
✓ Musajja muggaga nga era wa bakadde babakazi be ebirabo ebiweerakao
✓ Musajja mwenzi okugeza ayagala muganda wa Nakiwala era n”amuwasa.
✓ Musajja tawa bakulu kitiibwa okugeza awanyisiganya eigambo ne kabaka
ssemakookiro.
✓ Musajja mufumbo nga alina abakyala babiri Nakiganda ne Nakiwala.
KABAKA SSEMAKOOKIRO
✓ Ono ye kabaka ofuga ekitundu kyonna.
✓ Musajja alina obusungu bwetumbizi
✓ Musajja mutemu alagira Bbuuza okutwala abantu abanyike mu nnyanja
✓ Musajja tawuliriza era asalira Kangawo okufa nga tamuwadde kadde
kwewoozako
✓ Musajja alina olugambo atwala buli ekimugambibwa Bbuuza.
✓ N”ebirala.

NAKIGANDA

✓ Ono ye muwala Ssonko ne Nassaza


✓ Mukyala mufumbo era nga mukyala Makamba
✓ Mukyala tassa mu byabuwangwa kitiibwa akkiriza okufumbirwa kangawo ate
nga mufumbo
✓ Mukyala alina omukwano ayagala bba Makamba newankubadde yali
afumbiddwa ewa Kangawo
✓ Muklyala muwulize awuliriza kitaawe era nakiriza okugenda ewa kangawo
✓ Mukyala wampisa okugeza taddamu nnyina Kaddulubaale newankubadde yali
amugamba ebigambo ebimukyokoza.

BIKOMYE WANO

PLEAS PARENTS ‘BUY FOR CHILD THOSE NOVELS TO ENABLE UNDERSTAND THE NOTES
.THANKS

You might also like