52cc15d8-c473-4260-b09a-1dce5cbf8ed5-S6 Luganda Paper 1-UNNASE Mock Examinations 2019

You might also like

Download as pdf or txt
Download as pdf or txt
You are on page 1of 4

P360/1

Luganda
Paper 1
August, 2019
2½ hours


Community

UNNASE MOCK EXAMINATIONS


Uganda Advanced Certificate of Education

LUGANDA

OLUPAPULA OLUSOOKA

AMATEEKA N’ENKOZESA Y’OLULIMI, OBUWANGWA N’ABAWANDIISI.

ESSAAWA BBIRI N’EKITUNDU.

Ebigobererwa:

 Olupapula luno lugabanyiziddwamu ebitundu bisatu, A, B ne C.

 Ebibuuzo byonna mu kitundu A bya buwaze.

 Mu kitundu B, kola nnamba 2, 3 ne 4. Oweereddwa ebyokulondako

by’oyagala okuddamu.

 Mu kitundu C, ggyamu ekibuuzo kimu ng’okironda ku bikuweereddwa.

@UNNASE Joint Mock Examinations 2019 Page 1


EKITUNDU A
Ddamu ebibuuzo byonna mu kitundu kino.

1. a) Owereeddwa ennukuta zino wammanga; (l, r), nga weeyambisa


ebyokulabirako.
i) Nyonnyola ebintu bibiri(2) bye zifaanaganya. (obubonero 2)
ii) Nyonnyola ebintu bibiri (2) bye zaawukanya. (obubonero 2)

b) Ddamu owandiike sentensi ezikuwereeddwa olongoose ensobi


ezikoleddwamu:
i) Mu masaŋŋanzira basuddemu omulambo gw’omubbi.
ii) Maama wange anjagala nnyo.
iii) Ekiswa kibuuse ne kikulukuta bukulukusi.
iv) Ekijuujulu kyange leero, mpulidde kitandiikiriza okukookolima.

c) Ng’okozesa ebyokulabirako nnyonnyola obubonero bw’ebiseera bino


wammanga;
i) Ekiyise
ii) Ekyayita (obubonero 4)

d) Mu kaboozi kano wammanga ggyamu ebikolwa


ebiyambi/ebiteemala, ebyemala ebiteetaaga kikolebwako n’ebyemala
ebyetaaga ekikolebwako obirage bulungi mu lukangaga.
Musoke yasooka mu katale n’agulayo ettooke. Omukyala yafumba
bulungi ku olwo. Yamala kubabula luwombo n’asibamu ennyama
enkalirire. Abagenyi abajja awaka baawomerwa ekijjulo kubanga
Musoke yattirako enkoko ensava. Twakanda kulinda baagenda ewa
Musoke nga tebadda. (obubonero 7)

Ebiteemala/Ebiyambi Ebyemala ebiteetaaga Ebyemala ebyetaaga


kikolebwa ekikolebwako

@UNNASE Joint Mock Examinations 2019 Page 2


e) Ddamu owandiike sentensi zino wammanga ng’ozifudde ezigaana.
i) Ndya nkoko n’amatooke.
ii) Bajja kwebaka akawungeezi.
iii) Onoolya kindaazi?

f) Nakasigirwa ezikuweereddwa wammanga zisse mu bungi buli emu


ogikozese mu sentensi.
i) lwe
ii) ke
iii) kye (obubonero 3)

g) “Yasomaasoma mangu ng’obudde bw’ekibuuzo mpaawo”.


Laga amakulu ga mirundi ebiri(2) g’ofuna mu kikolwa ekikozeseddwa
mu sentensi eyo. (obubonero 2)

EKITUNDU B
Kola nnamba 2, 3 ne 4 ng’ogoberera ebikoweereddwa.

Kola 2(a) oba 2(b).

2. a) Nyonnyola ku nkyukakyuka ezizze mu ebyo ebyakolebwanga mu


mutendera gw’okwogereza mu mpisa y’okuwasa n’okufumbirwa ey’edda.
(obubonero 20)

Oba
2. b) Nyonnyola engeri ez’enjawulo ezeeyambisibwamu obutiko obubaala
okutangira ebibamba mu Buganda. (obubonero 20)

3. a) Ku bisoko ebikuwereddwa londako bitaano (5) onnyonnyole amakulu


gaabyo agoomunda.
i) Okuba n’omulo.
ii) Okubwefuka n’omuntu.
iii) Okusiirama ng’okola ekintu
iv) Okuwona Mayanja ow’olusenke.
v) Okulya ebikalubitaaka
vi) Ekintu okusa nga kinegula. (obubonero 10)

3. b) Ku bisoko ebikuweereddwa londako bisatu(3) obikozese mu sentensi


eziggyayo amakulu gaabyo.
i) Okusimbira ekintu akaggo.
ii) Omuntu okubumbujja ng’ayogera
iii) Okuba nanjwenge
iv) Okulokompokana n’ebigambo. (obubonero 10)

@UNNASE Joint Mock Examinations 2019 Page 3


4. a) Maliriza engero ssatu(3) ku zikuweereddwa nga bwe zoogerebwa.
i) Abalirira ekigula enkumbi………………………………………
ii) …………………………………………teyeeganya mayumba.
iii) Gw’osenvula mu buto……………………………………………
iv) Tebakikola nze ne ntuula…………………………………… (obubonero 6)

4. b) Ku ngero ezikuweereddwa londako nnya (4) onnyonnyole kye ziyigiriza.


i) Eyeemanyi amalwalira tatega ŋŋaali.
ii) Ogubula ayeeguya tegukala.
iii) Baagala ayaze.
iv) Abaagalana tebafunda.
v) Omwana omubi avumaganya nnyina. (obubonero 8)

EKITUNDU C
Kola ekibuuzo kimu (1) kyokka ng’okiggya mu nnamba 5, 6 oba 7.

Kola 5(a) oba 5(b).

5. a) Nyonnyola engeri Busuulwa gy’ayinza okweyambisibwa


ng’ekyokulabirako eri abaagazi b’enkulaakulana mu ggwanga.
(obubonero 20)
Oba
5. b) Nyonnyola ku bintu ebyenkizo Omuganda owoomulembe Omutebi
by’atalina kubuusa maaso ng’asoma Mujaguzo. (obubonero 20)

Kola 6(a) oba 6(b).

6. a) Bwe wekkenneenya akamu ku butabo bwa Kaswa by’atunyumiza ku


nswa weesanga nga birina obukwatane. Nyonnyola ng’okakasa
endowooza eno. (obubonero 20)

Oba
6. b) Ekimu ku bireetera abantu obuteerabira Kaswa bwe buweereza bwe
obwakuuma ekitiibwa kya Buganda. Nyonnyola ng’olaga obutuufu
bw’endowooza eno. (obubonero 20)
Kola 7(a) oba 7(b)

7. a) Weesigame ku Eddaame lya Nsimbi onnyonnyole ebintu ebiri mu


katabo kano Matovu by’afaanana okwagaliza eggwanga lye.

Oba
7. b) Abantu bangi boogera ku Matovu ng’omusomesa ataggweekerera.
Nyonnyola obutuufu bw’endowooza eno. (obubonero 20)

**** BIKOMYE WANO ****

@UNNASE Joint Mock Examinations 2019 Page 4

You might also like