POEM 64

You might also like

Download as docx, pdf, or txt
Download as docx, pdf, or txt
You are on page 1of 6

poem 64

MY POETIC SIDE

(Oludda lwange Olutontomi

Matovu yiga ow'engabi

(Verse 1)

Matovu gwenkunyumiza oli omukugu gwe omumanyi?

Bwoba tomumanyi kkiriza nze nkulojjere

2012 Lweyatuula nno mu ntebe

Eri Entebe ennene mu kitangaala ku lw'entebbe

Ssomero liri Ddene.

Tojjukira wetwasomera wali nga ku lw'entebbe?

Eyali omukulu w'ebyenjigiriza wuliriza

2009 twesogga ekitangaala

Nga wakava e Lubowa kyama ku nneebalamye mayanja

Nsuubira ggwe ojjukira.

..

(Verse 2)

Mwaka bbiri kkumi mwattu yeyasomesa

Biri ebyokukuba ebifaananyi tojjukira?

Mwattu twabiyiga

Era twakakasibwa wuliriza nkulojjera

Walyoke wayite ebiri afuuke ddimansita

Olwo tutuula ebigezo bingi byeyatukola

Mwattu nno yatuyamba okutukuba tugunjuke

Musajja yali mukambwe

Oludda lwange olutontomi.


poem 64

Ye ki kyesikugambye

Bibonerezo atuwadde,

Bigezo tubikoze,

Era mwattu twabiyita.

(Verse 3)

So nno yali musajja wa kisa nnyo gwolaba

Nseko ze zaali za bbula

Ate nga tanyiiga

Wabula wekaakutandanga N'obaako ggwe kyokola,

Yakussanga kasiiso mwattu kankubbireko

Oli ow'endali keyassaanga omwekukumi

Olwo nno nosanyuka nnyo noolowooza abivuddeko

Abaali abagezi twakimanya ekyokukola

Era Yaba nsobi ggwe kuddamu okumunyiiza

Mwattu ate nga asonyiwa jjukira lwennatoloka

Ate nga twali bana tojjukira mulukiiko?

Lwabangawo mwattu buli bbalaza

Kibonerezo kyeyatuwa mwattu nno kwetonda

Tumaze okwetonda atusonyiye tutaddeyo.

Katinno bwob'owakana buuza ko ku ndugga

Oba Ssemanda omuyizi eyali akulira.

....

....

Oludda lwange olutontomi.


poem 64

(Verse 4)

Musajja gwenkunyumiza Matovu oli ow'engabi

Bulamu bwali buzibu era yeesiganga mutonzi

Bingi yabikwatanga mpola era nga muntu musabi

Yatusomesanga ediini

Era buli ssaabiiti bwekaakutandanga nooyosa

Wabanga Kya kulabirako eri abalala ggwe buuza mukyala we Ronah.

Oli omukenkufu eyatendekanga ennyimba

Ngamba eza kwaya.

Kyabanga kivve okwosa ggwe okusaba

Era nkukakasa mwattu ffenno twayiga.

Era ky'ovolaba

Nayiga okutontoma

Kuba ebyokusoma

Gwe gwabanga omulamwa

Era ekitontome kino ogenda kukinyumirwa

Kuba nkitaddemu ebisoko ko n'engero

Mulimu omudigido

Ogw'omujjirano ntaddemu n'obubonero

Mudigido guli ogw'akasavu n'aakanyama,

Nagwo ngutaddemu mwattu toguwulira?

Laba nno vaasi empaanvu ez'omudigido guli ogw'omujjirano,

Ko n'ezo ennyimpi

Oludda lwange olutontomi.


poem 64

Zino ezaakasavu

Mpozzi n'akanyama

Yadde mateeka ngamenye

Kyo nkikoze era nkimanyi

Juukira ndi mutontomi

Mpozzi obadde tokimanyi?

Katinno Kankusiibule

.....

(Verse 5)

Ekyaggwe waffe gyensibuka nno gyebali

B'ewaffe bengamba

Era nno bakutumira

Ngamba ggwe Ddimansita

Mwattu tebejjusa

Fiizi baatola, simooni zaali nnyingi

Era nno zaakola

Mwattu bakwagala bakusiima nkubuulira

Kale nno tojjang'okwo

Bangi nno abalala bayizi bewasomesa

Wattu bakusiima era nno bakusabira

Mikisa mingi ggwe ssebo

Ffe gyetukusabira

Era nga ngenda, bwentyo nga bwesaatumye

Era nneetuukidde,

Omanyi baalugera

Oludda lwange olutontomi.


poem 64

Entasiima era ogimanyi

Mwattu ebula agiwa

Jjukira emmale munnange eri gyewatuvuma

Oli kagumba kaayo kennyini

Akatanyigirwa mu ttooke

Ate nga obwentoogo

Nze nno bwenneesimbye

Kubanga obwemmuli munnange bwo obumanyi

Anti bufa ennyingo

Ataalutambule baamukumyumizaako omumanyi?

Anti muzibu nnyo ye akusibira ya mmenvu

Walungi siwannyu

Ate nga mwattu okimanyi

Nooli gwebaatunyumiza

Oli Alima awagonda, mbu atera naye nannyuka

Bwentyo bwenneesogga

Kkubo liri eddene

Erigenda e kyaggwe

Beeyo nabo bandabire

(Bikomye wano)

Oludda lwange olutontomi.


poem 64

Oludda lwange olutontomi.

You might also like